Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula

Ennyanjula

Ebintu 12 Ebisobozesa Amaka Okuba Amanywevu

Tuwulira ebintu bingi ebiviirako amaka okusasika. Naye biki ebiviirako amaka okuba amanywevu?

  • Wakati wa 1990 ne 2015, omuwendo gw’abafumbo abasussa emyaka 50 abaagattululwa gwakubisaamu emirundi ebiri, ate ogw’abo abasussa emyaka 65 gwakubisaamu emirundi esatu.

  • Abazadde basobeddwa: Abawi b’amagezi abamu bagamba nti abazadde basaanidde okutendereza abaana buli kiseera, ate abalala bagamba nti basaanidde kubakwasa mukono gwa kyuma.

  • Abavubuka bayingira emyaka egy’obukulu nga tebalina kye bamanyi kiyinza kubayamba mu bulamu.

Wadde kiri kityo . . .

  • Obufumbo busobola okubaamu essanyu era busobola okuba obunywevu.

  • Abazadde basobola okuyiga engeri y’okukangavvulamu abaana baabwe mu kwagala.

  • Abavubuka basobola okuyiga ebintu ebinaabayamba nga bakuze.

Ekyo kisoboka kitya? Magazini eno eya Zuukuka! eraga ebintu 12 ebisobozesa amaka okuba amanywevu.