Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omubiri Okugaanira Ddala Ekika ky’Emmere oba Okuboola Ekika ky’Emmere

Omubiri Okugaanira Ddala Ekika ky’Emmere oba Okuboola Ekika ky’Emmere

Emily: “Bwe nnamaliriza okulya nnatandika okuwulira obubi. Akamwa kaatandika okumbabuukirira era olulimi ne luzimba. Nnatandika okuwulira kamunguluze era nnali sikyassa bulungi. Nnafuna n’ebirogologo ku mikono ne mu bulago. Nnagezaako okusigala nga ndi mukkakkamu, naye nnali nkimanyi nti nnalina okugenderawo amangu mu ddwaliro!”

ABANTU abasinga obungi tebafuna buzibu bwonna mu kulya ebika by’emmere ebitali bimu. Kyokka abantu abamu bafuna obuzibu obw’amaanyi nga balidde ebika by’emmere ebimu. Okufaananako Emily eyayogera ebigambo ebiwandiikiddwa waggulu, emibiri gyabwe gigaanira ddala ebika by’emmere ebimu. Obuzibu Emily bwe yafuna mu lulimi olw’ekisawo buyitibwa anaphylaxis. Naye ekirungi kiri nti abantu abasinga obungi tebafuna buzibu bwa maanyi bwe butyo.

Emibiri gy’abantu okugaanira ddala ebika by’emmere ebimu (food allergy) oba okuboola ebika by’emmere ebimu (food intolerance) kweyongedde nnyo mu myaka egiyise. Naye okunoonyereza okumu kulaga nti mu bantu abalowooza nti emibiri gyabwe gigaanira ddala ebika by’emmere ebimu batono nnyo ku bo abaali bagenzeeko mu malwaliro okukeberebwa okukakasa obanga ddala bwe kityo bwe kiri.

Omubiri Okugaanira Ddala Ebika by’Emmere Ebimu

Bannasayansi abasinga bagamba nti omubiri okugaanira ddala ebika by’emmere ebimu kiva ku nkola y’omubiri ey’okulwanyisa obulwadde.

Omubiri okugaana emmere emu kiva ku kiriisa ekiyitibwa protein ekiba mu mmere eyo. Mu bukyamu, omubiri ekiriisa ekyo gukitwala ng’omulabe. Protein eyo bw’eyingira mu mubiri, omubiri guzaala obusirikale obuyitibwa IgE, okulwanyisa omulabe oyo aba aguyingiddemu. Omuntu bw’addamu okulya ekika ky’emmere eyo obusirikale obwo omubiri gwe buba bwazaala buleetera omubiri okuzaala amazzi ag’enjawulo agayitibwa histamine.

Mu mbeera eza bulijjo, amazzi agayitibwa histamine gayamba nnyo mu kulwanyisa endwadde mu mubiri. Naye olw’ensonga ezitategeerekeka, omubiri bwe guzaala obusirikale obuyitibwa IgE n’amazzi agayitibwa histamine kiviirako omuntu okutandika okufuna obuzibu obutali bumu ng’alidde ebika by’emmere ebimu.

Ekyo kituyamba okutegeera ensonga lwaki omuntu asobola okulya ekika ky’emmere ekipya n’atafuna kizibu kyonna, kyokka ate bw’addamu okukirya omubiri gwe ne gukigaana.

Omubiri Okuboola Ekika ky’Emmere

Okufaananako omubiri okugaanira ddala emmere, omubiri okuboola emmere nakyo kireetera omuntu okufuna obuzibu obutali bumu oluvannyuma lw’okulya ekika ky’emmere ekimu. Kyokka omubiri okuboola emmere tekiva ku nkola yaagwo ey’okulwanyisa endwadde, wabula kiva ku ngeri gye gumenyamenyamu emmere. N’olwekyo obuzibu omuntu bw’afuna mu mbeera eno tebuva ku busirikale bw’omubiri. Wabula buva ku kuba nti omubiri gufunye obuzibu mu kusa emmere, oboolyawo ng’obuzibu buvudde ku kuba nti tegulina bintu ebimu ebiyamba mu kumenyaamenya emmere (enzyme), oba ng’emmere omuntu gy’alidde erimu ebintu ebitali byangu kumenyaamenya. Ng’ekyokulabirako, abantu abamu abafuna obuzibu nga banywedde amata kiva ku kuba nti omubiri gwabwe tegulina bintu ebiyamba mu kumenyaamenya ekika kya sukaali omu asangibwa mu mata.

