OMUTWE OGULI KUNGULU | DDALA BAYIBULI YAVA ERI KATONDA?
Bayibuli —Byonna by’Eyogera Bituufu
Ntuufu Bwe Kituuka ku Ssaayansi
WADDE nga Bayibuli si kitabo kya ssaayansi, ebyo by’eyogera ebikwata ku ssaayansi bituufu. Ka tulabeyo ebintu bibiri.
ENGERI ENKUBA GY’EKOLEBWAMU
Bayibuli egamba nti: “[Katonda] atwala waggulu amatondo g’amazzi, ne gafuuka enkuba n’olufu; ebire ne bigiyiwa.”
Mu kyawandiikibwa ekyo, Bayibuli eraga emitendera esatu egiyitibwamu okukola enkuba. Katonda, ensibuko y’ebbugumu eriva ku njuba, “atwala waggulu amatondo g’amazzi” nga galinga (1) olufu. Oluvannyuma olufu olwo (2) lufuuka ebire, era ebire ebyo bitonnya (3) ng’enkuba oba bigwa ng’omuzira. N’okutuusa leero, bannassaayansi tebategeera kalonda yenna akwata ku ngeri enkuba gy’ekolebwamu. Mu butuufu tekyewuunyisa nti Bayibuli ebuuza nti: “Waliwo ayinza okutegeera engeri ebire gye byebamba mu bbanga?” (Yobu 36:29) Naye Omutonzi amanyi bulungi emitendera egiyitibwamu okukola enkuba era yaluŋŋamya omu ku bawandiisi ba Bayibuli okugiwandiikako mu butuufu bwagyo. Ekyo Katonda yakikola dda nnyo nga ne bannassaayansi tebannamanya mitendera nkuba mw’eyita okukolebwa.
ENGERI OMUNTU GY’AKULAMU MU LUBUTO
Kabaka Dawudi omu ku bawandiisi ba Bayibuli yagamba Katonda nti: “Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange; ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo.” (Zabbuli 139:16) Ng’akozesa olulimi olw’akabonero, Dawudi yayogera ku ngeri omwana gy’akulamu mu lubuto. Yakiraga nti omubiri gw’omwana ali mu lubuto gukula nga gugoberera obulagirizi obuli mu “kitabo,” oba pulaani eba yamala edda okukolebwa. Ebigambo ebyo Dawudi yabiwandiika emyaka nga 3,000 emabega!
Kyokka bo bannassaayansi baatandika okutegeera ebikwata ku ndagabutonde mu myaka gya 1800, okuyitira mu ebyo ebyavumbulwa munnassaayansi omu ayitibwa Gregor Mendel. Ate era wano jjuuzi mu Apuli 2003, bannassaayansi lwe baasobola okunnyonnyola mu bulambulukufu kalonda akwata ku ngeri omubiri gw’omuntu gye gukulamu nga gugoberera obulagirizi obuli mu ndagabutonde. Endagabutonde bannassaayansi bagigeraageranya ku nkuluze ejjudde ebigambo ebiwandiikiddwa mu nnukuta za walifu. Ebigambo ebyo bye biragiro ebiri mu ndagabutonde. Ebitundu by’omubiri gw’omuntu, gamba ng’obwongo, omutima, amawuggwe, amagulu, n’emikono, bikulira mu mitendera emituufu era mu kiseera ekituufu nga bigoberera ebiragiro ebyo. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Endagabutonde bannassaayansi abamu bagiyita “ekitabo ky’obulamu.” Dawudi yasobola atya okuwandiika ebintu ebituufu ebikwata ku ndagabutonde? Yagamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa gwayogera okuyitira mu nze; ekigambo kye kyali ku lulimi lwange.” *
Eyogera Ebintu Ebitannabaawo ne Bituukirira
KIZIBU nnyo, era kumpi tekisoboka, kumanya ddi, mu ngeri ki, na ku kigero ki obwakabaka n’ebibuga lwe birijjawo oba lwe birivaawo. Naye Bayibuli yalagula ku ngeri obufuzi n’ebibuga ebitali bimu eby’amaanyi gye byandizikiriziddwamu. Ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri.
