“Eno Ngeri Mpya ey’Okuyigiriza!”
OMUSOMESA wa siniya ayitibwa Soo-jeong, abeera mu South Korea akozesa vidiyo eziri ku mukutu gwa jw.org ng’asomesa abaana. Agamba nti: “Abaana baagala nnyo vidiyo erina omutwe Ow’omukwano Owa Nnamaddala y’Ani? Bwe bamala okulaba vidiyo eyo, emirundi mingi batera okugamba nti, ‘Ebiri mu vidiyo eyo tubadde tetubirowoozangako nga tulonda emikwano. Eno ngeri empya ey’okuyigiriza!’ Abamu ku baana baagamba nti bajja kugendanga ku mukutu gwa jw.org okufuna obulagirizi ku nsonga ezitali zimu.” Soo-jeong agattako nti: “Nkubirizza n’abasomesa abalala okukozesa vidiyo ezo, era baganyuddwa nnyo mu kuzikozesa nga basomesa abaana.”
Vidiyo endala eganyudde ennyo abayizi mu South Korea y’eyo erina omutwe By’Oyinza Okukola nga Waliwo Akuyiikiriza. Omusomesa akolera mu kitongole ekiyitibwa Juvenile Violence Prevention Foundation yalaga abaana vidiyo eyo. Agamba nti: “Ebifaananyi ebiri mu vidiyo eyo byakwata nnyo ku baana abo.” Yagattako nti: “Vidiyo eyo nnungi nnyo kubanga ng’oggyeeko okulaga abaana eby’okukola nga waliwo abayiikiriza era eraga ne bye basobola okukola okwewala embeera eyo okubaawo.” Ekitongole ekyo kyasaba olukusa okukozesanga vidiyo eyo okusomesa abaana mu masomero agatali gamu, era ne kikkirizibwa okugikozesa. Abapoliisi nabo bakozesa vidiyo eziri ku jw.org okubangula abantu.
Bw’oba nga togendangako ku mukutu gwa jw.org, gendako olabe ebiriko. Mwangu okukozesa, era ebitabo, Bayibuli, n’ebintu ebirala ebiriko osobola okubiwanulako ku bwereere.