Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU

Obutonyeze Obukyusa Obulamu bw’Abantu

Obutonyeze Obukyusa Obulamu bw’Abantu

OKITOBBA 1, 2021

 Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 1912, gwagamba nti, “Oboolyawo abasomi baffe bangi baliko bamuzibe be bamanyi. Basobola okufuna ebitabo eby’okusoma ku bwereere . . . . Ebitabo bino biwandiikiddwa mu nnukuta eziri mu butonyeze bamuzibe ze basobola okusoma.” Omunaala ogwo gwagattako nti: “Bangi ku bamuzibe basiima nnyo obubaka obulaga nti ebizibu ebiri mu nsi byonna binaatera okukoma.”

 Ebigambo ebyo we byawandiikirwa, amawanga ag’enjawulo agoogera Olungereza gaalina enkola ez’enjawulo ez’okuwandiikamu ebitabo bya bamuzibe. Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa bo baali bamaze ekiseera nga bafulumya ebitabo ebirimu amazima agali mu Bayibuli ebya bamuzibe nga biwandiikibwa “mu nnukuta eziri mu butonyeze,” eziyitibwa braille. Ekyo ne kati tukyakikola! Tulina ebitabo bya bamuzibe ebiri mu nnimi ezisukka mu 50. Ebitabo ebyo bikubibwa bitya?

Obutonyeze, okuva ku kamu okutuuka ku mukaaga bukiikira ennukuta. Obutonyeze obwo butegekeddwa mu busanduuko mukaaga

Okuwandiika Ennukuta z’Obutonyeze n’Okuzikuba ku Mpapula

 Omutendera ogusooka mu kukuba ebitabo bya bamuzibe kwe kukyusa ebigambo ne biteekebwa mu nnukuta ez’obutonyeze eziyitibwa braille. Michael Millen, akolera mu kitongole kya Text Processing Services ekiri e Patterson, mu New York, agamba nti, “Edda twakozesanga programu za kompyuta ezaakolebwanga abatali Bajulirwa ba Yakuwa okuwandiika ennukuta ez’obutonyeze oba braille, naye zaabanga tezisobola kukola ku nnimi zonna ze twabanga twetaaga. Kati tukozesa programu eyitibwa Watchtower Translation System, esobola okukozesebwa okuwandiika ennukuta za braille mu nnimi ezisinga obungi mu nsi. Nzikiriza nti tewali programu eri walala wonna egifaanana.”

 Ebitabo bya bamuzibe bibeeramu n’ebigambo ebinnyonnyola ebifaananyi. Ng’ekyokulabirako, ekifaananyi ekiri ku ddiba ly’ekitabo, Nnyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Kinnyonnyolwa bwe kiti: “Omusajja atandika okutambulira mu kkubo eririmu amakoona nga lyetooloddwa ebimera ebirabika obulungi, obusozi n’ensozi.” Jamshed, omuzibe, aweereza ng’omuweereza era nga payoniya, agamba nti, “Ebyo ebinnyonnyola ebifaananyi bya muwendo nnyo gyendi.”

 Oluvannyuma lw’okuwandiika ennukuta z’obutonyeze, fayiro z’ekitabo zisindikibwa ku ofiisi z’amatabi ezikuba ebitabo bya bamuzibe mu kyapa. Ku ofiisi ezo, ennukuta z’obutonyeze zikubibwa ku mpapula eŋŋumu ezitasobola kwonooneka mangu oba okwefunya oluvannyuma lw’okukozesebwa emirundi egiwera. Oluvannyuma, empapula ezo zisibibwa wamu, ne ziweerezebwa wamu n’ebitabo by’ekibiina oba ne ziweerezebwa “ng’ebitabo bya bamuzibe eby’obwereere” bwe kiba nti posita erina obuweereza obwo. Oluusi bwe kiba kyetaagisa, ofiisi z’amatabi zisobola n’okuteekateeka okusaabaza amangu ebitabo ebyo, ab’oluganda bamuzibe oba abatalaba bulungi basobole okuba nga balina ebitabo bye beetaaga okukozesa mu nkuŋŋaana z’ekibiina.

