EBYAFAAYO
Aristotle
EMYAKA egisukka mu 2,300 emabega, omusajja ayitibwa Aristotle alina kinene kye yakola ku bikwata ku ssaayansi n’obufirosoofo. N’okutuusa leero, abantu bangi baagala nnyo okusoma ku ebyo bye yawandiika, era bye yawandiika bivvuunuddwa mu nnimi ezitali zimu. Munnabyafaayo ayitibwa James MacLachlan yawandiika nti: “Okumala emyaka nga 2,000, abantu abasinga obungi mu Bulaaya baali bagoberera enjigiriza za Aristotle ezikwata ku butonde.” Era ezimu ku njigiriza za Aristotle zaasensera eddiini y’Ekikatuliki, ey’Ekipolotesitante, n’ey’Ekiyiisiraamu.
Yawandiika ku Bintu Bingi
Aristotle yawandiika ku bintu bingi omwali ebyo ebikwata ku ssaayansi, empisa, ennimi, amateeka, amaanyi ga magineeti, eby’amasanyu, ebitontome, eby’obufuzi, endowooza n’enneeyisa y’abantu, n’ensengeka y’ebigambo. Kyokka yasinga kututumuka olw’ebyo bye yawandiika ebikwata ku ssaayansi.
Abantu abayivu ab’omu Buyonaani ab’edda beesigamanga nnyo ku busobozi bwabwe obw’okulowooza okunnyonnyola ebikwata ku butonde. Okusobola okubaako kye bakkiriziganyaako, baatandikiranga ku kintu bonna kye baali batwala nti kituufu ne bagenda nga bakikubaganyaako ebirowoozo okutuusa lwe baatuukanga okusalawo eky’enkomeredde.
Nga bagoberera enkola eyo, abantu abayivu ab’omu Buyonaani baasobola okukkiriziganya ku bintu bingi ebituufu. Ekimu ku byo kye ky’okuba nti waliwo amateeka agafuga obwengula. Kyokka obuzibu obwaliwo buli nti ebintu bye bakkiriziganyangako byali byesigamiziddwa ku ebyo byokka bye baali basobola okulaba n’amaaso gaabwe, ne kiba nti bangi ku bassajja abagezi, nga mw’otwalidde ne Aristotle, emirundi mingi bakkiriziganyanga ku bintu ebitaali bituufu. Ng’ekyokulabirako, baali bakkiriza nti ensi eri mu makkati g’obwengula era nti emmunyeenye ne ziseŋŋendo zeetooloola ensi. Mu
kiseera ekyo abantu bangi ekyo kye baali batwala ng’ekituufu. Ekitabo ekiyitibwa The Closing of the Western Mind kigamba nti: “Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, ekyo Abayonaani abayivu kye baali bakkiriza kyali kirabika ng’ekituufu ddala.”Endowooza eyo enkyamu teyandibadde ya kabi nnyo singa yasigala mu bannassaayansi. Naye ekyo si bwe kyali.
Abakatuliki Batandika Okuyigiriza Enjigiriza za Aristotle
Wakati w’omwaka gwa 476 E.E. n’omwaka gwa 1500 E.E., abantu abaali beeyita Abakristaayo mu Bulaaya baali bakkiririza nnyo mu njigiriza za Aristotle. Abakulembeze b’eddiini y’Ekikatuliki mu Rooma, naddala Thomas Aquinas (a. 1224-1274) baateeka enjigiriza za Aristotle mu bitabo byabwe eby’eddiini. Bwe kityo, Ekkereziya Katolika yatandika okuyigiriza enjigiriza ya Aristotle egamba nti ensi eri mu makkati g’obwengula. Enjigiriza eyo yatandika n’oyigirizibwa abakulembeze b’eddiini y’Ekipolotesitante, gamba nga Calvin ne Luther, nga bagamba nti ya mu Bayibuli.
Abantu abamu enjigiriza za Aristotle baali bazitwala ng’amazima ag’enkomeredde
Omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Charles Freeman yagamba nti: “Ekiseera kyatuuka ne kiba nti waaliwo enjawulo ntono ddala wakati [w’enjigiriza za Aristotle] n’ez’Ekkereziya Katolika.” Bwe kityo, kigambibwa nti Aquinas yafuula Aristotle Omukatuliki. Naye Freeman yagamba nti: “Ekituufu kiri nti Aquinas ye yafuuka omugoberezi wa Aristotle.” Era kiyinza n’okugambibwa nti abo abaali mu Ekkereziya Katolika baafuka bagoberezi ba Aristotle. Eyo ye nsonga lwaki munnassaayansi Omuyitale ayitibwa Galileo bwe yagezaako okuwa obukakafu obulanga nti ensi yeetooloola enjuba, kyanyiiza nnyo abakulembeze b’eddiini era ne bamulagira okulangirira mu lujjudde nti bye yali ayigiriza byali bikyamu. * Kyokka ye Aristotle yali akkiriza nti okumanya okukwata ku ssaayansi kweyongera buli lukya era nti enjigiriza yonna eya ssaayansi esobola okukyusibwamu. Nga kyandibadde kya magezi singa abakulembeze b’eddiini abo baalina endowooza ng’eya Aristotle!
^ lup. 11 Okumanya ebisingawo ebikwata ku buzibu obwaliwo wakati w’Ekkereziya ne munnassaayansi ayitibwa Galileo, laba Awake! eya Apuli 22, 2003