Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

DDALA ENSI ENEESAANAWO?

Amazzi Amalungi

Amazzi Amalungi

ENSI teyandisobodde kubaako bintu biramu singa teyaliiko mazzi, naddala amazzi amalungi. Mu butuufu, buli kiramu ekiri ku nsi, ekitundu kyakyo ekisinga obunene mazzi. Abantu n’ensolo bafuna amazzi ag’okunywa okuva mu nnyanja, mu migga, mu ntobazi, ne mu ttaka, era amazzi ago tugakozesa n’okufukirira ebirime.

Ensonga Lwaki Tuyinza Obutaba na Mazzi Malungi Agamala

Ekitundu ekisinga obunene eky’ensi kibuutikiddwa mazzi. Kyokka, okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna ekinoonyereza ku mbeera y’obudde, ‘amazzi amalungi agali ku nsi matono nnyo.’ Wadde ng’amazzi ago gandibadde gamala abantu n’ebintu ebirala ebiramu ebiri ku nsi, agasinga obungi ku go goonooneddwa oba geeyongedde okuba amazibu okufuna olw’omuwendo gw’abantu okweyongera n’olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde. Bannasayansi bagamba nti mu myaka 30, abantu obuwumbi butaano bajja kuba tebasobola kufuna mazzi malungi gamala.

Ensi Yatondebwa nga ya Kubeerawo

Ensi yakolebwa mu ngeri egisobozesa okubeerako amazzi agamala. Era ettaka, ebiramu eby’omu nnyanja, n’omusana bikolera wamu okulongoosa amazzi. Weetegereze obumu ku bukakafu obulaga nti ensi yaffe yakolebwa nga ya kubeerawo.

  • Kizuuliddwa nti ettaka lisobola okusengejja amazzi ne ligaggyamu ebintu bingi ebigoonoona. Ate era ebimera ebimu eby’omu ntobazi bisengejja amazzi ne bigaggyamu ebintu eby’obulabe ku bulamu gamba nga nitrogen, phosphorus, n’eddagala erikozesebwa okufuuyira ebiwuka.

  • Bannasayansi bakizudde nti waliwo enkola mu butonde ezirongoosa amazzi agabaamu ebintu eby’obutwa. Amazzi agakulukuta gasaabulula ebintu ebyo era oluvannyuma obuwuka obusirikitu ne bubisaanyaawo.

  • Amakovu agamu ag’omu nnyanja gaggya ebintu eby’obutwa ebiba mu mazzi mu nnaku ntono nnyo, era ekyo gakikola mu bwangu oboolyawo n’okusinga amakolero agalongoosa amazzi.

  • Entambula y’amazzi ku nsi esobozesa ensi obutaggwaako mazzi. Entambula y’amazzi eyo awamu n’enkola endala eziri mu butonde, ziziyiza amazzi okufuumuuka okuggwa ku nsi.

Abantu Kye Bakolawo Okugonjoola Ekizibu

Bwe tuddaabiriza emmotoka zaffe ne zitayiwa bifuta oba bwe tutamala gasuula bintu bya butwa, tukuuma amazzi nga mayonjo

Bannasayansi bagamba nti tusaanidde okukekkereza amazzi buli lwe kiba kisoboka. Okusobola okukendeeza ku kwonoonebwa kw’amazzi, tukubirizibwa okuddaabiriza emmotoka zaffe zireme kuyiwa bifuta, obutayiwa ddagala lye tuba tuteetaaga mu kabuyonjo ez’amazzi, n’obutayiwa bintu eby’obutwa mu myala.

Bayinginiya bayiiyizzaayo enkola ezirongoosa amazzi ne zigaggyamu omunnyo. Ekigendererwa kyabwe kya kwongera ku bungi bw’amazzi amalungi.

Naye waliwo ekirala ekyetaaga okukolebwa. Enkola ey’okuggya omunnyo mu mazzi temazeewo kizibu kubanga ya buseere nnyo olw’okuba ekozesa amafuta oba amasannyalaze mangi. Lipooti y’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekwata ku ngeri y’okukuumamu amazzi amayonjo eyafuluma mu 2021 yagamba nti: “Okwetooloola ensi, kaweefube w’okulongoosa amazzi yeetaaga okwongerwamu ennyo amaanyi.”

Ebituwa Essuubi​—Bayibuli ky’Egamba

“Katonda . . . atwala waggulu amatondo g’amazzi, ne gafuuka enkuba n’olufu; ebire ne bigiyiwa, n’etonnyera abantu ku nsi.”​—Yobu 36:​26-28.

Katonda yassaawo enkola mu butonde ezikuuma amazzi agali ku nsi.​—Omubuulizi 1:7.

Lowooza ku kino: Bwe kiba nti Omutonzi yassaawo enkola ezirongoosa amazzi, kikola amakulu okukkiriza nti asobola era mwetegefu okulongoosa amazzi abantu ge boonoonye. Laba ekitundu “Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo,” ku lupapula 15.