Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBISOBOLA OKUYAMBA ABO ABAFIIRIDDWA ABANTU BAABWE

Ebiri mu Magazini Eno: Ebisobola Okuyamba Abo Abafiiriddwa Abantu Baabwe

Ebiri mu Magazini Eno: Ebisobola Okuyamba Abo Abafiiriddwa Abantu Baabwe
  • OBULUMI OMUNTU BW’AFUNA NG’AFIIRIDDWA

    Bulumi bwa ngeri ki omuntu bw’afuna ng’afiiriddwa? Lwaki abo abafiiriddwa abantu baabwe beetaga okubudaabudibwa?

  • BY’OSAANIDDE OKUSUUBIRA

    Ekitundu kino kiraga endowooza ezitali ntuufu abantu ze balina ku bulumi omuntu bw’afuna ng’afiiriddwa, era ne ku ebyo abantu abafiiriddwa bye batera okuyitamu. Bw’oba nga wafiirwa omuntu wo weetegereze enneewulira ezitali zimu omuntu z’afuna ng’afiiriddwa.

  • OKWAŊŊANGA ENNAKU EY’AMAANYI​—BY’OYINZA OKUKOLA

    Bintu ki by’osobola okukola ebisobola okukuyamba okwaŋŋanga ennaku gy’olina olw’okufiirwa omuntu wo? Ekitundu kino kiwa amagezi ageesigamiziddwa ku Bayibuli agayambye abantu bangi.

  • OBUYAMBI OBUSINGAYO OBULUNGI ERI ABO ABAFIIRIDDWA

    Laba ekintu ekiyambye abantu bangi abafiiriddwa abantu baabwe era olabe engeri naawe gye kisobola okukuyamba.