Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bw’omanya ky’oli era n’okinywererako, osobola okugumira embeera enzibu eziringa embuyaga

ABAANA

9: Ekyo ky’Oli

9: Ekyo ky’Oli

KYE KITEGEEZA

Erinnya lyo n’endabika yo si bye byokka ebiraga ky’oli. Ekyo ky’oli kizingiramu n’empisa zo, enzikiriza zo, n’engeri zo. Kizingiramu ekyo ky’oli kungulu ne munda.

ENSONGA LWAKI KIKULU

Bw’omanya ekyo ky’oli, ojja kunywerera ku ebyo by’okkiririzaamu mu kifo ky’okumala gatwalirizibwa baana banno.

“Abantu bangi balinga biddole ebitimbibwako engoye mu maduuka. Tebyeronderawo ngoye za kwambala wabula abalala be babironderawo.”​—Adrian.

“Njize okunywerera ku kye mmanyi nti kituufu ne bwe kiba nga si kyangu kukikola. Nsobola okumanya mikwano gyange egya nnamaddala nga ndabira ku ngeri gye beeyisaamu n’engeri gye nneeyisaamu nga ndi nabo.”​—Courtney.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mulekere awo okutwalirizibwa enteekateeka y’ebintu eno, naye mukyusibwe nga mufuna endowooza empya.”​—Abaruumi 12:2.

KY’OYINZA OKUKOLA

Manya ekyo ky’oli kati n’ekyo ky’oyagala okubeera, ng’ofuba okumanya ebintu by’okola obulungi, obunafu bwo we buli, ne by’okkiririzaamu. Ekyo okusobola okukikola, weebuuze ebibuuzo nga bino.

By’okola obulungi: Bitone ki bye nnina era bintu ki bye nninamu obumanyirivu? Biki bye nkola obulungi? (Ng’ekyokulabirako: Nkwata obudde? nneefuga? ndi mukozi munyiikivu? ndi mugabi?) Birungi ki bye nkola?

AMAGEZI: Ozibuwalirwa okumanya ebintu by’okola obulungi? Bwe kiba kityo, buuza muzadde wo oba mukwano gwo gwe weesiga abikubuulire era akuwe n’ensonga lwaki agamba bw’atyo.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Buli omu akebere ebyo by’akola, awo ajja kuba ne ky’asinziirako okwenyumiriza ku lulwe, nga teyeegeraageranyizza na muntu mulala.”​—Abaggalatiya 6:4.

Obunafu: Wa we nneetaaga okulongoosa mu nneeyisa yange? Ddi lwe kitera okumbeerera ekizibu okuziyiza ebikemo? Mbeera ki mwe kinneetaagisiza okwefuga ennyo?

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Bwe tugamba nti, ‘Tetulina kibi,’ tuba twerimba.”​—1 Yokaana 1:8.

Bye nzikiririzaamu: Mitindo ki egy’empisa gye ngoberera, era lwaki? Nzikiririza mu Katonda? Kiki ekinkakasa nti gy’ali? Bikolwa ki bye ntwala nti si bya bwenkanya, era lwaki? Biki bye nzikiriza nti bijja kubaawo mu biseera eby’omu maaso?

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Obusobozi bw’okulowooza obulungi bunaakukuumanga n’okutegeera kunaakukuumanga.”​—Engero 2:11.