Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Essomero lya Gireyaadi erya 2017 nga ligenda mu maaso

ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU

Essomero lya Gireyaadi Liganyula Ensi Yonna

Essomero lya Gireyaadi Liganyula Ensi Yonna

DDESEMBA 1, 2020

 Buli mwaka ab’oluganda ne bannyinaffe abawerako abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna okwetooloola ensi, bayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi eribeera ku Beseri y’e Patterson, mu New York. a Mu ssomero eryo, abayizi bayiga engeri gye bayinza okutuukirizaamu obulungi obuvunaanyizibwa obw’enjawulo bwe baba nabwo mu kibiina kya Yakuwa. Okutendekebwa okwo kwe bafuna kubayamba okunyweza ebibiina n’ofiisi z’amatabi mu nsi yonna.

 Mazima ddala, Essomero lya Gireyaadi ssomero ery’ensi yonna. Ng’ekyokulabirako, essomero ery’omulundi 147 eryaliwo mu 2019, lyalimu abayizi 56, abaali bava mu mawanga 29. Abayizi abagenda mu Ssomero lya Gireyaadi baba baweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna, gamba ng’Ababeseri, abalabirizi b’ebitundu, abaminsani, oba nga bapayoniya ab’enjawulo.

 Essomero litandika okuteekebwateekebwa nga wabulayo ekiseera kiwanvuko olunaku olusooka olw’okusoma lutandike. Ng’ekyokulabirako, Ekitongole Ekikola ku by’Entambula ekiri ku kitebe ekikulu (WHQ Travel) kisasulira abayizi tiketi z’ennyonyi. Okugeza, abayizi abaali mu ssomero ery’omulundi 147, okutwalira awamu buli muyizi yasaasaanyizibwako ddoola 1,075 okusobola okugenda e Patterson n’okuddayo mu nsi ye. Abayizi abaava ku bizinga bya Solomon baalinya ennyonyi za mirundi ena okusobola okutuuka e Patterson, era bwe baali baddayo ewaabwe baalinya ennyonyi za mirundi essatu—baatambula olugendo lwa kiromita ezisukka mu 35,400 (mayiro 22,000)! Buli omu ku bayizi abo yasaasaanyizibwako ddoola 2,300. Okusobola okukekkereza ssente, Ekitongole Ekikola ku by’Entambula kikozesa programu ya kompyuta ekozesebwa okukwata tiketi, okuzuula tiketi z’ennyonyi eza ssente ensaamusaamu. Ate era, wadde nga baba bamaze okufuna tiketi, basigala banoonyereza nga bakozesa programu eyo okumala wiiki eziwera oba emyezi okulaba oba ng’emiwendo gisse. Ate era ekitongole ekyo kikozesa mayiro z’ennyonyi ab’oluganda ze bawaayo, okufuna tiketi.

 Abayizi bangi baba beetaaga viza okusobola okuyingira mu Amerika. N’olwekyo, Ekitongole Ekikola ku by’Amateeka ekiri ku kitebe ekikulu kiyamba abayizi okufuna viza. Okutwalira awamu buli muyizi asaasaanyizibwako ddoola 510 okufuna viza n’okwewandiisa.

 Okutendekebwa abayizi abo kwe bafuna kutuganyula kutya? Hendra Gunawan aweereza ng’omukadde mu Bukiikaddyo bwa Asiya. Aweerereza mu kibiina omuli abafumbo abaaliko mu Ssomero lya Gireyaadi. Agamba nti: “Emabegako, ekibiina kyaffe kyali tekirina bapayoniya aba bulijjo. Naye bwe twamala okufuna ab’oluganda abaava mu Ssomero lya Gireyaadi, ab’oluganda mu kibiina baakoppa obunyiikivu bwabwe n’omwoyo gw’okwagala okuweereza gwe baalina ne batandika okuweereza nga bapayoniya. Oluvannyuma, mwannyinaffe omu mu kibiina kyaffe yagenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka!”

 Sergio Panjaitan aweerereza ku Beseri mu Bukiikaddyo bwa Asiya ng’ali wamu n’ab’oluganda abaaliko mu Ssomero lya Gireyaadi. Agamba nti: “Okutendekebwa kwe baafuna tekuganyula bo bokka; naye naffe kutuganyula. Baayiga ebintu bingi! Naye mu kifo ky’okwegulumiza olw’ebyo bye baayiga, babigabanako n’abalala. Ekyo kituzimba mu by’omwoyo ffenna.”

 Ssente ezikozesebwa mu ssomero eryo zivaawa? Ziva ku ezo eziweebwayo okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna, ng’ezisinga obungi ziweebwayo okuyitira mu emu ku nkola eziri ku donate.pr418.com. Tubeebaza nnyo olwa ssente ze muwaayo, eziyambako mu ssomero lino ery’ensi yonna.

a Ebintu eby’okusoma mu ssomero lino biteekebwateekebwa Ekitongole Ekikola ku Masomero g’Ekibiina, ekikolera wansi w’Akakiiko Akawandiisi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Abayizi basomesebwa abasomesa abakola mu kitongole ekyo awamu n’abasomesa ababa bakyadde, nga mw’otwalidde n’ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi.