Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

KYAJJAWO KYOKKA?

Ensingo y’Ekiwuka

Ensingo y’Ekiwuka

BAYINGINIYA bawuniikirira nnyo bwe balowooza ku ngeri ebiwuka, ng’enkuyege, munyeera, n’ebirala gye bisitulamu ebintu ebibisingira ewala obuzito. Okusobola okutegeera engeri ebiwuka ebyo gye bikikolamu, bayinginiya mu yunivasite ya Ohio State beekenneenya engeri ebitundu by’omubiri gw’ebiwuka ebyo gye bikolamu nga bakozesa kompyuta.

Ekitundu ekikulu ennyo ku mubiri gw’ekiwuka ye nsingo yaakyo eyamba ennyo mu kuwanirira obuzito bw’ekintu ekiwuka kye kiba kisitudde. Ebinywa ebigonvu ebiri mu nsingo y’ekiwuka byeyunga ku mutwe n’ekifuba ebikaluba, mu ngeri efaananako nga bw’onooyingiza engalo z’omukono ogumu mu ngalo z’omukono omulala. Omwekenneenya omu agamba nti “Engeri ebinywa gye byeyunga ku mutwe gw’ekiwuka n’ekifuba kyakyo ekola kinene mu kunyweza ensingo yaakyo. Okuba nti ebinywa ebigonvu byeyunga ku mutwe n’ekifuba ebikaluba kireetera ensingo okuba ennywevu era ekyo kiyinza okuba nga kye kisobozesa ensingo y’ekiwuka okuwanirira ebintu ebizito.” Bannasayansi bagamba nti singa bategeera bulungi engeri ensingo y’ekiwuka gy’esobola okuwanirira ebintu ebizito kisobola okubayamba okwongera okulongoosa mu ngeri loboti ze bakola gye zikolamu.

Olowooza otya? Olowooza ensingo y’ekiwuka n’engeri eyeewuunyisa gy’ekolamu yajjawo yokka oba yatondebwa?