Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Abantu Tebakyawaŋŋana Kitiibwa mu Maka?

Lwaki Abantu Tebakyawaŋŋana Kitiibwa mu Maka?

ENSONGA LWAKI KIKULU AB’OMU MAKA OKUWAŊŊANA EKITIIBWA

Ab’omu maka bwe bawaŋŋana ekitiibwa kireetawo embeera ennungi mu maka, era omwami, omukyala, n’abaana bawulira nga balina emirembe.

  • Ekitabo The Seven Principles for Making Marriage Work kigamba nti abafumbo bwe baba nga bawaŋŋana ekitiibwa, “baba balagaŋŋana okwagala si mu bintu ebinene byokka, naye ne mu bintu ebitono buli lunaku.”

  • Okunoonyereza kulaga nti abaana abayiga okuwa abalala ekitiibwa baba bekkiririzaamu, bakolagana bulungi ne bazadde baabwe, era tebatera kufuna ndwadde ezikosa ebirowoozo.

KY’OSOBOLA OKUKOLA

Ggwe n’abo b’obeera nabo mu maka, mukole enteekateeka. Ekisooka, kakasa nti buli omu mu maka amanyi kye kitegeeza “okuwa abalala ekitiibwa.” Eky’okubiri, wandiika ebintu ebitali bimu buli omu mu maka by’asuubirwa okukola okulaga nti awa abalala ekitiibwa, n’ebyo by’alina okwewala. Eky’okusatu, mukubaganye ebirowoozo ku bintu ebyo ng’amaka buli omu mu maka abeere ng’amanyi ky’alina okukola okuwa abalala ekitiibwa.

“Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi.”—Engero 21:5.

Ssaawo ekyokulabirako ekirungi. Oyombesa ab’omu maka go bwe babaako ensobi ze bakoze, obasekerera olw’endowooza zaabwe, tossaayo mwoyo era obasala ekirimi nga baliko bye bakugamba?

Gezaako kino: Ssa ekitiibwa mu munno mu bufumbo ne mu baana bo, k’obe ng’olowooza nti tebagwanidde kuweebwa kitiibwa.

“Mu kuwaŋŋana ekitiibwa mmwe muba musooka.”—Abaruumi 12:10.

Ssa ekitiibwa mu balala ne bw’oba tokkiriziganyizza nabo. Bw’obaako ne ky’oyogera eri munno, weewale ebigambo nga bino “ggwe bulijjo okola bw’otyo” oba “kino kyakulema.” Ebigambo ng’ebyo birumya abo b’obeera nabo mu maka era byongera kwonoona mbeera.

“Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi, naye ekigambo eky’ekkayu kireeta obusungu.”—Engero 15:1.

BYE TUKOLA

Abajulirwa ba Yakuwa bakubiriza ab’omu maka buli omu okuwa munne ekitiibwa, era ekyo kyeyolekera mu bitabo, magazini, vidiyo, n’ebitundu eby’okusoma bye bateeka ku mukutu gwabwe, era nga byonna bisobola okufunibwa ku bwereere.

ERI ABAFUMBO: Ebyo ebiri mu kitundu Amagezi Agayamba Amaka bisobola okuyamba abaami n’abakyala . . .

  • okuwuliziganya obulungi

  • okwewala buli omu okusiriikirira munne

  • okulekera awo okuyomba

(Noonya “Amagezi Agayamba Amaka” ku jw.org/lg)

ERI ABAZADDE: Ebyo ebiri mu kitundu Amagezi Agayamba Amaka bisobola okuyamba abazadde okutendeka abaana baabwe . . .

  • okuba abawulize

  • okuyambako mu mirimu egikolebwa awaka

  • n’okuyiga okwebaza oba okusiima

(Noonya “Okukuza Abaana” ne “Okukuza Abatiini” ku jw.org/lg.)

Laba n’ebyongerezeddwako “Questions Parents Ask,” mu katabo, Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1. (Noonya “Questions Parents Ask” ku jw.org)

ERI ABAVUBUKA: Ekitundu Abavubuka ekiri ku jw.org/lg kirimu ebitundu eby’okusoma, vidiyo, n’eby’okukola ebisobola okuyamba abavubuka . . .

  • okukolagana obulungi ne bazadde baabwe era ne baganda baabwe

  • okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe nga boogera nabo ku mateeka ge baba babateereddewo

  • kye bayinza okukola bazadde baabwe okubeesiga

(Noonya “Abavubuka” ku jw.org/lg.)

Okukozesa omukutu gwaffe jw.org kwa bwereere. Tewali ssente z’olina kusasula era teweetaaga kubeera mmemba. Ate era tewali bintu bikukwatako bijja kukusabibwa.