Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusobola okugonjoola ekizibu, tuba tulina okusooka okumanya ekyo kyennyini ekikireeta

EKIZIBU

Okukola ku Nsibuko y’Ebizibu

Okukola ku Nsibuko y’Ebizibu

Olowooza abantu basobola okugonjoola ebizibu ebingi ebiriwo ebitumalako emirembe era ebituleetera okweraliikirira ebiseera eby’omu maaso? Ebizibu bye tulina okusobola okumalibwawo ddala, ekibireeta kirina okukolebwako.

Ng’ekyokulabirako, omusajja ayitibwa Tom yalwala era oluvannyuma n’afa. Lwaki yafa? Omusawo akola mu ddwaliro Tom gye yatwalibwa nga muyi yagamba nti: “Obubonero bw’obulwadde obwali bumuluma bwe bwali bwakatandika okweyoleka, tewali yafaayo kunoonyereza kyali kiviirako bubonero obwo.” Kirabika abasawo abaasooka okujjanjaba Tom baali bamuwa ddagala limuweweeza buweweeza.

Kyandiba nti n’engeri abantu gye bagezaako okugonjoola ebizibu ebiri mu nsi efaananako bw’etyo? Ng’ekyokulabirako, okusobola okulwanyisa obumenyi bw’amateeka, gavumenti ziteekawo amateeka, zissa kamera mu bifo ebitali bimu, era zongera okunyweza ebitongole bya poliisi. Wadde ng’ebintu ebyo biyinza okuyambako mu kukendeeza obumenyi bw’amateeka, tebikola ku kizibu ekiviirako obumenyi bw’amateeka. Ebyo abantu bye balowooza, bye bakkiririzaamu, ne bye baagala, birina kinene kye bikola ku ngeri gye beeyisaamu.

Daniel, abeera mu nsi emu ey’omu Amerika ow’ebukiikaddyo egootaanye mu by’enfuna, agamba nti: “Edda twali bulungi. Tewaaliwo babbi babbissa mmundu. Naye kati tewakyaliwo kibuga oba kyalo kirimu butebenkevu. Eby’enfuna ebigootaanye biraze ekyo abantu abasinga obungi kye bali. Abantu bangi ba mululu era tebassa kitiibwa mu bulamu bw’abalala n’ebintu byabwe.”

Omusajja omu gwe tujja okuyita Elias, eyadduka mu nsi emu eya Buwalabu olw’obutabanguko obwaliyo oluvannyuma n’ayiga Bayibuli, agamba nti: “Abavubuka bangi mu kitundu gye nnakulira baakubirizibwanga ab’omu maka gaabwe n’abakulu b’eddiini okwenyigira mu ntalo okusobola okutwalibwa ng’abazira. Kyokka n’abo be baali balwanyisa nabo baali bagambibwa ekintu kye kimu! Ekyo kyandeetera okukiraba nti si kya magezi kuteeka bwesige mu bufuzi bw’abantu.”

Ekitabo eky’edda ekirimu amagezi amalungi kigamba nti:

  • “Ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu byekubidde ku kukola kibi okuva mu buto bwe.”​—Olubereberye 8:21.

  • “Omutima mukuusa okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo. Ani ayinza okugumanya?”​—Yeremiya 17:9.

  • “Mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, . . . ebikolwa eby’obugwenyufu, obubbi, okuwaayiriza.”​—Matayo 15:19.

Abantu tebasobodde kuyamba bantu kweggyamu ndowooza mbi eziri mu mitima gyabwe ezibaleetera okukola abalala ebintu ebibi. Mu butuufu, abantu beeyongera bweyongezi kuba na ndowooza ezo embi, ng’ebizibu ebyogeddwako mu kitundu ekisoose bwe bikyoleka. (2 Timoseewo 3:1-5) Ekyo kiri bwe kityo wadde nga kati abantu bamanyi ebintu bingi era nga n’eby’empuliziganya byeyongedde okulongooka! Kati olwo lwaki abantu balemeddwa okuleetawo emirembe n’obutebenkevu mu nsi? Kyandiba nti bagezaako okukola ekintu ekisukka ku busobozi bwabwe?

