Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKKUBO ERIREETA ESSANYU

Okusonyiwa

Okusonyiwa

“ABANTU BE NNAKULIRAMU BAALI BAVUMI ERA NGA BAYOMBI.” Bw’atyo omukazi ayitibwa Patricia bwe yagamba. Era yagamba nti: “Saayiga kusonyiwa. Ne bwe nnakula, omuntu bwe yannyiizanga, nnasigalanga ndowooza ku ky’ankoze okumala ennaku eziwera era ng’oluusi mbulwa n’otulo.” Kyeyoleka lwatu nti omuntu atasonyiwa oba ow’obusungu tasobola kuba musanyufu era kikosa obulamu bwe. Okunoonyereza kulaga nti abantu abatasonyiwa . . .

  • Bakkiriza obusungu okutta enkolagana yaabwe n’abalala, era kibaviirako okweyawula ku balala n’okuwulira ekiwuubaalo

  • Banyiiga mangu, baba beeraliikirivu, era bennyamira nnyo

  • Bamalira nnyo ebirowoozo byabwe ku nsobi eba ekoleddwa ne kiba nti tebasobola kunyumirwa bulamu

  • Bawulira nga tebasanyusa Katonda

  • Batera okweraliikirira ennyo era bafuna n’endwadde, gamba nga puleesa, obulwadde bw’omutima. Era bafuna n’obulumi mu mubiri, gamba ng’okulumwa ennyingo n’omutwe *

OKUSONYIWA KYE KI? Okusonyiwa kwe kuddiramu omuntu aba akunyiizizza n’oba nga tokyamunyiigidde, tokyamusibidde kiruyi, era nga tolina kirowoozo kya kumwesasuza. Omuntu bw’asonyiwa omulala tekitegeeza nti ekikoleddwa takitwala ng’ekibi, oba nti akitwala ng’ekitono, oba nti akitwala ng’ekitabaddewo. Naye omuntu okusonyiwa omulala aba asoose kukirowoozaako bulungi ng’ayagala okuleetawo emirembe n’okusigala ng’alina enkolagana ennungi n’omuntu oyo.

Omuntu bw’asonyiwa abalala kiba kiraga nti mutegeevu. Omuntu asonyiwa abalala aba akimanyi nti ffenna tusobya mu bigambo ne mu bikolwa. (Abaruumi 3:23) Bayibuli egamba nti: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.”​—Abakkolosaayi 3:13.

N’olwekyo ekimu ku bintu ebiraga nti omuntu alina okwagala kwe kusonyiwa, kubanga okwagala “kunywereza ddala obumu.” (Abakkolosaayi 3:14) Okusinziira ku mukutu gwa Intaneeti ogwa Mayo Clinic, okusonyiwa . . .

  • Kuleetera abantu okuba n’enkolagana ennungi, kubanga kubaleetera okulumirirwa abo ababa babasobezza n’okubasaasira

  • Kuleetera abantu okulowooza obulungi n’okuwulira nga basanyusa Katonda

  • Kukendeeza ku kweraliikirira n’obukyayi eri abalala

  • Kukendeeza ku kwennyamira

YIGA OKWESONYIWA. Magazini eyitibwa Disability & Rehabilitation egamba nti omuntu okwesonyiwa kye kimu ku bintu ebisinga obuzibu okukola naye nga bikulu nnyo eri obulamu bwe. Kiki ekiyinza okukuyamba okuyiga okwesonyiwa?

  • Tosuubira kukola bintu mu ngeri etuukiridde, wabula kikkirize nti okufaananako abantu abalala naawe okola ensobi.​—Omubuulizi 7:20

  • Yigira ku nsobi zo kikuyambe obutaziddamu

  • Toggwaamu maanyi; obunafu obumu butwala ekiseera okubweggyako.​—Abeefeso 4:23, 24

  • Funa emikwano egikuzzaamu amaanyi, egitunuulira ebintu mu ngeri entuufu, egy’ekisa, era egijja okukubuulira we weetaaga okulongoosaamu.​—Engero 13:20

  • Bw’onyiiza omuntu, kkiriza ensobi yo era weetonde mu bwangu. Bw’ofuba okuzzaawo emirembe ojja kufuna emirembe mu mutima.​—Matayo 5:23, 24

AMAGEZI AGALI MU BAYIBULI DDALA GAKOLA!

Bwe yayiga ebyo ebiri mu Bayibuli, Patricia ayogeddwako waggulu yayiga okusonyiwa. Yagamba nti: “Mpulira nga nnasumululwa okuva mu kikoligo ky’obusungu ekyali kikosezza ennyo obulamu bwange. Sikyemalako mirembe era sigimalaako balala. Amagezi agali mu Bayibuli galaga nti ddala Katonda atwagala era atwagaliza ekisingayo obulungi.”

Omusajja ayitibwa Ron yagamba nti: “Nnali sisobola kukyusa ndowooza na bikolwa by’abalala. Naye nnali nsobola okufuga ebirowoozo byange n’ebikolwa byange. Okusobola okufuna emirembe, nnalina okweggyako omuze ogw’okusiba ekiruyi. Nnatandika okukiraba nti emirembe n’obusungu tebikwataganira ddala. Tosobola kuba nabyo byombi mu kiseera kye kimu. Kati nnina omuntu ow’omunda omulungi.”

^ lup. 8 Ensibuko: Omukutu gwa Intaneeti ogwa Mayo Clinic ne Johns Hopkins Medicine, ne magazini eyitibwa Social Psychiatry and Psychiatric Epidemiology.