Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Milford Sound

ENSI N’ABANTU

Ka Tugendeko e New Zealand

Ka Tugendeko e New Zealand

KIRABIKA emyaka nga 800 emabega abantu abayitibwa Abamawoli baasaabala olugendo oluwanvu ennyo ku guyanja ne bagenda okubeera mu New Zealand. Bwe baatuuka eyo baalaba ng’ekitundu ekyo kyawukana nnyo ku bizinga by’e Polynesia gye baali bavudde. Ekifo ekipya kye baali bazzeemu kyali kya nsozi, kyalimu agayinja ga bbalaafu, ensulo ez’amazzi agookya, n’omuzira. Nga wayise emyaka nga 500 bukya Abamawoli batuuka, abantu abalala baatuuka mu New Zealand nga bava mu Bulaaya. Leero abantu abasinga obungi mu New Zealand balina obuwangwa bw’abantu ab’omu Bulaaya n’ab’omu Polynesia. Abantu nga 90 ku buli 100 mu nsi eyo babeera mu bibuga. New Zealand ye nsi erina ekibuga ekikulu ekisingayo okuba mu bukiikaddyo, era ekibuga ekyo kiyitibwa Wellington.

Ettosi eritokota ku Kizinga eky’Omu Bukiikakkono

Wadde nga New Zealand nsi eyeesudde, buli mwaka abalambuzi ng’obukadde busatu be bagendayo okulambula ebifo ebirabika obulungi ennyo ebiriyo.

Ekimera ekiyitibwa silver tree fern kisobola okuweza fuuti nga 30 obuwanvu

Kyali kirowoozebwa nti ekika ky’ekinyonyi ekitabuuka ekiyitibwa takahe kyasaanawo naye mu 1948 kyazuulibwa nti kikyaliyo

New Zealand erimu ebika by’ensolo ez’omu nsiko ebitasangikasangika, era y’esinga okubaamu ebika by’ebinyonyi ebitabuuka. Ate era mu nsi eyo eriyo ekika ky’amakonkome agayitibwa tuatara, agawangaala emyaka nga 100! Ensolo eziyonsa eziriyo, mwe muli obuwundo obw’ebika ebitali bimu, lukwata, ne dolphin.

Abajulirwa ba Yakuwa bamaze emyaka nga 120 mu New Zealand. Bayigiriza abantu Bayibuli mu nnimi nga 19, nga muno mwe muli ennimi z’omu Polynesia, gamba ng’Olunuwe, Olularotonga, Olusamowa, n’Olutonga.

Abamawoli nga bayimbira mu ngoye ez’ekinnansi