OMUTWE OGULI KUNGULU | KIKI EKIRI EMABEGA KIKI EKIRI EMABEGA W’AMAANYI AGATALI GA BULIJJO?
Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku by’Obusamize?
WADDE ng’abantu abasinga obungi leero eky’okulaba firimu n’okusoma ebitabo ebirimu eby’obusamize oba abantu abakozesa amaanyi agatali ga bulijjo bakitwala ng’ekitalina mutawaana gwonna, yo Bayibuli eraga nti kya kabi nnyo. Bayibuli etulagira okwewala eby’obusamize. Ng’ekyokulabirako, Ekyamateeka 18:10-13 wagamba nti: “Tewalabikanga mu ggwe omuntu yenna . . . akola eby’obulaguzi, oba akola eby’obufumu, oba anoonya obubonero okulagulwa, oba omusamize, oba omulogo, oba eyeebuuza ku mulubaale, oba alagula ebiribaawo mu maaso, oba eyeebuuza ku bafu.” Lwaki? Bayibuli egattako nti: “Kubanga buli akola ebintu ebyo Yakuwa amukyayira ddala . . . Tobangako kya kunenyezebwa mu maaso ga Yakuwa Katonda wo.”
Lwaki Bayibuli evumirira nnyo eby’obusamize?
ENSIBUKO Y’EBY’OBUSAMIZE
Bayibuli eraga nti Katonda bwe yali tannatonda nsi, yatonda obukadde n’obukadde bw’ebitonde eby’omwoyo, oba bamalayika. (Yobu 38:4, 7; Okubikkulirwa 5:11) Buli omu ku bamalayika abo Katonda yamuwa eddembe ery’okwesalirawo, ng’asobola okusalawo okukola ekirungi oba ekibi. Abamu ku bamalayika abo baasalawo okujeemera Katonda ne baleka ebifo byabwe mu ggulu ne bajja ku nsi okugitabangula. N’ekyavaamu ensi ‘yajjula ebikolwa eby’obukambwe.’—Olubereberye 6:2-5, 11; Yuda 6.
Bayibuli egamba nti bamalayika abo ababi babuzaabuza obukadde n’obukadde bw’abantu. (Okubikkulirwa 12:9) Era olw’okuba bakimanyi nti abantu baagala nnyo okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, ekyo nakyo bakikozesa okubabuzaabuza.—1 Samwiri 28:5, 7; 1 Timoseewo 4:1.
Oluusi amaanyi agatali ga bulijjo galabika ng’agayamba abantu. (2 Abakkolinso 11:14) Naye ekituufu kiri nti bamalayika ababi be bali emabega w’amaanyi ago nga balina ekigendererwa eky’okulemesa abantu okumanya amazima agakwata ku Katonda.—2 Abakkolinso 4:4.
N’olwekyo, Bayibuli eraga nti kya kabi nnyo okukolagana n’emyoyo emibi. Eyo ye nsonga lwaki abantu abaali baagala okufuuka abagoberezi ba Yesu bwe baamanya ensibuko y’ebikolwa eby’obusamize, ‘abo abaakolanga eby’obufumu baaleeta ebitabo byabwe ne babyokya,’ wadde nga byali bya ssente nnyingi.—Ebikolwa 19:19.
Ne leero waliwo bangi abeekutudde ku bikolwa eby’obusamize n’eby’okwesanyusaamu ebirimu eby’obusamize. Ng’ekyokulabirako, Maria * bwe yali wa myaka 12, yateranga okuteebereza ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso era ne bituukirira. Yakozesanga kaadi n’ategeeza bayizi banne ebinaabaawo mu maaso. Olw’okuba bye yabagambanga byatuukiriranga, Maria yeeyongera okwettanira ennyo eby’obulaguzi.
Maria yali alowooza nti Katonda yali amuwadde ekirabo ekyo okuyamba abantu. Agamba nti: “Naye waliwo ekintu ekyansobera. Nnalinga nsobola okusoma kaadi ne ntegeeza abalala ebinaabatuukako mu biseera eby’omu maaso. Naye nnali sisobola kuzikozesa kumanya byandintuuseeko mu biseera eby’omu maaso.”
Maria yalina ebibuuzo bingi bye yali yeebuuza, era bw’atyo yasaba Katonda amuyambe. Oluvannyuma Abajulirwa ba Yakuwa baamutuukirira ne batandika okumuyigiriza Bayibuli. Maria yakimanya nti obusobozi bwe yalina obw’okulagula ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso bwali tebuva eri Katonda. Era yakimanya nti abo abaagala okuba mikwano gya Katonda balina okweggyako ebintu byonna ebirina akakwate n’eby’obusamize. (1 Abakkolinso 10:21) Kiki kye yakola? Maria yeggyako ebintu byonna bye yakozesanga mu kulagula. Kati Maria ayamba abantu abalala okumanya amazima agali mu Bayibuli.
Michael bwe yali ng’akyali mutiini, yanyumirwanga nnyo okusoma ebitabo ebyogera ku bantu abakozesa amaanyi agatali ga bulijjo. Agamba nti: “Nnanyumirwanga nnyo okusoma ku baana ab’emyaka gyange abaalina amaanyi agatali ga bulijjo.” Mpolampola, Michael yeeyongera okwagala ennyo okusoma ku bitabo ebyogera ku by’obufuusa ne ku maanyi ga Sitaani. Agamba nti: “Okwagala ennyo okumanya ebikwata ku maanyi ago kyandeetera okulabanga firimu n’okusoma ebitabo ebikwata ku maanyi ago.”
Kyokka Michael bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yakiraba nti yalina okwegendereza ebintu bye yali asoma. Agamba nti: “Nnakola olukalala lw’ebintu byonna ebyalina akakwate n’eby’obusamize ne mbyeggyako. Nnayiga ekintu ekikulu ennyo. Mu 1 Abakkolinso 10:31 tusoma nti: ‘Mukolenga ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.’ Kati bwe mba sinnasoma kitabo kyonna nsooka kwebuuza, ‘Okusoma ekitabo kino kinandeetera obutaweesa linnya lya Katonda kitiibwa?’ Bwe kiba kityo, nneewala okukisoma.”
Bayibuli ttaala emulisa ekkubo lyaffe. Bayibuli etuyamba okumanya ani ali emabega w’ebikolwa eby’obusamize. (Zabbuli 119:105) Kyokka era etubuulira n’ekintu ekirala ekituleetera essanyu. Etugamba nti ekiseera kijja kutuuka ensi yonna ebe nga tekyalimu myoyo mibi. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 37:10, 11 wagamba nti: “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo;olitunula we baabeeranga, naye tebalibaawo. Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”
^ lup. 10 Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.