ABANTU BAGEZAAKO OKUKOLA EKITASOBOKA?

Abantu ne bwe bandisobodde okuyamba abantu okweggyamu endowooza embi, tebandisobodde kuleetawo mirembe na butebenkevu mu nsi. Lwaki? Obusobozi bw’abantu buliko ekkomo.

Bayibuli egamba nti: “Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.” (Yeremiya 10:23) Mazima ddala, tetwatondebwa na busobozi bwa kwewa bulagirizi oba bwa kufuga bantu bannaffe, ng’era bwe tutaatondebwa kubeera mu mazzi oba mu bwengula!

Tetwatondebwa na busobozi bwa kufuga bantu bannaffe ng’era bwe tutaatondebwa kubeera mu mazzi

Lowooza ku kino: Abantu okutwalira awamu baagala abantu abalala okubabuulira engeri gye basaanidde okutambuzaamu obulamu bwabwe oba emitindo gy’empisa gye basaanidde okugoberera? Abantu baagala abalala okubabuulira engeri gye basaanidde okutunuuliramu ebintu, gamba ng’okuggyamu embuto, oba okuwa omuntu ekibonerezo eky’okuwanikibwa ku kalabba, oba engeri gye basaanidde okukangavvulamu abaana baabwe? Ebyo bye bimu ku bintu ebireetawo enjawukana mu bantu. Wadde ng’ekyo Bayibuli ky’egamba si kyangu kukkiriza, ky’egamba kituufu. Tetulina busobozi oba buyinza kufuga bantu bannaffe. Kati ani ayinza okutuyamba?

Omutonzi waffe asobola okutuyamba. Ye yatutonda. Okwawukana ku ekyo abamu kye balowooza, Katonda tatwerabidde. Amagezi agali mu Bayibuli bukakafu obulaga nti Katonda atufaako nnyo. Bwe tutegeera ebyo ebiri mu Bayibuli, kituyamba okwetegeera obulungi. Era kituyamba okumanya ensonga lwaki okuva edda n’edda wabaddewo ebizibu bingi mu byafaayo by’omuntu. Kituyamba n’okumanya ensonga lwaki omuyivu omu Omugirimaani yagamba nti, “Abantu ne gavumenti tebayigidde ku ebyo ebibaddewo mu byafaayo, kibayambe okukyusa mu nneeyisa yaabwe.”

AMAGEZI AGALI MU BAYIBULI GATUKUUMA!

Omusajja omu ow’amagezi yagamba nti: “Ebintu eby’obutuukirivu omuntu by’akola bye biraga nti wa magezi.” (Lukka 7:35) Agamu ku magezi ng’ago gasangibwa mu Isaaya 2:22, awagamba nti: “Ku lw’obulungi bwammwe, mulekere awo okwesiga omuntu obuntu.” Amagezi ago gatuyamba ne tutasuubira bitasoboka. Kenneth, abeera mu kibuga ekimu eky’omu Amerika ow’ebukiikakkono ekirimu ebikolwa eby’obukambwe ebingi yagamba nti: “Buli mufuzi ajja mu buyinza asuubiza okutereeza embeera, naye tebasobola. Tebatuukiriza bye basuubiza, era ekyo kiraga nti ekyo Bayibuli ky’egamba kituufu.”

Daniel, ayogeddwako waggulu yagamba nti: “Buli lunaku oluyitawo nneeyongera okukiraba nti abantu tebasobola kwefuga. . . . Eky’okuba nti omuntu alina ssente nnyingi mu bbanka oba nti alina ebintu mw’aterese ssente ze, si bukakafu obulaga nti ajja kuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Ndabye abantu bangi ng’abo ng’ebintu tebibagendedde nga bwe baali basuubira.”

Ng’oggyeeko okutuyamba obutasuubira bitasoboka, Bayibuli era etuwa essuubi eryesigika nga bwe tugenda okulaba.