BAYIBULI KY’EGAMBA
Entalo
Mu biseera eby’edda, Abayisirayiri baalwananga entalo mu linnya lya Yakuwa Katonda waabwe. Ekyo kitegeeza nti Katonda awagira entalo ezirwanibwa ennaku zino?
Lwaki Abayisirayiri ab’edda baalwananga entalo?
ABANTU ABAMU KYE BAGAMBA
Abayisirayiri baasinzanga Katonda kanywa musaayi.
BAYIBULI KY’EGAMBA
Amawanga Abayisirayiri ge baalwanyisa ne bawamba gaali gakola ebintu ebibi ennyo omwali, ebikolwa eby’obukambwe, okwegatta n’ensolo, okwegatta n’abantu be balinako oluganda, n’okusaddaaka abaana. Oluvannyuma lw’okugumiikiriza amawanga ago okumala ekiseera kiwanvu gasobole okukyusa enneeyisa yaago, Katonda yagamba nti: “Amawanga ge ngoba mu maaso gammwe gafuuse agatali malongoofu olw’okukola ebintu ebyo byonna.”—Eby’Abaleevi 18:21-25; Yeremiya 7:31.
“Yakuwa Katonda wo agoba amawanga gano mu maaso go olw’obubi bwago.”—Ekyamateeka 9:5.
Katonda abaako oludda lw’awagira mu ntalo ezirwanibwa leero?
LOWOOZA KU KINO
Mu ntalo nnyingi ezirwanibwa, abakulu b’amadiini ku njuyi zombi baba bagamba nti Katonda ali ku ludda lwabwe. Ekitabo ekiyitibwa The Causes of War kigamba nti: “Amadiini geenyigidde mu ntalo zonna ezizze zirwanibwa.”
BAYIBULI KY’EGAMBA
Abakristaayo tebalina kulwana ntalo. Omutume Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Mukolenga kyonna kye musobola okuba mu mirembe n’abantu bonna. Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga.”—Abaruumi 12:18, 19.
Mu kifo ky’okugamba abagoberezi be okulwana entalo, Yesu yabagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya, mulyoke mubeere abaana ba Kitammwe ali mu ggulu.” (Matayo 5:44, 45) Ensi yaabwe ne bw’eba ng’erwana n’ensi endala, Abakristaayo tebasaanidde kwenyigira mu lutalo olwo. Tebalina kubaako ludda lwe bawagira kubanga si ba nsi. (Yokaana 15:19) Bwe kiba nti Katonda alagira abaweereza be mu mawanga gonna okwagala abalabe baabwe n’obutaba ba nsi, tasobola kuba ng’aliko oludda lw’awagira mu ntalo ezirwanibwa leero.
“Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa Obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, abantu bange bandirwanye ne siweebwayo eri Abayudaaya. Naye Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”—Yokaana 18:36.
Entalo ziriggwaawo?
ABANTU ABAMU KYE BAGAMBA
Entalo tezisobola kuggwaawo. Ekitabo War and Power in the 21st Century kigamba nti: “Entalo zijja kweyongera okubaawo.”
BAYIBULI KY’EGAMBA
Entalo zijja kukoma abantu bonna bwe banaaba nga tebakyayagala kulwana. Obwakabaka bwa Katonda bugenda kuggyawo eby’okulwanyisa byonna ku nsi era bujja kuyigiriza abantu bonna ku nsi okuba ab’emirembe. Bayibuli egamba nti Katonda “alitereeza ensonga ezikwata ku mawanga ag’amaanyi agali ewala. Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi, n’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo, era tebaliyiga kulwana nate.”—Mikka 4:3.
Bayibuli egamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba bufuga ensi, tewajja kubaawo gavumenti z’abantu zivuganya, mateeka ganyigiriza bantu ne gabaleetera okwegugunga, oba obusosoze obuleetawo enjawukana. Bwe kityo, entalo zijja kuggwaawo. Katonda agamba nti: ‘Tebaliba ba bulabe wadde okukola akabi konna, kubanga ensi erijjula okumanya Yakuwa ng’amazzi bwe gajjula ennyanja.’—Isaaya 11:9.
“Amalawo entalo mu nsi yonna. Amenya emitego gy’obusaale era amenyaamenya amafumu; ayokya amagaali ag’olutalo.”—Zabbuli 46:9.