ENSI EJJUDDE EBIZIBU
3 Nyweza Enkolagana Yo n’Abalala
LWAKI KIKULU?
Ebizibu ebigenda byeyongera mu nsi biviiriddeko abantu bangi obutafaayo ku nkolagana yaabwe n’abalala.
-
Abantu beeyawula ku mikwano gyabwe.
-
Abafumbo beeyongera okufuna obutakkaanya.
-
Abazadde bafaayo kitono ku ebyo ebyeraliikiriza abaana baabwe, era abamu tebabifiirako ddala.
Bye Weetaaga Okumanya
-
Okuba n’emikwano kikulu nnyo kubanga gituyamba, naddala mu biseera ebizibu.
-
Ebizibu ebiriwo mu nsi biyinza okuleeta ebizibu ebirala ebitasuubirwa mu maka.
-
Abaana bo bwe balaba ebintu ebibi mu mawulire, biyinza okubakosa mu ngeri gy’otasuubira.
By’Oyinza Okukola Kati
Bayibuli egamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.”—Engero 17:17.
Ab’emikwano basobola okutuyamba era n’okutuwa amagezi. Okukimanya obumanya nti waliwo omuntu akufaako kiyinza okukuyamba okugumira ebizibu.