Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUTWE OGULI KUNGULU | KIKI EKIRI EMABEGA KIKI EKIRI EMABEGA W’AMAANYI AGATALI GA BULIJJO?

Lwaki Abantu Bettanira Ebintu Ebirimu Amaanyi Agatali ga Bulijjo?

Lwaki Abantu Bettanira Ebintu Ebirimu Amaanyi Agatali ga Bulijjo?

‘Omuwendo gwa firimu ezirimu eby’obusamize n’abantu abaliko dayimooni gweyongedde nnyo.’—The Wall Street Journal.

LEERO, ebitabo, firimu, n’emizannyo gya kompyuta birimu ebintu eby’obulogo, abantu abakozesa amaanyi agatali ga bulijjo, ebintu ebitiisa, n’ebirala ebiringa ebyo. Lwaki abantu bettanidde nnyo ebintu ng’ebyo? *

Profesa eyeekenneenya embeera z’abantu ayitibwa Claude Fischer yagamba nti: “Mu myaka egiyise, omuwendo gw’Abamerika abakkiririza mu mizimu gweyongedde nnyo. Omuwendo gw’abavubuka mu Amerika abagamba nti baali beebuuzizzaako ku mulaguzi oba abakkiririza mu mizimu gukubisaamu emirundi ebiri ogw’abantu abakulu.”

N’olwekyo tekyewuunyisa nti leero emboozi ne firimu ezikwata ku bantu abaliko emyoyo emibi bizzeemu okucaaka. Magazini ya Wall Street Journal yagamba nti: “Okuba nti leero omuwendo gw’abantu abakkiririza mu maanyi ga badayimooni gweyongedde nnyo, kivudde ku firimu n’ebitabo ebyacaaka mu myaka egyayita ebyali biraga abantu abafuuka ebisolo, emirambo egitambula, n’ebikulekule ebinywa omusaayi.”

Lipoota emu yagamba nti “abantu abali wakati wa 25 ne 50 ku buli kikumi okwetooloola ensi, bakkiririza mu mizimu, era ebitabo bingi ne firimu mu mawanga mangi birimu ebintu ebikwata ku mizimu.” Era okunoonyereza okwakolebwa profesa Christopher Bader ne Carson Mencken ab’omu Amerika “kwalaga nti abantu abali wakati wa 70 ne 80 ku buli kikumi mu Amerika bakkiririza mu maanyi agatali ga bulijjo.”

Waliwo akabi konna akali mu kwenyigira mu by’obusamize oba mu kukkiririza mu maanyi agatali ga bulijjo?

^ lup. 4 Amaanyi agatali ga bulijjo ge maanyi “ge tutasobola kunnyonnyola nga tusinziira ku ssaayansi oba ku mateeka agafuga obutonde.”—Merriam-Webster’s Learner’s Dictionary.