ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU
Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okuzimba ng’Ekirwadde kya COVID-19 Tekinnabalukawo
NOOVEMBA 1, 2020
Olw’okuba abantu nkumi na nkumi babatizibwa buli mwaka, obwetaavu bw’ebizimbe mwe tusinziza bweyongedde. Olw’ensonga eyo, ebitongole ebikola omulimu gw’okuzimba mu nsi yonna byateekateeka okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe mwe tusinziza ebisukka mu 2,700 mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2020. a
Eky’ennaku, enteekateeka ezo zaataataaganyizibwa ekirwadde kya COVID-19. Okusobola okukuuma obulamu bw’ab’oluganda ne bannyinaffe era n’okugoberera amateeka ga gavumenti, Akakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo akakolera wansi w’Akakiiko Akafuzi kaayimiriza projekiti z’okuzimba ezisinga obungi mu nsi yonna. Wadde kiri kityo, mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2020, ebizimbe mwe tusinziza ebisukka mu 1,700 bye byazimbibwa oba ne biddaabirizibwa ng’ekirwadde kya COVID-19 tekinnabalukawo. Okugatta ku ekyo, projekiti ennene ezisukka mu 100 ez’okuzimba ebizimbe ebikozesebwa ofiisi z’amatabi ze zaamalirizibwa. Laba engeri projekiti ebbiri ez’okuzimba ezaamalirizibwa gye ziganyuddemu baganda baffe.
Ofiisi y’Ettabi lya Cameroon. Ofiisi y’ettabi eyasookawo eyali mu Douala yali ntono nnyo era nga yeetaaga okugaziya. Akakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo kalowooza ku ky’okuddaabiriza ofiisi eyo, naye ssente ezaali zeetaagibwa zaali nnyingi nnyo nga zisukka ne ku ezo ezaali zigya mu bizimbe ebyo. Ate era baanoonyereza ne ku ky’okuzimba ekizimbe ekipya oba okugula n’okuddaabiriza ekizimbe ekyaggwa edda okuzimbibwa, naye tewali na kimu ku ebyo kyakolebwa.
Mu kiseera ekyo, ab’oluganda baakitegeerako nti mu bukiikakkono bwa Douala, gavumenti yali eteekateeka okuzimba oluguudo olwali lugenda okuyita okumpi n’ekimu ku Bizimbe byaffe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene. Oluguudo olwo lwandirongoosezza mu bye ntambula era kyandibadde kyangu okutuusa eby’okukozesa mu kifo ekyo. Ekyo kyennyini ofiisi y’ettabi kye yali yeetaaga. N’olwekyo, Akakiiko Akafuzi kaasemba okuzimba ofiisi y’ettabi empya ku ludda olumu olw’ettaka okuli Ekizimbe ekyo Ekituuza Enkuŋŋaana Ennene.
Abajulirwa ba Yakuwa n’abapatanyi abaapangisibwa baakolera wamu ku projekiti eyo—ekintu ekyakendeeza obudde era ne kikekkereza ssente. Mu butuufu, projekiti yatwala ssente ntono nnyo okusinga ku ezo ze baali basuubira, baafissa ssente ezisukka mu bukadde bubiri obwa doola z’Amerika! Ab’omu maka ga Beseri baasobola okuyingira ebizimbe ebyo ebipya ng’ekirwadde kya COVID-19 tekinnabalukawo.
Ababeseri b’omu Cameroon baganyuddwa nnyo olw’embeera gye babeeramu ne gye bakoleramu okulongooka, era ofiisi y’ettabi eyo empya bagitwala ng’ekirabo okuva eri Yakuwa. Abafumbo abamu bagamba nti, “Twagala okweyongera okukola ennyo tulage nti tusiima ekirabo kino.”
