Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Abantu Bangi Beenyooma?

Lwaki Abantu Bangi Beenyooma?

ENSONGA LWAKI KIKULU OBUTEENYOOMA

Abantu abateenyooma oba abekkiririzaamu banguyirwa okwaŋŋanga ebizibu bye bafuna mu bulamu. Tebapondooka mangu.

  • Okunoonyereza kulaga nti abantu abatekkiririzaamu batera okwennyamira, okweraliikirira, n’obutalya bulungi. Era batera okunywa ennyo omwenge oba okukozesa ebiragalalagala.

  • Abantu abekkiririzaamu beewala okwegeraageranya n’abalala, era kibanguyira okukolagana obulungi n’abantu be babeera nabo n’okukola emikwano eminywevu. Ku luuyi olulala, abantu abatekkiririzaamu batera okunoonya ensobi mu balala era ekyo kibalemesa okuba n’enkolagana ennungi n’abalala.

  • Abantu abekkiririzaamu ne bwe boolekagana n’ebizibu basigala banywevu. Tebakkiriza bizibu kubalemesa kutuuka ku biruubirirwa byabwe. Ku luuyi olulala, abantu abatekkiririzaamu, n’ebizibu ebitono babitunuulira ng’olusozi olunene olwekiise mu kkubo lyabwe. Ekyo kibaleetera okupondooka amangu.

KY’OSOBOLA OKUKOLA

Londa emikwano egizimba. Kolagana n’abantu abassa ekitiibwa mu balala, abakufaako, era abajja okukuzimba.

“Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”—Engero 17:17.

Yamba abalala. Bw’obeera ow’ekisa era ng’okolera abalala ebintu ebirungi, omuli n’abo abatasobola kukukolera kye kimu, ojja kufuna essanyu erya nnamaddala eriva mu kugaba. Ojja kufuna essanyu ne bwe kiba nti abalala tebalabye ky’okoze.

“Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.

Yamba abaana bo okuyiga okwekkiririzaamu. Engeri emu ekyo gy’oyinza okukikolamu kwe kubaleka okwegonjoolera ebizibu byabwe okusinziira ku busobozi bwabwe. Ekyo kiyamba abaana okuyiga okuvvuunuka ebizibu n’okubigonjoola. Bwe bayiga okukola ekyo, bajja kwekkiririzaamu mu kiseera kino era ne gye bujja nga bakuze.

“Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”—Engero 22:​6, obugambo obuli wansi.

BYE TUKOLA

Enkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa awamu n’enteekateeka yaabwe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli, biyamba abantu okutereeza obulamu bwabwe ne kibasobozesa okwekkiririzaamu.

ENKUŊŊAANA ZAFFE EZA BULI WIIKI

Mu nkuŋŋaana zaffe eza buli wiiki tuwuliriza okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli, era emirundi mingi kubaamu amagezi agatuyamba okuyiga okwekkiririzaamu. Teri kusolooza ssente, era abantu bonna baanirizibwa okuzibeeramu. Ng’ekyokulabirako, bw’onojja mu nkuŋŋaana zaffe ojja kumanya . . .

  • ensonga lwaki Katonda akutwala nti oli wa mugaso

  • engeri gy’osobola okufuna essanyu mu bulamu

  • engeri gy’oyinza okufuna emikwano egya nnamaddala

Ate era ojja kufuna ab’emikwano aba nnamaddala abakufaako.—1 Abakkolinso 12:​25, 26.

Okumanya ebisingawo ebikwata ku nkuŋŋaana zaffe, laba vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall?, ku jw.org/lg.

ENTEEKATEEKA YAFFE EY’OKUYIGIRIZA BAYIBULI

Tuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere nga tukozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Ekitabo kino kirimu ebyawandiikibwa, ebibuuzo ebikwata ku mutima gw’omuntu, vidiyo n’ebifaananyi ebirungi, era kinnyonnyola bulungi ensonga. Enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ebayamba okuyiga okwekkiririzaamu n’okulongoosa obulamu bwabwe.

Okumanya engeri okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa gye kiyinza okukuyamba, laba vidiyo erina omutwe Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?, ku jw.org/lg.