Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekitabo eky’Edda Ekikyali eky’Omugaso ne Leero

Ekitabo eky’Edda Ekikyali eky’Omugaso ne Leero

Abantu bangi Bayibuli bagitwala nti kitabo kitukuvu. Naye ng’oggyeeko okuba nti Bayibuli kitabo kitukuvu ekitubuulira engeri y’okusinzaamu Katonda, erimu amagezi agatuyamba ne mu bulamu obwa bulijjo.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo abantu abamu bye boogera ku ngeri gye baganyuddwa mu kusoma Bayibuli n’okukolera ku magezi agagirimu.

“Obulamu bwange bweyongedde okulongooka. Endowooza yange n’enneewulira yange byeyongedde okutereera. Nneeyongedde okufuna essanyu.”​—Fiona.

“Okusoma Bayibuli kinnyambye okuba n’ekigendererwa mu bulamu.”​—Gnitko.

“Obulamu bwange bulongoose nnyo. Kati mmala ebiseera ebiwerako nga ndi wamu n’ab’omu maka gange.”​—Andrew.

Waliwo n’abalala bangi abakizudde nti Bayibuli erimu amagezi agatuyamba ennyo mu bulamu bwaffe.

Ka tulabe engeri Bayibuli gy’esobola okuyamba abantu . . .

  • Okuba abalamu obulungi mu mubiri

  • Okuba n’enneewulira ennungi

  • Okuba n’obulamu bw’amaka obulungi n’emikwano eminywevu

  • Okukozesa obulungi ssente

  • Okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda

Ebitundu ebiddako bigenda kukuyamba okukiraba nti Bayibuli kitabo ekyava eri Katonda ekisobola okukuyamba mu bulamu obwa bulijjo.