Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUGANYULWA MU KUSOMA BAYIBULI

Biki Ebinaakuyamba Okunyumirwa Okusoma Bayibuli?

Biki Ebinaakuyamba Okunyumirwa Okusoma Bayibuli?

Biki ebinaakuyamba okunyumirwa okusoma Bayibuli? Ka tulabe ebiyinza okukuyamba okwagala okusoma Bayibuli era n’okunyumirwa okugisoma.

Funa Bayibuli eyeesigika era ennyangu okutegeera. Bw’osoma ekitabo nga kirimu ebigambo ebizibu okutegeera oba by’otomanyi, tonyumirwa kukisoma. N’olwekyo, funa Bayibuli ennyangu okutegeera, by’osoma bisobole okukutuuka ku mutima. Kyokka era Bayibuli eyo esaanidde okuba nga yavvuunulwa n’obwegendereza. *

Kozesa tekinologiya. Leero Bayibuli ez’empapula si ze zokka eziriwo. Osobola okusomera Bayibuli ku Intaneeti oba okugiteeka ku kompyuta, tabuleeti, oba essimu. Mu Bayibuli ezimu eziba ku kompyuta oba ku ssimu, osobola okufuna mu bwangu ekyawandiikibwa ky’onoonya era osobola n’okugeraageranya enkyusa za Bayibuli ez’enjawulo. Osobola n’okuwuliriza obuwuliriza nga Bayibuli esomebwa. Abantu bangi banyumirwa okuwuliriza ng’eno bwe bakola emirimu gyabwe, oba nga bali mu mmotoka baliko gye balaga. Oyinza okukola ekikwanguyira: okugyesomera oba okuwuliriza ng’esomebwa.

Kozesa ebisobola okukuyamba okutegeera by’osoma. Ebintu bingi ebisobola okukuyamba okutegeera obulungi by’osoma mu Bayibuli. Waliwo mmaapu ezisobola okukuyamba okutegeera ebifo ebyogerwako mu Bayibuli we byali. Ate era, waliwo ebitundu ebitera okufulumira mu katabo kano era n’ebyo ebiba ku mukutu jw.org ku muko “Enjigiriza za Bayibuli,” ebisobola okukuyamba okutegeera by’osoma mu Bayibuli.

Kyusakyusa mu ngeri gy’ogisomamu. Bw’owulira nga kikuzibuwalira okusoma Bayibuli okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero yaayo, oyinza okutandika n’ebitabo by’osinga okwagala. Bw’oba oyagala okumanya ebikwata ku bantu aboogerwako ennyo mu Bayibuli, oyinza okusoma ebitabo bya Bayibuli ebiboogerako. Ng’ekyokulabirako, wansi w’omutwe ogugamba nti, “ Manya Ebisingawo Ebikwata ku Bantu Aboogerwako mu Bayibuli” oguli ku lupapula 5 mu katabo kano, waliwo olukalala lw’abantu aboogerwako ennyo mu Bayibuli n’ebitabo mwe boogerwako. Kyokka era oyinza okusoma ebitabo bya Bayibuli okusinziira ku nsonga ze byogerako, oba okusinziira ku ngeri ebyogerwako mu Bayibuli gye byajja biddiriŋŋana. Lwaki togezaako ekimu ku ebyo?

^ lup. 4 Abantu bangi banyumirwa nnyo okusoma Bayibuli eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, olw’okuba yavvuunulwa n’obwegendereza era nnyangu okutegeera. Abajulirwa ba Yakuwa be bavvuunula Bayibuli eyo, era eri mu nnimi ezisukka mu 130. Osobola okugiwanula ku mukutu gwa Intaneeti ogwa jw.org/lg oba oyinza okuwanula programu ya JW Library app n’ogiteeka ku ssimu yo. Oba, Abajulirwa ba Yakuwa bayinza okugikuleetera.