Tekinologiya Akutte Atya Ku Baana Bo?
Abantu abakulu kiyinza okubazibuwalira okukozesa tekinologiya. Naye abaana kibanguyira okumukozesa olw’okuba bakuze waali.
Kyokka kizuuliddwa nti abaana abamala obudde obungi ku Intaneeti batera . . .
-
okuwulira nga tebasobola kubaawo nga tebakozesezza Intaneeti.
-
okusindika obubaka obulumya abalala oba nabo okufuna obubaka ng’obwo okuva eri abalala.
-
okulaba eby’obuseegu, oluusi nga tebeeyagalidde.
KY’OSAANIDDE OKUMANYA
OKUFUNA OMUZE
Ebintu ebimu ebibeera ku Intaneeti, gamba ng’emizannyo gya kompyuta, bizibu nnyo okubivaako bw’otandika okubikola. Ekitabo ekiyitibwa Reclaiming Conversation kigamba nti: “Programu ezibeera ku masimu zaakolebwa okutukuumira ku masimu gaffe.” Gye tukoma okuzikozesa, abazikola gye bakoma okufuna ssente.
EKY’OKULOWOOZAAKO: Abaana bo babeera ku masima oba ku kompyuta buli kiseera? Oyinza otya okubayamba okukozesa obulungi ebiseera byabwe?—ABEEFESO 5:15, 16.
OBUBAKA OBULUMYA
Abantu abamu bwe baba ku Intaneeti, baweereza bannaabwe obubaka obulimu ebigambo ebirumya era baba tebafaayo ku nneewulira y’abalala.
Ekyo abamu bakikola nga baagala okufuna abantu bangi abalaba oba abasoma ebyo bye bateeka ku mukutu gwabwe. Oba omuntu ayinza okulowooza nti abalala bamusosola. Ng’ekyokulabirako, wayinza okubaawo akabaga ke bataamuyiseeko n’ayisibwa bubi, n’asalawo okukola ekirumya abo abataamuyise.
EKY’OKULOWOOZAAKO: Abaana bo bakozesa bulungi Intaneeti? (Abeefeso 4:31) Beeyisa batya bwe bawulira nti abalala babasosola?
EBY’OBUSEEGU
Intaneeti eriko ebintu bingi eby’obuseegu era byangu okutuukako. Abazadde basaanidde okukimanya nti wadde nga waliwo programu z’essimu oba eza kompyuta ezisobola okubayamba okuziyiza ebintu ebimu abaana baabwe bye balaba, programu ezo tezisobola kuziyiza bintu byonna ebibi.
Okuweerezeganya mesegi n’ebifaananyi eby’obuseegu kimenya mateeka mu nsi nnyingi. Abakola ekintu ng’ekyo basobola okuvunaanibwa omusango gw’okusaasaanya eby’obuseegu eby’abaana abato.
EKY’OKULOWOOZAAKO: Oyinza otya okuyamba abaana bo okwewala okulaba ebintu eby’obuseegu bye baba babaweerezza oba obutabiweereza balala?—ABEEFESO 5:3, 4.
KY’OYINZA OKUKOLA
TENDEKA ABAANA BO
Wadde ng’abaana kibanguyira okukozesa tekinologiya, beetaaga obulagirizi. Ekitabo ekiyitibwa Indistractable kigamba nti okuleka abaana okukozesa amasimu oba kompyuta nga tebannayiga kubikozesa bulungi, “tekiba kya buvunaanyizibwa era kifaananako okubakkiriza okugenda mu kidiba omuwugirwa nga tebannayiga kuwuga.”
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Yigiriza omwana ekkubo ly’asaanidde okutambuliramu; ne bw’aliba ng’akaddiye talirivaamu.”—ENGERO 22:6.
Laba amagezi g’osobola okukolerako, oba wandiika by’osobola okukola.
-
Kubaganya ebirowoozo n’abaana bo ku ngeri entuufu ey’okukozesaamu Intaneeti
-
Omwana wo bw’aba awulira nti bamusosola, muyambe okuvvuunuka enneewulira eyo
-
Kola kyonna ekisoboka okuziyiza ebintu ebitasaana omwana wo by’ayinza okulaba ku Intaneeti
-
Buli luvannyuma lwa kiseera kebera ebintu omwana wo by’alaba ku ssimu oba ku kompyuta
-
Muteerewo ekkomo ku biseera by’alina okumala ku ssimu oba ku kompyuta
-
Tomukkiriza kukozesa ssimu oba kompyuta ng’ali abalala we batamulabira, naddala mu budde obw’ekiro
-
Musseewo etteeka nti tewali alina kukozesa ssimu mu kiseera eky’okulya