Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Baatulaga Okwagala Kungi”

“Baatulaga Okwagala Kungi”

KU LW’OMUKAAGA nga Apuli 25, 2015, musisi ow’amaanyi yayita mu Nepal, era abantu abasukka mu 8,500 be baafa. Ako ke katyabaga akyasinzeeyo okufiiramu abantu abangi mu Nepal. Amayumba agasukka mu 500,000 gaasaanawo. Mu kiseera ekyo mu Nepal mwalimu Abajulirwa ba Yakuwa nga 2,200 era abasinga obungi ku bo baali babeera mu bitundu ebyakosebwa ennyo musisi. Eky’ennaku, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa n’abaana be ababiri baafa.

Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Michelle yagamba nti: “Mu kiseera musisi oyo we yayitira, Abajulirwa ba Yakuwa abasinga obungi ababeera mu bitundu ebyasinga okukosebwa baali mu nkuŋŋaana. Singa musisi oyo yayita bali waka, bangi ku bo bandikoseddwa nnyo.” Lwaki abo abaali mu nkuŋŋaana tebaakosebwa nnyo? Ekyo kiri kityo kubanga Ebizimbe by’Obwakabaka bizimbibwa bulungi.

“KYA MAGEZI”

Ebizimbe by’Obwakabaka mu Nepal bizimbibwa nga bisobola okugumira musisi. Ow’oluganda Man Bahadur, omu ku abo abakola ogw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Nepal yagamba nti: “Bulijjo abantu batera okutubuuza ensonga lwaki tusima omusingi muwanvu era ne tuteekamu enkokoto nnyingi ne bwe kiba nti ebizimbe bye tuba tuzimba bitono. Naye kati tukiraba nti kya magezi okukola bwe tutyo.” Oluvannyuma lwa musisi oyo okuyita, ab’oluganda abalabirira omulimu gwaffe mu Nepal bakkiriza okubudamya abantu mu Bizimbe by’Obwakabaka. Abajulirwa ba Yakuwa awamu n’abantu abalala abaabudamira mu Bizimbe by’Obwakabaka baawulira ng’emitima gibakkakkanye.

Abajulirwa ba Yakuwa n’abantu abalala baabudamira mu Bizimbe by’Obwakabaka

Abakadde mu bibiina baatandikirawo okunoonya Abajulirwa ba Yakuwa abaali batamanyiddwaako mayitire. Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Babita yagamba nti: “Abakadde baakola kyonna ekisoboka okukakasa nti ab’oluganda bonna bali mu mbeera nnungi. Mu butuufu baatulaga okwagala kungi.” Enkeera, oluvannyuma lwa musisi okuyita, ab’oluganda abasatu abali ku kakiiko akalabirira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Nepal, awamu n’abalabirizi abakyalira ebibiina baatandika okukyalira ebibiina basobole okumanya ebyetaago by’ab’oluganda n’okuyamba ku bakadde.

Gary Breaux, okuva ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa yalambula abo abaali bakoseddwa

Nga wayise ennaku mukaaga oluvannyuma lwa musisi oyo okuyita, Gary Breaux ne mukyala we, abaweereza ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu Amerika, bajja mu Nepal. Reuben, omu ku b’oluganda abali ku kakiiko akalabirira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Nepal yagamba nti: “Olw’okuba musisi yali agoyezza nnyo ekibuga Kathmandu, twali tetukakasa obanga Ow’oluganda Breaux anajja. Naye yali mumalirivu okujja era yajja! Abajulirwa ba Yakuwa mu Nepal baasanyuka nnyo okumulaba.”

‘ENKOLAGANA YAFFE YEEYONGERA OKUNYWERA’

Silas, aweereza ku ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa mu Nepal yagamba nti: “Amasimu gaffe bwe gaatereera, ab’oluganda baatandikirawo okutukubira amasimu emisana n’ekiro! Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi baakiraga nti batufaako nnyo. Wadde ng’abamu baayogeranga ennimi ze tutategeera, twakiraba nti baali batwagala nnyo era nti baali baagala okutuyamba.”

Abajulirwa ba Yakuwa abasawo okuva mu Bulaaya baayamba abo abaali bakoseddwa

Okumala ennaku eziwerako, Abajulirwa ba Yakuwa abatali bamu mu Nepal baaleeta emmere ku Bizimbe by’Obwakabaka okuyamba abo abaali bakoseddwa musisi. Ate era akakiiko akakola enteekateeka okuyamba abo ababa bagwiriddwako obutyabaga kaateekebwawo, era amangu ddala obuyambi bwatandika okutuuka okuva mu nsi, gamba nga Bangladesh, Buyindi, ne Japan. Oluvannyuma lw’ennaku ntono, Abajulirwa ba Yakuwa abasawo okuva mu Bulaaya baatuuka mu Nepal era bajjanjabira abantu mu Bizimbe by’Obwakabaka. Ng’oggyeeko okujjanjaba abantu, era baafuba nnyo okubabudaabuda.

Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Uttara yagamba nti: “Musisi oyo yali wa maanyi nnyo era yatukuba entiisa. Naye oluvannyuma twawulira ng’enkolagana gye tulina ne bakkiriza bannaffe yali yeeyongedde okunywera.” Musisi oyo teyakendeeza kwagala abantu ba Yakuwa kwe balina eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannaabwe. Mu kifo ky’ekyo, okwagala kwabwe kweyongera okunywera.