Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Abantu Tebakyassa Kitiibwa mu Balala?

Lwaki Abantu Tebakyassa Kitiibwa mu Balala?

ENSONGA LWAKI KIKULU OKUSSA EKITIIBWA MU BALALA

Bwe tussa ekitiibwa mu balala tuyinza okukkakkanya embeera ebadde esajjuse.

  • Olugero olumu oluli mu Bayibuli lugamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi, naye ekigambo eky’ekkayu kireeta obusungu.” (Engero 15:1) Obutassa kitiibwa mu balala okuyitira mu bye twogera oba bye tukola, kisajjula embeera era ebivaamu tebitera kuba birungi.

  • Yesu yagamba nti: “Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Matayo 12:34) Bwe tuba nga tetussa kitiibwa mu balala kiyinza okulaga engeri gye tutwalamu abantu aba langi endala, eggwanga eddala, oba abo ali mu mbeera ez’enjawulo ku zaffe.

    Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo ku bantu 32,000 mu nsi 28, kwalaga nti abantu ebitundu 65 ku buli kikumi ku bantu abo baagamba nti obuntu bulamu n’okuwaŋŋana ekitiibwa bikendeeredde ddala mu nsi leero.

KY’OSOBOLA OKUKOLA

Bw’oba oli ku ssomero oba ku mulimu ssa ekitiibwa mu bantu bonna, ne bwe kiba nti tokkiriziganya na ndowooza zaabwe. Lowooza ku bintu bye musobola okukkiriziganyaako. Ekyo kijja kukuyamba okwewala okubavumirira oba okubasalira omusango.

“Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe muleme kusalirwa musango.” —Matayo 7:1.

Yisa abalala mu ngeri gy’oyagala bakuyiseemu. Bw’oba ofaayo ku balala era ng’obayisa mu ngeri ey’obwenkanya, nabo bajja kukuyisa mu ngeri y’emu.

“Ebyo bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”—Lukka 6:31.

Sonyiwa abalala. Kitwale nti omuntu ayogedde oba akoze ekintu ekikulumya tagenderedde.

“Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala, era bw’abuusa amaaso ensobi y’omulala kimulungiya.”—Engero 19:11.

BYE TUKOLA

Mu bitundu gye babeera ne gye bakolera, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okuwa abalala ekitiibwa era bayamba n’abalala okukola kye kimu.

Tuyigiriza abantu bonna Bayibuli ku bwereere naye tetukakaatika nzikiriza zaffe oba ndowooza zaffe ku balala. Mu kifo ky’ekyo, tukolera ku kubuulirira okuli mu Bayibuli nga bwe tuba tubuulira abalala obubaka bwaffe tukikola mu ngeri ‘ey’obukkakkamu era eraga nti tubassaamu ekitiibwa.”—1 Peetero 3:15; 2 Timoseewo 2:24.

Tetusosola balala era twaniriza mu nkuŋŋaana zaffe abantu bonna abaagala okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli, ka babe ba ggwanga ki, oba ka babe baavu oba bagagga. Tufuba okussa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala era ‘n’okuwa abantu aba buli ngeri ekitiibwa.’—1 Peetero 2:17.

Tugondera gavumenti ezitwala ebitundu mwe tubeera. (Abaruumi 13:1) Tugondera amateeka g’ab’obuyinza era tusasula emisolo. Ate era wadde nga tetubaako ludda lwe tuwagira bwe kituuka ku by’obufuzi, tussa ekitiibwa mu ddembe ly’abalala okwesalirawo bwe kituuka ku nsonga z’eby’obufuzi.