Okuva bwe kiri nti omubiri okuboola emmere tekiva ku busirikale bw’omubiri, omuntu alina ekizibu kino asobola okufuna obuzibu ku mulundi gw’aba asoose okulya ekika ky’emmere emu. Omuntu alina ekizibu ekyo ayinza obutafuna kizibu kyonna ng’aliddeko katono ku kika ky’emmere omubiri gwe gwe kiboola naye ate n’abufuna ng’agiridde mu bungi. Ekyo kyawukana ku muntu alina ekizibu eky’okuba nti omubiri gwe gugaanira ddala ekika ky’emmere emu, kubanga ne bw’alyako akatono ennyo asobola okufuna obuzibu obw’amaanyi.

Obubonero

Bw’oba olina obuzibu obw’okuba nti omubiri gwo gugaanira ddala emmere emu, osobola okufuna obubonero nga buno ng’ogiridde: okusiiyibwa omubiri; okufuna ebirogologo; okuzimba emimiro, amaaso, oba olulimi; okusinduukirirwa emmeeme; okusesema; okuddukana; ate obuzibu obwo bwe buba obw’amaanyi ennyo, ppuleesa y’omubiri gwo eyinza okukka ennyo, oyinza okufuna kantoolooze, oyinza okuzirika, era omutima guyinza okulekera awo okukuba obulungi. Oluusi embeera eyinza okwonooneka ennyo, omuntu n’afa mu kaseera katono.

Omubiri gusobola okugaana ekika ky’emmere kyonna. Naye ebika by’emmere emibiri gye bitera okugaana bye bino: amata, amagi, ebyennyanja, crustacean, ebinyeebwa, soya, ebinyeebwa eby’oku muti, n’eŋŋaano. Omubiri gw’omuntu gusobola okutandika okugaana ebika by’emmere emu ekiseera kyonna. Okunoonyereza kulaga nti oluusi ekizibu ekyo kiyinza okuba eky’ensikirano. Emirundi mingi abaana ababa n’ekizibu ekyo bwe bakula bakivvuunuka.

Obubonero obulaga nti omubiri gw’omuntu gubodde ekika ky’emmere si bubi nnyo ng’obwo obubaawo ng’omubiri gw’omuntu gugaanidde ddala ekika ky’emmere. Omubiri bwe guboola ekika ky’emmere, omuntu ayinza okulumwa olubuto, okuzimba olubuto, okuyisaayisa omukka, okufuna kinsimbye, okulumwa omutwe, okubutuka, okuwulira obukoowu, oba okubeera awo nga teyeetegeera. Ekizibu kino kitera okuleetebwa emmere gamba nga, ebintu ebikolebwa mu mata, eŋŋaano, ebijanjaalo, omwenge, n’ebirala.

Okukeberebwa n’Obujjanjabi

Bw’oba olowooza nti omubiri gwo gulina ekika ky’emmere kye gwagaanira ddala oba kye guboola, kiyinza okukwetaagisa okulaba omusawo alina obumanyirivu mu nsonga ezo. Okuteebereza obuteebereza nti olina obuzibu obwo era mu bukyamu n’osalawo okulekera awo okulya ebika by’emmere ebimu, kiyinza okuba eky’akabi kubanga kisobola okulemesa omubiri gwo okufuna ebiriisa ebimu bye gwetaaga.

Tewali ddagala oba nzijanjaba emanyiddwa eyinza okuweebwa omuntu alina ekizibu eky’omubiri gwe okugaanira ddala emmere, wabula omuntu alina kwewala bwewazi mmere emuleetera obuzibu. * Kyokka bwe kiba nti obuzibu bw’olina si bwa maanyi nnyo, kiyinza okukwetaagisa okukendeeza ku bungi bw’emmere gy’olya ekuleetera obuzibu oba okugirya ebbalirirwe. Kyokka mu mbeera ezimu, abantu abalina obuzibu obwo kiba kibeetaagisa okwewalira ddala okulya emmere ebaleetera obuzibu, oba okugirekayo okumala ekiseera okusinziira ku ngeri emmere eyo gy’ebayisaamu.

N’olwekyo, bw’oba ng’olina ekizibu eky’omubiri gwo okugaanira ddala ekika ky’emmere oba okuboola ekika ky’emmere, kisobola okukuzzaamu amaanyi okukimanya nti waliwo bangi abalina ekizibu ekyo abasobodde okumanya engeri y’okukyaŋŋangamu ne basigala nga balya ebika by’emmere ebirala eby’omugaso era ebibawoomera.

^ lup. 19 Singa omuntu alina ekizibu eky’omubiri gwe okugaana ekika ky’emmere era ng’ayisibwa bubi nnyo ng’agiridde, kiba kya magezi okutambulanga n’eddagala eriyitibwa epinephrine ly’asobola okwekuba ng’alidde emmere eyo mu butanwa. Abasawo bagamba nti singa omwana aba n’ekizibu ekyo, kiba kirungi atambulenga n’ekiwandiiko ekisobola okuyamba abasomesa be oba abalala okukimanya nti alina ekizibu ekyo.