Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 1 2024 | Kiki Ekituuse ku Kuwa Ekitiibwa?

Abantu tebatera kuwa balala kitiibwa. N’olwekyo, omuntu bw’aba awa abalala ekitiibwa, bangi kibeewuunyisa.

Ng’ekyokulabirako, abantu bangi tebawaŋŋana kitiibwa, tebassa kitiibwa mu bazadde baabwe, mu bakaddiye, mu bapoliisi, mu bakama baabwe ku mirimu, ne mu basomesa baabwe. Ate era abantu bassa ku mikutu emigattabantu ebintu ebiweebuula abalala! Ekitundu ekimu ekyafulumira mu magazini eyitibwa Harvard Business Review kyalaga nti: “Obutassa kitiibwa mu balala bweyongedde nnyo.” Ate era kyagattako nti: “Abantu bangi beeyongedde okwemulugunya ku nsonga eyo, era nti ekyo kibaddewo okumala ekiseera.”

 

Lwaki Abantu Tebakyassa Kitiibwa mu Balala?

Laba ensonga lwaki kikulu okuwa abalala ekitiibwa ne ky’osobola okukola okuwa abalala ekitiibwa.

Lwaki Abantu Tebakyassa Kitiibwa mu Bulamu?

Weetegereze amagezi Bayibuli g’ewa ku ngeri y’okussa ekitiibwa mu bulamu bwaffe n’obw’abalala.

Lwaki Abantu Tebakyawaŋŋana Kitiibwa mu Maka?

Buli omu mu maka bw’aba awa munne ekitiibwa, ab’omu maka baba basanyufu.

Lwaki Abantu Bangi Beenyooma?

Bayibuli esobola okuyamba abantu okulongoosa obulamu bwabwe n’okwekkiririzaamu.

Kiki Ekituuse ku Kuwa Ekitiibwa?

Soma ebitundu ebikwata ku kuwa abalala ekitiibwa ne ku kussa ekitiibwa mu bulamu. Laba n’ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bakola okuyamba abantu okuwaŋŋana ekitiibwa mu nsi yonna.