Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBISOBOLA OKUYAMBA ABO ABAFIIRIDDWA ABANTU BAABWE

By’Osaanidde Okusuubira

By’Osaanidde Okusuubira

Wadde nga bakakensa abamu bagamba nti ennaku omuntu gy’ayitamu ng’afiiriddwa omuntu we ebaawo mu mitendera, abantu ennaku ebaluma mu ngeri ya njawulo. Okuba nti abantu ennaku ebaluma mu ngeri ya njawulo, kitegeeza nti abamu tebawulira nnaku ya maanyi ng’abalala oba nti bazibiikiriza ennaku yaabwe? Ekyo si bwe kiri. Wadde ng’omuntu okwoleka ennaku ye kiyinza okumuyamba okukendeeza ku bulumi bw’alina, abantu tebooleka nnaku mu ngeri y’emu. Engeri omuntu gy’ayolekamu ennaku esinziira ku buwangwa bwe, ku nkula ye, ebyo by’ayiseemu mu bulamu, n’engeri omuntu we gy’aba yafuddemu.

BIKI EBITERA OKUBAAWO?

Abo ababa bafiiriddwako omuntu waabwe bayinza obutamanya bye banaayitamu mu nnaku ezinaddirira. Naye waliwo enneewulira n’ebizibu ebitali bimu abo abafiiriddwako omuntu waabwe bye batera okufuna. Lowooza ku bino wammanga:

Okuwulira ng’obulumi bukusukkiriddeko. Omuntu aba afiiriddwako omuntu we atera okukaaba, awulira ng’omuntu we amusubwa nnyo, era enneewulira ye ekyukakyuka buli kiseera. Enneewulira ye eyinza okukyukakyuka olw’ebyo by’aba ajjukidde ku muntu we oba olw’ebyo by’aba amulooseeko. Naye omuntu bw’aba yaakafiirwa, emirundi mingi asooka butakikkiriza. Ng’ayogera ku ngeri gye yawuliramu ng’omwami we Timo afudde ekibwatukira, Tiina agamba nti: “Mu kusooka ebigambo byambula era n’okukaaba saakaaba. Ennaku yampitirirako ne kiba nti oluusi nnazibuwalirwanga n’okussa. Nnali sisobola kukkiriza kyali kibaddewo.”

Okweraliikirira, okuwulira obusungu, n’okulumirizibwa omutima. Ivan agamba nti: “Okumala ekiseera nga mutabani waffe Eric eyalina emyaka 24 amaze okufa, nze ne mukyala wange Yolanda twali tuwulira obusungu! Ekyo kyatwewuunyisa nnyo kubanga mu mbeera eza bulijjo tetuli bantu ba busungu. Ate era omutima gwatulumirizanga nga tuwulira nti oboolyawo twandibadde tukola ekisingawo okuyamba mutabani waffe.” Alejandro, eyafiirwa mukyala we oluvannyuma lw’okumujjanjabira ekiseera ekiwerako naye yawulira ng’omutima gumulumiriza. Agamba nti: “Mu kusooka nnagamba nti bwe kiba nti Katonda andese okufuna ekizibu kino eky’amaanyi nteekwa okuba nga ndi muntu mubi. Oluvannyuma nnawulira ng’omutima gunnumiriza olw’okunenya Katonda olw’ekyo ekyali kibaddewo.” Ate Kostas, eyayogeddwako mu kitundu ekivuddeko agamba nti: “Emirundi egimu nnanyiigiranga Sophia olw’okufa. Ate oluvannyuma nnawuliranga ng’omutima gunnumiriza olw’okuwulira bwe ntyo, kubanga naye yafa teyeeyagalidde.”

Obutalowooza bulungi n’ebirowoozo okuwuguka. Oluusi omuntu ayinza okulowooza ebintu ebitali bituufu oba ebitakola makulu. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okulowooza nti asobola okuwulira eddoboozi ly’omuntu we afudde oba okumulaba. Oba omuntu afiiriddwa ayinza okuzibuwalirwa okussaayo omwoyo ku bintu oba okujjukira ebintu. Tiina agamba nti: “Oluusi nnabanga nnyumya n’omuntu naye ng’ebirowoozo tebiriiyo! Nnabanga ndowooza ku bintu ebyaliwo nga Timo afa. Okuba nti ebirowoozo byange byali biwugukawuguka kyeyongera okunnakuwaza.”

Okwagala okuba wekka. Omuntu aba afiiriddwa omuntu we ayinza okuwulira nga tagya mu balala. Kostas agamba nti: “Bwe nnabeeranga mu bafumbo nnawuliranga nga sibagyamu. Kyokka era ne bwe nnabeeranga mu bantu abatali bafumbo nnawuliranga nga nabo sibagyamu.” Yolanda, mukyala wa Ivan, agamba nti: “Tekyatwanguyiranga kubeera mu bantu abaayogeranga ku bizibu ebyali birabika ng’ebitono ku ekyo ffe kye twali tuyitamu! Ate era waaliwo n’abo abaatubuuliranga ku bintu ebirungi abaana baabwe bye baali batuuseeko. Nnabasanyukirangako naye ate mu kiseera kye kimu emboozi yaabwe yabanga tennyumira. Nze n’omwami wange twali tukimanyi nti obulamu bulina okugenda mu maaso, naye tekyatwanguyira kukkiriza mbeera.”

