Osobola Okuzuula Amagezi
“Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.” (2 Timoseewo 3:16) Mu lunyiriri olwo, ekigambo “kyaluŋŋamizibwa” kitegeeza nti Katonda yassa ebirowoozo bye mu abo abaawandiika Bayibuli.
Katonda Ayagala Oganyulwe mu Magezi g’Akuwa
“Nze Yakuwa, . . . akuyigiriza osobole okuganyulwa, akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata. Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange! Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”—ISAAYA 48:17, 18.
Ebigambo ebyo bitwale nti Katonda abigamba ggwe. Ayagala obe n’emirembe mu mutima era ofune essanyu erya nnamaddala. Ate era asobola okukuyamba okufuna essanyu eryo n’emirembe.
Amagezi Katonda g’Atuwa Osobola Okugafuna
“Amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.”—MAKKO 13:10.
“Amawulire amalungi” galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna. Ebimu ku ebyo ebiri mu mawulire amalungi mwe muli eky’okuba nti Yakuwa asuubiza okuggyawo okubonaabona, okufuula ensi ekifo ekirungi ennyo, n’okuzuukiza abantu baffe abaafa. Abajulirwa ba Yakuwa babuulira amawulire ago okuva mu Bayibuli mu nsi yonna.