Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU

Akasanduuko Akatono Akalimu Emmere ey’eby’Omwoyo

Akasanduuko Akatono Akalimu Emmere ey’eby’Omwoyo

SSEBUTEMBA 1, 2020

 Abajulirwa ba Yakuwa bafuna emmere nnyingi ey’eby’omwoyo okuyitira ku masimu ne ku kompyuta okusinga bwe kyali kibadde. Naye mu bitundu bingi, baganda baffe bazibuwalirwa okukozesa Intaneeti olw’okuba ya bbeeyi. Abalala babeera mu bitundu awali Intaneeti naye ng’etera okuvaako, ng’etambula mpola, oba mu bitundu awatali Intaneeti.

 Wadde kiri kityo, baganda baffe ne bannyinaffe bangi kati basobola okuwanula ebitabo ne vidiyo ne bwe kiba nti tebalina Intaneeti! Ekyo kisoboka kitya?

 Ebibiina ebitalina Intaneeti biweebwa akasanduuko akatono akayitibwa JW Box. Kabeeramu akuuma akakasobozesa okweyunga ku masimu ne ku kompyuta, ne programu endala eziteekebwamu Ekitongole kya Kompyuta ku Beseri, era kabaamu ebitabo ne vidiyo okuva ku jw.org. Buli kasanduuko kagula ddoola za Amerika nga 75.

 Ab’oluganda ne bannyinaffe ku Kizimbe ky’Obwakabaka bayunga amasimu gaabwe ku JW Box ne bawanula ebitabo ne vidiyo ebibaako. N’abo abalina amasimu amakadde oba agatali ga bbeeyi basobola okugayungako. Naye ekibiina bwe kiba tekirina Intaneeti JW Box esobola etya okuba n’ebitabo ne vidiyo ebipya? Buli luvannyuma lw’ekiseera, ofiisi y’ettabi eweereza mu bibiina obuuma bwa USB, nga buli kuuma kagula ddoola za Amerika nga 4, nga kaliko ebintu ebipya okuva ku jw.org ebisobola okuteekebwa ku JW Box.

 JW Box eyambye etya baganda baffe? Nathan Adruandra, taata abeera mu Democratic Republic of Congo, agamba nti: “Emirundi mingi nnagezangako okuwanula vidiyo, ‘Ai Yakuwa, . . . Nneesiga Ggwe’ ne Mujjukire Mukazi wa Lutti, naye nnalemererwanga era ekyo kyammalangamu amaanyi. Kati nsobola okuteeka vidiyo ezo ku ssimu yange, era vidiyo ezo zituyambye ng’abazadde okuyigiriza obulungi abaana baffe.”

 Ow’oluganda ayamba ebibiina mu Nigeria okufuna JW Box agamba nti: “Ab’oluganda batwala JW Box ng’ekirabo eky’omuwendo ennyo okuva eri Yakuwa. Basanyufu nnyo olw’okuba kati basobola okuwanula ebitabo ne vidiyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.”

 JW Box obusukka mu 1,700 bwe bwakaweerezebwa baganda baffe mu Afirika, Oceania, ne mu Amerika ow’omu Bukiikaddyo, era enteekateeka zikolebwa busobole okuweerezebwa ne mu bibiina ebirala bingi. Ssente ezikola ebintu ebyo byonna zivaawa? Ssente eziweebwayo okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna, bangi ku mmwe ze muwaayo okuyitira ku donate.pr418.com, ze zikozesebwa. Mwebazibwa nnyo olw’omwoyo ogwo omugabi gwe mwoleka.