OKUGWA N’OKUSAANAWO KWA BABULOONI
Babulooni eky’edda kye kyali ekibuga ekikulu eky’obwakabaka obw’amaanyi obw’amala ebyasa bingi nga bufuga ebitundu bya Asiya eby’ebugwanjuba. Waliwo n’ekiseera Babulooni lwe kyali ekibuga ekisingayo obunene mu nsi. Naye bwe waali wabula emyaka nga 200 ekibuga Babulooni kiwambibwe, Katonda yaluŋŋamya omu ku bawandiisi ba Bayibuli ayitibwa Isaaya okulaga nti omufuzi ayitibwa Kuulo yandiwambye Babulooni, era nti ekiseera kyandituuse ekibuga ekyo ne kitaddamu kubeeramu bantu emirembe gyonna. (Isaaya 13:17-20; 44:27, 28; 45:1, 2) Ekyo kyatuukirira?
Lumu ekiro, mu Okitobba 539 E.E.T., omufuzi ayitibwa Kuulo yawamba Babulooni. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, emikutu gy’amazzi egyafukiriranga ennimiro za Babulooni gyasaanawo olw’okuba gyali tegikyalabirirwa. Omwaka gwa 200 E.E. we gwatuukira, Babulooni kyali tekikyabeeramu bantu. N’okutuusa leero, Babulooni “matongo,” nga Bayibuli bwe yagamba.
Isaaya yasobola atya okuwandiika ku kintu ekyali tekinnabaawo naye ne kituukirira? Bayibuli egamba nti ‘Obubaka obukwata ku Babulooni Isaaya yabufuna mu kwolesebwa.’
NINEEVE —“KIKALU NG’EDDUNGU”
Nineeve ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Bwasuli, kyali kibuga ekyazimbibwa obulungi ennyo. Kyalina enguudo engazi, ennimiro z’ebimuli n’emiti, yeekaalu, n’embiri ennene. Wadde kyali kityo, nnabbi Zeffaniya yalagula nti ekibuga ekyo kyandifuuse ‘matongo, era nti kyandifuuse kikalu ng’eddungu.’
Ekibuga Nineeve kyasaanyizibwawo amagye g’Abababulooni n’ag’Abameedi mu kyasa eky’omusanvu E.E.T. Okusinziira ku kitabo ekimu, ekibuga ekyo “kyamala emyaka 2500 nga kyerabiddwa.” Okumala ekiseera abantu abamu baatandika n’okulowooza nti Nineeve tekibeerangawoko! Naye mu myaka gya 1850 abanoonyereza ku bintu eby’edda baatandika okuyiikuula ebisigalira by’ekibuga ekyo. Leero ebisigalira by’ekibuga ekyo bigenda byeyongera okwonooneka ate ebirala bibbibwa, ekiviiriddeko ekitongole ekifuba okukuuma ebintu eby’edda (Global Heritage Fund) okugamba nti: “Ebisigalira bya Nineeve biyinza okuddamu okutubulako.”
Zeffaniya yasobola atya okumanya ebintu ebyo nga tebinnabaawo? Yagamba nti “Yakuwa yayogera [naye].”
Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Ebikulu Abantu bye Beebuuza
BAYIBULI eddamu mu ngeri ematiza ebibuuzo ebikulu abantu bye beebuuza. Ebimu ku byo bye bino wammanga:
LWAKI WALIWO EBINTU EBIBI N’OKUBONAABONA KUNGI MU NSI?
Bayibuli ennyonnyola bulungi ensonga lwaki waliwo ebintu ebibi n’okubonaabona mu nsi. Egamba nti:
-
‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’
—Omubuulizi 8:9. Abafuzi ababi era abatali beesigwa baviiriddeko abantu bangi okubonaabona.
-
“Ebiseera ebizibu n’ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.”
—Omubuulizi 9:11. Ebintu ebigwawo nga tebisuubirwa, gamba ng’obulwadde obw’amaanyi, obubenje, oba obutyabaga, bisobola okutuuka ku muntu yenna, awantu wonna, ekiseera kyonna.
