Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUGANYULWA MU KUSOMA BAYIBULI

Weeteeketeeke Bulungi

Weeteeketeeke Bulungi

Biki by’oyinza okukola okusobola okunyumirwa okusoma Bayibuli era n’okuganyulwa mu by’osoma? Ka tulabe ebintu bitaano ebiyambye abantu bangi.

Funa ekifo ekirungi. Funa ekifo ekisirifu, era fuba okulaba nti tewabaawo bikutaataaganya, ebirowoozo byo osobole okubissa ku by’osoma. Ate era w’osomera wasaanidde okubaawo ekitangaala ekimala.

Beera n’endowooza ennungi. Okuva bwe kiri nti Bayibuli yava eri Kitaffe ow’omu ggulu, ojja kuganyulwa bw’onoogisoma ng’olinga omwana omwetegefu okuwuliriza muzadde we by’amugamba. Bw’oba ng’olina endowooza enkyamu ku Bayibuli, gyeggyeemu okkirize Katonda akuyigirize.Zabbuli 25:4.

Saba nga tonnatandika kusoma. Bayibuli erimu birowoozo bya Katonda, n’olwekyo tulina okumusaba atuyambe okugitegeera. Katonda asuubiza “okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusaba.” (Lukka 11:13) Omwoyo omutukuvu gusobola okukuyamba okutegeera endowooza ya Katonda. Bw’oneeyongera okusoma Bayibuli, omwoyo omutukuvu gujja kukuyamba okutegeera ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba.’1 Abakkolinso 2:10.

Soma ng’olina ekigendererwa eky’okutegeera by’osoma. Tosoma kutuusa butuusa mukolo, wabula fumiitiriza ku by’osoma. Weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Omuntu ono gwe nsomyeko muntu wa ngeri ki? Bino bye nsomye biyinza kunnyamba bitya mu bulamu bwange?’

Weeteerewo ebiruubirirwa. Okusobola okuganyulwa mu kusoma Bayibuli, fuba okubaako ky’oyiga ekinaakuyamba mu bulamu bwo. Oyinza okweteerawo ebiruubirirwa nga bino: okumanya ebisingawo ebikwata ku Katonda, oba okuyiga ebinaakuyamba okuba omwami omulungi oba omukyala omulungi. Bw’omala okukola ekyo, soma Ebyawandiikibwa ebinaakuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. *

Ebyo ebyogeddwako waggulu ebitaano bijja kukuyamba ng’otandise okusoma Bayibuli. Naye biki ebinaakuyamba okunyumirwa okugisoma? Ekitundu ekiddako kirimu amagezi agasobola okukuyamba.

^ lup. 8 Bw’oba nga tomanyi wa kusoma, Abajulirwa ba Yakuwa basobola okukuyamba.