Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUTWE OGULI KUNGULU | ENGERI GY’OYINZA OKWEWALAMU ENDWADDE

Weekuume Endwadde

Weekuume Endwadde

EBIBUGA bingi eby’edda byaliko bbugwe. Singa omulabe yakubanga ekituli mu bbugwe oyo, ne bwe kyabanga kitono kitya, kyateekanga obulamu bw’abantu abaabanga mu kibuga ekyo mu kabi. Omubiri gwo gulinga ekibuga ekiriko bbugwe. Okusobola okuba omulamu obulungi kisinziira ku ngeri gye weekuumamu endwadde. Lowooza ku bintu bitaano ebitera okusaasaaniramu endwadde, era n’engeri gy’osobola okuzeekuumamu.

AMAZZI

OBULABE: Obuwuka obw’obulabe busobola okuyingira mu mubiri gwo okuyitira mu mazzi amakyafu.

KY’OYINZA OKUKOLA: Ekintu ekisooka ky’oyinza okukola kwe kukuuma amazzi ge mukozesa nga mayonjo. Bw’okimanya nti amazzi galimu obuwuka obw’obulabe oba bw’ogateebereza okubaamu obuwuka obwo, osobola okubaako ky’okolawo okugalongoosa. * Amazzi ag’okunywa gasaanikire bulungi, era bw’oba ogasenako kozesa ekintu ekiyonjo oba gateeke mu kintu ekiriko ttaapu gye musobola okukozesa nga mugasenako. Weewale okuteeka engalo zo mu mazzi ag’okunywa. Bwe kiba kisoboka, beera mu kitundu abantu gye bafaayo okulaba nti obubi tebugenda mu nzizi.

2 EMMERE

OBULABE: Obuwuka obw’obulabe buyinza okuba mu mmere oba ku mmere.

KY’OYINZA OKUKOLA: Emmere erimu oba eriko obuwuka obw’obulabe eyinza okulabika obulungi era ng’ewooma. N’olwekyo, fuba okwozanga ebibala nga tonnabirya. Bw’oba oteekateeka emmere oba ng’ogigabula, kakasa nti engalo zo, ebintu by’oteekamu emmere, n’effumbiro mw’ofumbira, biyonjo. Eby’okulya ebimu biba byetaaga okufumbibwa ennyo okusobola okutta obuwuka obw’obulabe obubibaamu. Weegendereze emmere eba ekyusizza endabika, ewunya obubi, oba ewulikika obulala mu kamwa, kubanga ekyo kiyinza okuba nga kiraga nti erimu obuwuka obuleeta endwadde. Bwe kiba kisoboka, emmere eba efisseewo giteeke mangu mu firiiji. Weewale okuteekerateekera abalala emmere ng’oli mulwadde. *

3 EBIWUKA

OBULABE: Ebiwuka ebimu bwe bikuluma bisobola okukuteekamu obuwuka obw’obulabe obubibeeramu.

KY’OYINZA OKUKOLA: Osobola okwewala ebiwuka ebiyinza okukulwaza nga weewala okufuluma wabweru mu kiseera we bibeerera ebingi, oba ng’oyambala engoye ezikubikka, gamba ng’essaati oba bbulawuzi eyeemikono emiwanvu oba empale empanvu. Weebake mu katimba k’ensiri, oba weesiige eddagala erigoba ebiwuka. Kakasa nti tewali bikebe oba bintu birala mazzi mwe gasobola kulegama, ne kiviirako ensiri okwaluliramu. *

4 EBISOLO

OBULABE: Obuwuka obumu busobola okubeera mu bisolo, ne bwe biba bya waka, ne bitafuna buzibu bwonna, naye ate nga bwe bukuyingiramu bukulwaza. Buyinza okukuyingiramu ng’olumiddwa ekisolo oba nga kikukwagudde, oba ng’olinye mu bubi bwakyo.

KY’OYINZA OKUKOLA: Okusobola okwekuuma endwadde, abantu abamu basalawo okwewala okuyingiza ebisolo mu nnyumba mwe basula. Nnaaba mu ngalo oluvannyuma lw’okukwata ku nsolo yonna, era weewale ensolo z’omu nsiko. Ensolo bw’ekuluma oba bw’ekukwagula, ekiwundu kyoze bulungi era ogende mu ddwaliro. *

5 ABANTU

OBULABE: Obuwuka obuleeta endwadde busobola okukuyingira nga buyitira mu mpewo oluvannyuma lw’omuntu akuli okumpi okukolola oba okwasimula. Era busobola okukuyingira nga weekoonye ku muntu omulwadde, ng’omugudde mu kifuba, oba ng’omukutte mu ngalo. Obuwuka obwo busobola okuba ku bintu gamba ng’eminyolo, abantu we bakwata nga bayita ku madaala, ku ssimu, ku limooti, oba ku mapeesa ga kompyuta.

KY’OYINZA OKUKOLA: Tokozesa na balala bintu gamba ng’eggirita, akasenya, oba tawulo. Weewale okukwata ku musaayi gw’abalala oba entuuyo z’abalala. Fuba okunaabanga mu ngalo. Eno y’emu ku ngeri esingayo obulungi ey’okwewalamu endwadde.

Bw’oba omulwadde, bwe kiba kisoboka, sigala awaka. Ekitongole ky’eby’obulamu mu Amerika kyagamba nti bw’oba olina ekifuba oba ssenyiga, kololera oba yasimulira mu katambaala, so si mu ngalo.

Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka.” (Engero 22:3) Kikulu nnyo okukolera ku magezi ago nnaddala mu kiseera kino nga waliwo endwadde nnyingi mu nsi! Osobola okumanya ebisingawo ebikwata ku kwewala endwadde nga weebuuza ku basawo, era osobola okwewala endwadde ng’ofuba okuba omuyonjo. Ba mumalirivu okubaako ky’okolawo okwewala endwadde!

^ lup. 6 Ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna kyayogera ku bintu abantu bye basobola okukola okuggya oba okutta obuwuka obw’obulabe obuba mu mazzi. Muno mwe muli, okugateekamu eddagala eriyitibwa chlorine, okugateeka mu kasana, okugasengejja, n’okugafumba.

^ lup. 9 Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, laba Awake! eya Jjuuni 2012 olupapula 3-9.

^ lup. 12 Okumanya ebikwata ku ngeri y’okwewalamu omusujja, laba Awake! eya Jjulaayi 2015 olupapula 14-15.

^ lup. 15 Ekintu kyonna eky’obusagwa bwe kikuluma, yanguwa okugenda mu ddwaliro.