-
“Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi.”
—Abaruumi 5:12. Omusajja n’omukazi abaasooka, Katonda yabatonda nga batuukiridde era nga si ba kufa. Naye baajeemera Omutonzi waabwe mu bugenderevu, ekibi ne ‘kiyingira mu nsi.’
Bayibuli tekoma ku kutubuulira nsonga lwaki abantu babonaabona. Naye era eraga nti Katonda ajja kuggyawo ebintu ebibi byonna era nti “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”
KIKI EKITUUKA KU MUNTU NG’AFUDDE?
Bayibuli eraga nti omuntu bw’afa aba taliiko ky’amanyi era aba talina ky’asobola kukola. Omubuulizi 9:5 wagamba nti: “Abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” Omuntu bw’afa ‘ebirowoozo bye bisaanawo.’ (Zabbuli 146:4) Omuntu bw’afa, obwongo bwe bulekera awo okukola. N’olwekyo, aba takyasobola kuwulira, kulowooza, era aba takyalina ky’asobola kukola.
Naye Bayibuli tekoma ku kutubuulira mbeera omuntu gy’abaamu ng’afudde. Era eraga nti abantu abaafa bajja kuddamu babe balamu okuyitira mu kuzuukira.
LWAKI KATONDA YATONDA ABANTU?
Bayibuli eraga nti Yakuwa Katonda ye yatonda omusajja n’omukazi abaasooka. (Olubereberye 1:27) Eyo ye nsonga lwaki Adamu, omuntu eyasooka, Bayibuli emuyita “omwana wa Katonda.” (Lukka 3:38) Katonda yatonda abantu ng’ayagala babe n’enkolagana ennungi naye era babeere ku nsi emirembe gyonna nga basanyufu era nga bakola ebintu ebibaganyula. Bwe kityo, Katonda yatonda abantu nga baalina obwetaavu obw’okumanya ebimukwatako. Bayibuli egamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”
Ate era Bayibuli egamba nti: “Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!” (Lukka 11:28) Ng’oggyeeko okuba nti Bayibuli etuyigiriza ebikwata ku Katonda, etuyamba okumanya engeri esingayo obulungi gye tuyinza okutambuzaamu obulamu bwaffe era etuyamba okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.
Enkolagana Yo n’Oyo Eyawandiisa Bayibuli
OLUVANNYUMA lw’okwetegereza obukakafu obwo bwe tulabye, bangi bakirabye nti Bayibuli si kitabo butabo ekyogera ku bintu eby’edda. Bakakafu nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda era nti mw’ayitira okwogera n’abantu, nga mw’otwalidde naawe! Okuyitira mu Bayibuli Katonda akukubiriza okumumanya n’okufuuka mukwano gwe. Bayibuli egamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.”
Okusoma Bayibuli kikuganyula nnyo. Mu ngeri ki? Ng’okusoma ekitabo bwe kikusobozesa okumanya endowooza y’oyo eyakiwandiika, n’okusoma Bayibuli kikusobozesa okumanya endowooza n’enneewulira ya Katonda, Oyo eyawandiisa Bayibuli. Mazima ddala nkizo ya maanyi nnyo okumanya endowooza n’enneewulira y’Omutonzi wo! Okugatta ku ekyo, Bayibuli ekuyamba okumanya:
-
Erinnya lya Katonda, kiki ky’ali, n’engeri ze.
-
Ky’ayagaliza abantu.
-
Engeri gy’oyinza okufuuka mukwano gwe.
Wandyagadde okumanya ebisingawo? Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba. Basobola okukukolera enteekateeka okuyiga Bayibuli ku bwereere. Ekyo kisobola okukuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa Katonda, Oyo eyawandiisa Bayibuli.
Ekitundu kino kiraze obumu ku bukakafu obulaga nti ddala Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba essuula 2 mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? akakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, era osobola okukafuna ku www.pr418.com/lg
Era osobola okulaba vidiyo Ani Yawandiika Bayibuli? esangibwa ku www.pr418.com/lg
Genda wansi wa EBITABO > VIDIYO
^ lup. 10 Bayibuli egamba nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa.