Ekyawandiikibwa Okitegeera mu Ngeri Entuufu?
Omwana yalaba omukka omungi ennyo nga guva mu kkolero erimu. Omwana oyo bwe yalaba omukka ogwo nga gulabika ng’ekire mu bbanga, yalowooza nti eryo kkolero lya bire. Omwana omuto bw’alowooza bw’atyo tekyewuunyisa. Kyokka bwe tutegeera ekintu mu ngeri enkyamu, kiyinza okukosa obulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, omuntu bw’atategeera bulagirizi obuli ku ccupa y’eddagala kiyinza okuba eky’akabi gy’ali.
Kyokka ate okutegeera obubi ebintu ebikwata ku Katonda kiyinza okuba eky’akabi n’okusingawo. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu baategeera bubi ebintu ebimu Yesu bye yayigiriza. (Yokaana 6:48-68) Naye mu kifo ky’okubuuza bongere okumanya, baagaana ebintu byonna Yesu bye yayigiriza. Ng’ekyo kyali kibi nnyo!
Osoma Bayibuli osobole okufuna amagezi aganaakuyamba mu bulamu bwo? Bw’oba okola bw’otyo, ekyo kirungi nnyo. Naye kyandiba nti naawe ebintu ebimu by’osoma mu Bayibuli obitegeera bubi? Ekyo kituuse ku bantu bangi. Ka tulabeyo ebintu bisatu abantu abamu bye bategeera obubi.
-
Abantu abamu bategeera bubi ekiragiro ekiri mu Bayibuli ekigamba nti “tyanga Katonda ow’amazima.” Balowooza nti awo Bayibuli eba eyogera ku kutya okuleetera omuntu okukankana. (Omubuulizi 12:13) Naye Katonda tayagala tumutye mu ngeri eyo. Agamba nti: “Totya, kubanga ndi naawe. Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo. Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba.” (Isaaya 41:10) N’olwekyo, okutya Katonda kitegeeza okumuwa ekitiibwa.
-
Ate era waliwo abategeera obubi ebigambo bino ebiri mu Bayibuli: “Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo, . . . Ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa.” Abamu bwe basoma ebigambo ebyo, balowooza nti Katonda yateekateeka dda ekiseera buli muntu ky’ajja okufiirako. (Omubuulizi 3:1, 2) Kyokka, olunyiriri olwo lwogera ku kintu ekya bulijjo ekibaawo mu bulamu; nti ekiseera kituuka ne tufa. Ate era Bayibuli eraga nti ebintu bye tukola biyinza okutuviirako okufa amangu oba okuwangaala. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “Okutya Yakuwa kuwangaaza omuntu.” (Engero 10:27; Zabbuli 90:10; Isaaya 55:3) Okugeza, bwe tukolera ku ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda, twewala ebintu ng’okunywa ennyo omwenge n’ebikolwa eby’obugwenyufu ebiviirako abantu bangi okufa amangu.
—1 Abakkolinso 6:9, 10. -
Abantu abamu bwe basoma mu Bayibuli nti eggulu n’ensi “biterekeddwa omuliro,” balowooza nti Katonda ajja kwokya ensi esaanewo. (2 Peetero 3:7) Naye Katonda agamba nti ensi tejja kusaanawo. Katonda ‘yateeka ensi ku misingi gyayo; teriggibwa mu kifo kyayo emirembe n’emirembe.’ (Zabbuli 104:5; Isaaya 45:18) Ensi kwe tuli si y’ejja okusaanyizibwawo, wabula abantu ababi n’enteekateeka embi eziriwo bye bijja okusaanyizibwawo, bibe ng’ebyokeddwa omuliro. Ate ekigambo “eggulu” bwe kikozesebwa mu Bayibuli kiyinza okutegeeza ebbanga, obwengula, oba ekifo Katonda gy’abeera. Ebintu ebyo tebisobola kuzikirizibwa.
LWAKI OLUUSI ABANTU BATEGEERA BUBI EBIRI MU BAYIBULI?
Ng’ebyokulabirako ebyo bwe biraze, abantu abamu bategeera bubi ebintu ebimu bye basoma mu Bayibuli. Naye lwaki Katonda akkiriza ekintu ng’ekyo okubaawo? Abamu bayinza okugamba nti: ‘Bwe kiba nti Katonda wa magezi era ng’amanyi buli kimu, lwaki teyatuwa kitabo omuntu yenna ky’asobola okusoma n’ategeera bulungi?’ Ka tulabe ensonga ssatu lwaki abantu abamu bategeera bubi bye basoma mu Bayibuli.
