Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ENGERI EBIZIBU GYE BINAAGONJOOLERWA DDALA

‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga

‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga

Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda, ng’eno ye Gavumenti Katonda gye yassaawo ejja okufuga ensi yonna, bujja kuleetawo emirembe n’obumu mu nsi yonna. Zabbuli 72:7 wagamba nti: “Emirembe ginaabanga mingi nnyo.” Naye Obwakabaka bwa Katonda bunaatandika ddi okufuga ensi yonna? Bunaatandika butya okufuga ensi yonna? Era oyinza otya okuganyulwa mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda?

OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAJJA DDI?

Bayibuli yalaga ebintu ebitali bimu ebyandibaddewo ng’Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja. Ebintu ebyo byonna awamu “kabonero” akalaga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okujja, era akabonero ako kazingiramu ebintu gamba ng’entalo, enjala, endwadde, musisi, n’okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka.​—Matayo 24:3, 7, 12; Lukka 21:11; Okubikkulirwa 6:2-8.

Ate era Bayibuli yalagula nti: “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, . . . nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa, nga tebaagala ba luganda, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bulungi, . . . nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu okusinga Katonda.” (2 Timoseewo 3:1-4) Okuva edda wabaddengawo abantu abatonotono abeeyisa bwe batyo. Naye kati abantu abasinga obungi bwe batyo bwe beeyisa.

Ebintu ebyo byatandika okutuukirira mu 1914. Mu butuufu, bannabyafaayo, bannabyabufuzi, n’abawandiisi boogedde ku ngeri ensi gye yakyukamu oluvannyuma lw’omwaka ogwo. Ng’ekyokulabirako, munnabyafaayo omu ow’omu Denmark ayitibwa Peter Munch yagamba nti: “Ssematalo eyatandikawo mu 1914 yaleetawo enkyukakyuka ey’amaanyi mu byafaayo by’abantu. Ng’omwaka ogwo tegunnatuuka, embeera mu nsi yali nnungi era ng’abantu basuubira nti egenda kweyongerera ddala okuba ennungi, . . . naye waatandika okubaawo obutyabaga, ebintu ebitiisa, obukyayi, n’obutali butebenkevu buli wamu.”

Naye ebintu ebyo ebibi biraga nti waliwo ekintu ekirungi ekinaatera okubaawo. Biraga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okutandika okufuga ensi yonna. Mu butuufu Yesu yayogera ne ku kintu ekirungi ekyandiraze nti enkomerero eneetera okujja. Yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”​—Matayo 24:14.

Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka bwe bubaka obukulu Abajulirwa ba Yakuwa bwe babuulira. Mu butuufu, magazini y’Abajulirwa ba Yakuwa enkulu eyitibwa Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa. Etera okwogera ku bintu ebirungi Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukolera abantu, n’engeri gye bujja okulongoosaamu ensi.

OBWAKABAKA BWA KATONDA BUNAATANDIKA BUTYA OKUFUGA ENSI YONNA?

Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kizingiramu ebintu bino bina ebikulu:

  1. Obwakabaka obwo tebujja kufuga nga buyitira mu bafuzi b’ensi eno.

  2. Olw’okwagala okwenywereza mu buyinza, abafuzi b’ensi bajja kugezaako okulwanyisa Obwakabaka bwa Katonda.​—Zabbuli 2:2-9.

  3. Obwakabaka bwa Katonda bujja kuzikiriza obufuzi bw’abantu. (Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 19:17-21) Olutalo olwo olusembayo olujja okubaawo mu nsi yonna luyitibwa Amagedoni.​—Okubikkulirwa 16:14, 16.

  4. Abo bonna abakkiriza okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda bajja kuwonyezebwawo ku Amagedoni bayingire mu nsi empya eribaamu emirembe. Abantu abo Bayibuli ebayita “ekibiina ekinene,” era kirabika bajja kuba bangi nnyo ng’omuwendo gwabwe guli mu bukadde.​—Okubikkulirwa 7:9, 10, 13, 14.

OYINZA OTYA OKUGANYULWA MU BUFUZI BW’OBWAKABAKA BWA KATONDA?

Ekintu ekisookera ddala omuntu ky’alina okukola okusobola okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda kwe kuyigirizibwa. Yesu bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”​—Yokaana 17:3.

Abantu bwe bamanya Katonda, n’aba nga wa ddala gye bali, baganyulwa mu ngeri nnyingi. Ka tulabeyo emiganyulo ebiri: Ekisooka, bafuna okukkiriza okw’amaanyi. Okukkiriza okwo okuba kwesigamiziddwa ku bukakafu bwe baba bafunye, kubaleetera okukiraba nti Obwakabaka bwa Katonda bwa ddala era nti bunaatera okujja. (Abebbulaniya 11:1) Eky’okubiri, okwagala kwe balina eri Katonda n’eri bantu bannaabwe kweyongera. Okwagala kwe balina eri Katonda kubaleetera okumugondera kyeyagalire. Ate okwagala kwe balina eri bantu bannaabwe kubaleetera okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Ebyo bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”​—Lukka 6:31.

Omutonzi waffe era Kitaffe ow’omu ggulu, atwagaliza ekisingayo obulungi. Ayagala tufune obulamu Bayibuli bw’eyita “obulamu obwa nnamaddala.” (1 Timoseewo 6:19) Obulamu leero si ‘bwa nnamaddala.’ Abantu bangi leero bali mu bulamu obuzibu era bakaluubirirwa nnyo okwebeezaawo. Okusobola okumanya “obulamu obwa nnamaddala” bwe buliba, lowooza ku bimu ku bintu ebirungi ennyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukolera abo be bunaafuga.

Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga, wajja kubaawo emirembe n’obutebenkevu, era abantu bajja kuba n’emmere nnyingi