Okukosebwa mu mubiri. Abantu ababa bafiiriddwa batera obutaagala kulya, bayinza okukogga, oba otulo twabwe tuyinza okutaataaganyizibwa. Aaron agamba nti okumala omwaka mulamba nga kitaawe amaze okufa yafuna obuzibu obw’okwebaka. Agamba nti: “Nnazuukukanga ku ssaawa ze zimu buli kiro ne ntandika okulowooza ku taata wange eyafa.”

Alejandro yatandika okuwulira ng’omulwadde. Agamba nti: “Emirundi egiwerako omusawo yankebera n’aŋŋamba nti nnali mulamu bulungi. Kirabika ennaku gye nnalina ye yali endeetera okuwulira ng’omulwadde.” Oluvannyuma Alejandro yatereera. Wadde kyali kityo, yakola kya magezi okulaba omusawo. Ennaku omuntu gy’afuna ng’afiiriddwa esobola okuleetera omubiri gwe okunafuwa ne guba nga tegukyasobola kulwanyisa bulungi ndwadde, okuleetera obulwadde bw’abadde nabwo okweyongera, oba okumuleetera okufuna obulwadde.

Okuzibuwalirwa okukola ku bintu ebikulu. Ivan agamba nti: “Eric bwe yafa twalina okutegeeza ab’eŋŋanda zaffe, mikwano gye, mukama we ku mulimu, ne nnannyini nnyumba gye yali apangisa. Era waliwo ne foomu ezitali zimu ze twalina okujjuzaamu. Ate era twalina okusunsula mu bintu bye. Ebyo byonna byali byetaagisa okussaayo ennyo ebirowoozo kyokka ng’ate twali tukooye mu birowoozo ne mu mubiri.”

Ate abamu okusoomooza bakufuna luvannyuma nga balina okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu omuntu waabwe eyafa bwe yali atuukiriza. Ekyo kye kyatuuka ku Tiina. Agamba nti: “Timo ye yakolanga ku bintu ebikwatagana ne bbanka n’ebirala ebiringa ebyo. Naye kati nze nnalina okubikolako era okwo kwali kusoomooza kwa maanyi gyendi. Nneebuuzanga obanga ddala nnandisobodde okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obwo.”

Ebizibu bye tulabye waggulu ebijjawo ng’omuntu afiiriddwa omuntu we biyinza okuleetera omuntu okulowooza nti kizibu nnyo okwaŋŋanga ennaku ejjawo ng’omuntu afiiriddwa omuntu we. Omuntu bw’afiirwa omuntu we kireeta obulumi obw’amaanyi, naye ekyo omuntu bw’akimanya nga bukyali kisobola okumuyamba okwaŋŋanga embeera eyo. Ate era kijjukire nti tekiri nti buli muntu aba afiiriddwa afuna ebintu ebyo byonna ebyogeddwako waggulu. Era omuntu aba afiiriddwa bw’akimaya nti kya bulijjo okufuna enneewulira ng’ezo kisobola okumubudaabuda.

NDIDDAMU OKUBA OMUSANYUFU?

Ky’osaanidde okusuubira: Obulumi obw’amaanyi omuntu bw’afuna ng’afiiriddwa tebubaawo mirembe gyonna; ekiseera bwe kigenda kiyitawo bukendeera. Kyokka ekyo tekitegeeza nti ekiseera kituuka omuntu ne yeerabirira ddala omuntu we. Naye mpolampola obulumi obw’amaanyi bwe yalina bugenda bukkakkana. Oluusi n’oluusi obulumi obwo busobola okudda oboolyawo olw’ekintu omuntu ky’aba ajjukidde ku muntu we eyafa oba ku nnaku ezimu mu mwaka gamba ng’olunaku lwe baafumbiriganwako. Naye oluvannyuma abantu abasinga obungi batereera ne baddayo mu mbeera eza bulijjo. Ekyo kitera okubaawo naddala singa omuntu aba afiiriddwa afuna obuyambi okuva eri ab’eŋŋanda ze oba mikwano gye era singa abaako by’akola ebisobola okumuyamba okwaŋŋanga embeera eyo.

Nnaamala bbanga ki nga mpulira obulumi buno? Abamu batereera mu bbanga lya myezi bwezi. Abasinga obungi bamala omwaka gumu oba ebiri ne balyoka batandika okuwuliramu enjawulo. Ate abalala kibatwalira ekiseera kiwanvuko n’okusingawo. a Alejandro agamba nti: “Nnamala emyaka esatu nga mpulira obulumi obw’amaanyi.”

Weegumiikirize. Teweeraliikirira binaabaawo nkya, teweegeraageranya ku balala, era kimanye nti obulumi omuntu bw’afuna ng’afiiriddwa tebubaawo mirembe gyonna. Kati ekyebuuzibwa kiri nti, waliwo ebintu by’osobola okukola okukendeeza ku bulumi bw’olina oba ku kiseera ky’onoomala ng’olina obulumi obwo?

Kya bulijjo omuntu okufuna obulumi obw’amaanyi ng’afiiriddwa

a Abantu abamu balemererwa okuvvuunuka ennaku ey’amaanyi gye baba balina wadde nga wayiseewo ekiseera kiwanvu nnyo. Mu mbeera ng’eyo kiyinza okubeetaagisa okulaba omusawo.