OKUKENDEEZA KU KWERALIIKIRIRA
Okweraliikirira Kye Ki?
Okweraliikirira ye nneewulira ejjawo mu mubiri nga wazzeewo embeera eyeetaaga okukolwako. Obwongo busindika empulirizo z’omubiri (hormones) nnyingi mu bitundu byonna eby’omubiri. Empulirizo ezo ziviirako omutima okukuba ennyo, zikyusa engeri omusaayi gye gutambulamu mu misuwa, ziviirako amawuggwe okugaziwa oba okufunda, era ziviirako ebinywa okwesiba. Nga tonnamanya kigenda mu maaso, omubiri gwo guba mwetegefu okubaako kye gukolawo. Ekintu ekiba kireeseewo embeera eyo bwe kiggwaawo, omubiri gwo gudda mu mbeera.
OKWERALIIKIRIRA OKULUNGI N’OKUTALI KULUNGI
Okweraliikirira kintu kya mu butonde ekisobola okukusobozesa okwaŋŋanga embeera ezisoomooza oba ez’obulabe. Okweraliikirira kitandikira mu bwongo. Okweraliikirira okulungi kukusobozesa okubaako ky’okolawo mu bwangu. Okweraliikirira okw’ekigero kusobola okukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo oba okukola obulungi ebintu, gamba ng’ebigezo, yintaaviyu, oba emizannyo.
Naye okweraliikirira bwe kumala ekiseera ekiwanvu oba bwe kuyitirira, kuba kwa bulabe eri omuntu. Bw’obeera ku bunkenke buli kiseera, kiyinza okukukosa mu mubiri, mu birowoozo, ne mu bwongo. Enneeyisa yo, nga mw’otwalidde n’engeri gy’oyisaamu abalala, eyinza okukyuka. Okweraliikirira olutatadde kisobola okuviirako omuntu okwekamirira omwenge oba okukozesa ebiragalalagala asobole okukwaŋŋanga. Kisobola n’okumuviirako okwennyamira, okuwulira nga mukoowu, oba okulowooza ku ky’okwetta.
Wadde ng’abantu bakwatibwako mu ngeri ya njawulo nga balina ebibeeraliikiriza, okweraliikirira kusobola okuvaako endwadde ezitali zimu. Kusobola okukosa kyenkana ebitundu byonna eby’omubiri.