-
Abantu abawombeefu era abaagala okuyiga be bokka abasobola okutegeera Bayibuli. Lumu Yesu bwe yali asaba Katonda, yagamba nti: “NkuteLukka 10:21) Okusinziira ku ngeri Bayibuli gye yawandiikibwa, abo bokka abalina endowooza ennuŋŋamu be basobola okutegeera ebigirimu. Abantu abamu “abagezi n’abayivu” baba n’amalala, era abantu ng’abo oluusi bategeera bubi bye basoma mu Bayibuli. Naye abantu abasoma Bayibuli nga bawombeefu ‘ng’abaana abato,’ kwe kugamba, nga baagala okuyiga, basobola okutegeera bye basoma mu Bayibuli. Nga Bayibuli yawandiikibwa mu ngeri ya magezi nnyo!
ndereza mu lujjudde Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga ebintu bino wabikweka abagezi n’abayivu, n’obibikkulira abaana abato.” ( -
Abo abaagala Katonda abayambe okutegeera Bayibuli be basobola okugitegeera. Yesu yalaga nti abantu bandyetaaze obuyambi okusobola okutegeera ebintu bye yayigiriza. Obuyambi obwo bandibufunye batya? Yagamba nti: “Omuyambi, omwoyo omutukuvu, Kitange gw’ajja okusindika mu linnya lyange, ajja kubayigiriza ebintu byonna.” (Yokaana 14:26) Ekyo kiraga nti Katonda awa abantu omwoyo gwe omutukuvu okubayamba okutegeera ebintu bye basoma mu Bayibuli. Kyokka, omwoyo omutukuvu Katonda taguwa bantu abatamusaba kubayamba, era eyo ye nsonga lwaki abantu ng’abo tebategeera ebyo bye basoma mu Bayibuli. Omwoyo omutukuvu era gusobozesa Abakristaayo abategeera obulungi Ebyawandiikibwa okuyamba abo abaagala okwongera okubitegeera.
—Ebikolwa 8:26-35. -
Ebyawandiikibwa ebimu abantu basobola okubitegeera ng’ekiseera ekituufu kituuse. Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba nnabbi Danyeri okuwandiika ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso. Malayika yamugamba nti: “Ggwe Danyeri, kuuma ebigambo bino nga bya kyama, era ekitabo kisseeko akabonero okutuusa mu kiseera eky’enkomerero.” Okumala ebyasa bingi, abantu baasomanga ebiri mu kitabo kya Danyeri naye nga tebabitegeera. Mu butuufu, ne Danyeri kennyini teyategeera ebimu ku ebyo bye yawandiika. Yagamba nti: “Nnawulira naye saategeera.” Oluvannyuma abantu banditegedde obunnabbi Katonda bwe yagamba Danyeri okuwandiika, naye bandibutegedde ng’ekiseera ekituufu kituuse. Malayika yagamba Danyeri nti: “Genda ggwe Danyeri, kubanga ebigambo bino bya kukuumibwa nga bya kyama era nga bissiddwako akabonero okutuusa mu kiseera eky’enkomerero.” Naye baani abanditegedde obunnabbi obwo? Malayika era yagattako nti: “Ku babi tekuli n’omu alitegeera; naye abo abalina amagezi balitegeera.” (Danyeri 12:4, 8-10) N’olwekyo, Katonda tamanyisa makulu g’ebyawandiikibwa ebimu ng’ekiseera ekituufu tekinnatuuka.
Abajulirwa ba Yakuwa baali bategeddeko obubi ebyawandiikibwa ebimu? Yee. Naye ekiseera kya Katonda eky’okumanyisa ebyawandiikibwa ebyo bwe kyatuuka, Abajulirwa ba Yakuwa baatereeza endowooza yaabwe. Mu ngeri eyo baakoppa abatume ba Yesu abaali abeetegefu okukyusa endowooza yaabwe nga bategedde ekituufu.
Omwana omuto aba mukyamu okulowooza nti ebire babikolera mu kkolero, naye ekyo tekikosa muntu yenna. Kyokka olw’okuba ebintu ebiri mu Bayibuli bikulu nnyo, weetaaga obuyambi osobole okubitegeera obulungi. N’olwekyo, funa obuyambi okuva eri abantu abasoma Bayibuli nga balina endowooza entuufu, abagoberera obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu okusobola okutegeera bye basoma mu Bayibuli, era abakimanyi nti tuli mu kiseera Katonda w’ayagalira buli omu ategeere ebiri mu Bayibuli. Saba Abajulirwa ba Yakuwa bakuyambe oba genda ku mukutu gwabwe ogwa jw.org/lg, osome ebikwata ku Bayibuli bye baanoonyerezaako n’obwegendereza. Bayibuli egamba nti: ‘Bw’onookoowoolanga okumanya, ojja kuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’