ZUUKUKA Na. 2 2021 | Tekinologiya y’Akufuga oba Ggwe Omufuga?
Tekinologiya y’akufuga, oba ggwe omufuga? Abantu bangi bagamba nti basobola okwefuga bwe kituuka ku ngeri gye bakozesaamu essimu zaabwe oba kompyuta, era nti ebintu ebyo si bye bibafuga. Naye ebintu ebyo bisobola okutwaliriza omuntu nga takitegedde na kukitegeera.
Tekinologiya Akutte Atya ku Mikwano Gyo?
Tekinologiya asobola okukuyamba okuwuliziganya ne mikwano gyo n’okwongera okunyweza enkolagana yo nabo.
Tekinologiya Akutte Atya Ku Baana Bo?
Abaana banguyirwa okukozesa tekinologiya naye era beetaaga obulagirizi.
Tekinologiya Akutte Atya ku Bufumbo Bwo?
Tekinologiya bw’akozesebwa obulungi asobola okuyamba omwami n’omukyala okunyweza enkolagana yaabwe.
Tekinologiya Akutte Atya ku Ngeri gy’Ossaayo Omwoyo?
Tekinologiya asobola okukulemesa okusoma obulungi, okussaayo omwoyo, oba okukuleetera okuwulira amangu ekiwuubaalo ng’oli wekka. Ebintu bisatu ebisobola okukuyamba okussaayo omwoyo ku by’osoma oba ku by’okola.
Yiga Ebisingawo ku JW.ORG
Bintu ki bye wandyagadde okweyongera okumanya?
Mu Magazini Eno
Laba engeri tekinologiya gy’ayinza okuba ng’akosaamu enkolagana yo ne mikwano gyo, amaka go, ng’engeri gy’ossaayo omwoyo.