Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Abantu Tebakyassa Kitiibwa mu Bulamu?

Lwaki Abantu Tebakyassa Kitiibwa mu Bulamu?

ENSONGA LWAKI KIKULU OKUSSA EKITIIBWA MU BULAMU

Bw’okola ebintu ebikosa obulamu bwo oba obw’abalala, kiba kiraga nti tossa kitiibwa mu bulamu bwo oba obw’abalala.

  • Okunywa sigala tekikoma ku kulwaza kkookolo kyokka, naye era kireetera n’omubiri okuba nga tegusobola kulwanyisa kkookolo. Abantu 90 ku buli kikumi abafa kkookolo w’amawuggwe, kigambibwa nti kiva ku kunywa sigala oba okusika omukka abo abanywa ssigala gwe bafulumya.

  • Okumala gakuba amasasi mu bantu buli mwaka kiviiriddeko abantu bangi okubeera mu ntiisa. Lipooti emu okuva mu yunivasite eyitibwa Stanford egamba nti: “Okunoonyereza kulaga nti n’abo abatafuna bisago birabika [olw’amasasi agaba gakubiddwa mu masomero], bakosebwa mu birowoozo okumala emyaka mingi.”

  • Abantu abavuga ebidduka nga banywedde omwenge oba nga bakozesezza ebiragalalagala, bakifudde kya bulabe okuvugira ku nguudo oba okuzitambulirako. Abantu bwe beeyisa mu ngeri eraga nti tebassa kitiibwa mu bulamu, abantu abatalina musango bakosebwa.

KY’OSOBOLA OKUKOLA

Faayo ku bulamu bwo. K’obe ng’omaze bbanga ki nga weenyigira mu mize emibi, gamba ng’okunywa sigala, okunywa sisha, okunywa ennyo omwenge, oba okukozesa ebiragalalagala, osobola okugyekutulako. Okwenyigira mu mize ng’egyo kikosa obulamu bwo era kiraga nti tossa kitiibwa mu bulamu bw’abantu b’obeeramu, omuli n’abo b’obeera nabo mu maka.

“Ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri.”—2 Abakkolinso 7:1.

Weegendereze ebintu ebissa obulamu mu kabi. Okusobola okwewala obubenje, kakasa nti amaka go gali mu mbeera nnungi. Beera mwegendereza ng’ovuga ekidduka, era kakasa nti kiri mu mbeera nnungi. Tokkiriza balala kukupikiriza kukola bintu ebiyinza okuteeka obulamu bwo mu kabi, oba ebiyinza okukuviirako ggwe oba abalala okufa.

“Bw’ozimbanga ennyumba, waggulu ku nnyumba eyo oteekangako omuziziko, oleme kuleeta ku nnyumba yo musango gwa kuyiwa musaayi singa wabaawo awanukayo n’agwa.”—Ekyamateeka 22:8. a

Beera wa kisa eri abalala. Okussa ekitiibwa mu bulamu kizingiramu engeri gye tutwalamu abantu aba langi z’enjawulo, ab’amawanga amalala, abaavu oba abagagga, n’abayivu oba batali bayivu. Obusosoze n’obukyayi bye bisinze okuviirako ebikolwa eby’obukambwe n’entalo mu nsi.

“Mweggyeemu okusiba ekiruyi, okunyiiga, okusunguwala, okuyomba, okuvuma, awamu na buli kikolwa kyonna ekibi. Naye mubeerenga ba kisa buli muntu eri munne.”—Abeefeso 4:​31, 32.

BYE TUKOLA

Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abalala okubeera n’obulamu obulungi. Omulimu gwaffe ogw’okuyigiriza abantu ebiri mu Bayibuli guyambye abantu bangi okulekayo emize emibi.

Bwe tuba tuzimba ebizimbe byaffe tunywerera ku mateeka agatuyamba okwewala obubenje. Bannakyewa abayambako mu kuzimba ebizimbe mwe tukuŋŋaanira n’ebizimbe ebiralala bye tukozesa mu mulimu gwaffe ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli, batendekebwa okwewala obubenje. Ebizimbe byaffe bikeberebwa buli luvannyuma lwa kiseera okukakasa nti bituukana n’amateeka agakwata ku kwewala obubenje agassibwawo ab’obuyinza.

Tudduukirira abakoseddwa obutyabaga. Mu bbanga lya myezi nga 12 egiyise, twadduukirira abantu abaakosebwa obutyabaga bwa mirundi nga 200 mu nsi yonna, era twasaasaanya obukadde bwa ddoola nga 12 okubafunira ebyetaagisa.

Obulwadde bwa Ebola bwe bwabalukawo mu bugwanjuba bwa Afirika (2014) ne mu Democratic Republic of Congo (2018), twayigiriza abantu engeri y’okuziyizaamu obulwadde obwo bunnamutta okusaasaana. Twasindika ababaka okwogera eri abantu ku mutwe ogugamba nti “Obuwulize Buwonyaawo Obulamu.” Mu buli kifo we tusinziza twateekawo ebifo abantu mwe basobola okunaabira engalo era ne tubannyonnyola obukulu bw’okunaaba engalo, ne bye basaanidde okukola okuziyiza obulwadde okusaasaana.

Mu Sierra Leone, leediyo emu yayisa ekirango nga yeebaza Abajulirwa ba Yakuwa okuyamba Abajulirwa ba Yakuwa n’abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa okwewala obulwadde bwa Ebola.

Ekifo we banaabira engalo ku Kizimbe ky’Obwakabaka mu kiseera Ebola we yabalukirawo mu 2014 mu Liberia

a Edda mu kitundu kya Buwalabu, ekiragiro ekyo kyali kyoleka amagezi n’okufaayo ku bulamu bw’ab’omu maka awamu n’abantu abalala.