Ofiisi Awavvuunulirwa Ebitabo eya Tojolabal (RTO), mu Mexico. Okumala emyaka mingi, tiimu evvuunula Olutojolabo yakoleranga ku ofiisi y’ettabi lya Central America, esangibwa okumpi n’ekibuga Mexico. Kyokka, olulimi Olutojolabo lusinga kwogerwa mu bibuga Altamirano ne Las Margaritas—ebiri kiromita nga 1,000 (mayiro 620) okuva ku ofiisi y’ettabi! N’olwekyo, abavvuunuzi baakisanga nga kizibu okumanya olulimi Olutojolabo abantu aba bulijjo lwe baali boogera. Ate era ofiisi y’ettabi yakisanga nga kizibu okufuna ab’oluganda ne bannyinaffe abatuukiriza ebisaanyizo abaali babeera okumpi n’ofiisi okuyambako mu kuvvuunula Olutojolabo era ne mu kukwata amaloboozi.
Olw’ensonga ezo, Akakiiko Akawandiisi akakolera wansi w’Akakiiko Akafuzi kaayagala okusengula tiimu eyo kagizze mu kitundu awoogerwa Olutojolabo. Ekyo okusobola okukikola, ofiisi y’ettabi yasalawo okugula ekizimbe n’okukiddaabiriza. Ekyo kyatwala ssente ntono nnyo okusinga okuzimba oba okupangisa ebizimbe.
Omu ku bavvuunuzi annyonnyola engeri gy’aganyuddwamu. Agamba nti: “Mu myaka ekkumi gye nnamala ng’ankola ng’omuvvuunuzi ku ofiisi y’ettabi, saasangako maka gaali googera lulimi lwange. Kati ofiisi yaffe eri mu kitundu awoogerwa olulimi Olutojolabo. Nkolagana n’abantu aboogera Olutojolabo buli lunaku. Ekyo kinnyambye okuyiga ebigambo ebipya bingi era n’okulongoosa mu ngeri gye nzivvuunulamu.”
Projekiti ez’Okukolebwa mu Mwaka gw’Obuweereza Ogwa 2021
Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2021, waliwo enteekateeka ez’okuzimba Ofiisi Awavvuunulirwa Ebitabo 75 era n’ebizimbe ebikozesebwa mu masomero g’ekibiina, embeera bwe ziba nga zinaatusobozesa. Projekiti ennene munaana ez’okuzimba ebizimbe ebikozesebwa ofiisi z’amatabi zijja kweyongera okugenda mu maaso, muzingiramu projekiti empya eya Ramapo, mu New York, n’okusengula ofiisi y’ettabi eya Argentina ne ya Yitale. Okugatta ku ekyo, Ebizimbe by’Obwakabaka ebipya ebisukka mu 1,000 byetaagibwa, ebifo omukuŋŋaanirwa ebisukka mu 6,000 byetaaga okukyusibwa, era n’Ebizimbe by’Obwakabaka 4,000 byetaaga okuddaabirizibwa.
Omulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza guyimirizibwawo gutya? Ow’oluganda Lázaro González, ali ku Kakiiko k’Ettabi lya Central America yaddamu ekibuuzo ekyo bwe yali ayogera ku projekiti ey’okuzimba Ofiisi Awavvuunulirwa Ebitabo eya Tojolabal. Yagamba nti: “Mu kitundu ky’ettabi lyaffe, ab’oluganda tebali bulungi mu bya nfuna. N’olwekyo, singa tetwafuna buyambi bw’ab’oluganda mu nsi yonna, tetwandisobodde kuzimbira bakkiriza bannaffe ofiisi awavvuunulirwa ebitabo. Ssente ezaaweebwayo ab’oluganda mu nsi yonna za tusobozesa okutwala abavvuunuzi mu bitundu awoogerwa ennimi zaabwe. Tusiima nnyo ab’oluganda mu nsi yonna olw’omwoyo omugabi gwe booleka.” Mu butuufu, twasobola okumaliriza projekiti ezo zonna olwa ssente ze mwawaayo okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna, era ng’abasinga obungi ku mmwe mwaziwaayo okuyitira ku donate.pr418.com.
a Ekitongole ekikola ogw’okuzimba (LDC) kikuba pulaani era ne kizimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu kitundu kye ttabi lyakyo. Ekitongole ekikola ogw’okuzimba mu nsi yonna (Worldwide Design/Construction Department) ekiri ku kitebe ekikulu, kye kisalawo projekiti z’okuzimba ezirina okusooka okukolebwa mu nsi yonna n’engeri y’okuzikolamu.