Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Wali Weebuuzizza?

Wali Weebuuzizza?
  • Bwe kiba nti Katonda atufaako lwaki aleseewo ebintu ebibi n’okubonaabona okumala ekiseera kiwanvu?

  • Tuyinza tutya okuba abakakafu nti tuli mu nnaku ez’enkomerero?

  • Tukimanya tutya nti ebyo Bayibuli by’eyogera ku Bwakabaka bwa Katonda bijja kutuukirira?

  • Bayibuli esobola okutuyamba mu kiseera kino nga tuliko bye tusalawo?

Olw’okuba Omutonzi waffe atwagala, atuwadde eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo awamu n’ebirala bingi. Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo genda ku mukutu gwaffe ogwa, www.pr418.com/lg, ogwateekebwawo okuyamba abantu okuyiga ebiri mu Bayibuli.

Ku mukutu ogwo, ojja kusangako ebintu bye tukola, ebintu eby’okusoma, eby’okuwuliriza, vidiyo, abantu ababuuzibwa ebibuuzo ebitali bimu, n’ebitabo bingi nga mwe muli ne Bayibuli. Byonna bya bwereere.