 Emirimu egyo gyonna gyetaaga ebiseera bingi ne ssente nnyingi. Mu butuufu, ekyuma kyaffe ekikuba ebitabo ekiri e Wallkill, mu New York, ekiseera kye kimala nga kikuba Bayibuli za bamuzibe bbiri zokka, kyenkana n’ekiseera kye kimala nga kikuba Bayibuli 50,000 eza bulijjo. Bayibuli ya bamuzibe eri mu Lungereza erimu emizingo 25, era ebintu ebyetaagibwa okufulumya emizingo egyo bitwala ssente ezikubisaamu emirundi 123 mu ezo ezeetaagibwa okufulumya Bayibuli emu eya bulijjo. Amaliba ag’akozesebwa ku Bayibuli emu yokka eya bamuzibe erimu emizingo egyo 25, gagulwa ddoola nga 150 eza Amerika!

Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya bamuzibe erimu emizingo 25!

 Abo abayambako mu kukuba ebitabo bya bamuzibe bawulira batya? Nadia, aweerereza ku ttabi lya South Africa, agamba nti: “Obulamu si bwangu eri baganda baffe ne bannyinaffe bamuzibe n’abo abatalaba bulungi, n’olwekyo ngitwala nga nkizo ya maanyi okukola ekintu ekibayamba. Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa abaagala nnyo.”

Akatabo Learn to Read Braille

 Watya singa omuntu omuzibe tamanyi kusoma nnukuta za bamuzibe? Emyaka mitono emabega, twafulumya akatabo, Learn to Read Braille, nga kalimu obutonnyeze obusomebwa bamuzibe awamu n’ebigambo ebiwandiikiddwa mu ngeri eya bulijjo. Kaakolebwa nga kasobola okukozesebwa omuntu omuzibe w’amaaso, atalaba bulungi, n’oyo alaba obulungi. Akatabo ako kagendera wamu n’ebintu ebirala omuntu omuzibe by’asobola okukozesa okuwandiika ennukuta z’obutonyeze eza bamuzibe. Oyo ayiga okuwandiika ennukuta za bamuzibe akozesa ebintu ebyo okuwandiika buli nnukuta ku lulwe. Enkola eyo eyamba oyo ayiga okujjukira buli nnukuta ey’akatonyeze, kimuyambe okugizuula ng’agikutteko.

“Sisobola Kulekera awo Kubisoma”

 Ab’oluganda ne bannyinaffe bamuzibe oba abo abatalaba bulungi baganyuddwa batya mu bitabo bino? Ernst, abeera mu Haiti, yagendanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina, naye teyalina kitabo kyonna ekya bamuzibe. N’olwekyo, yalinanga okufuba okukwata ebigambo bye yalinanga okwogera ng’akola ku bitundu ebyamuweebwanga era n’okubaako ky’addamu mu bitundu eby’okubuuza ebibuuzo n’okuddamu. Agamba nti, “Kati nsobola okuwanika omukono ne nziramu ekiseera kyonna we njagalidde. Mpulira nga ndi bumu ne baganda bange ne bannyinaze. Ffenna tufuna emmere y’emu ey’eby’omwoyo!”

 Jan, omukadde atalaba bulungi akubiriza Omunaala gw’Omukuumi n’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina mu Austria, agamba nti, “Ebitabo byaffe ebya bamuzibe bitegeerekeka bulungi okusinga ebitabo ebirala ebya bamuzibe bye nnali nsomyeko. Ng’ekyokulabirako, birimu ennamba z’empapula, obugambo obwa wansi nga byangu okuzuula, awamu n’ebigambo ebinnyonnyola ebifaananyi.”

 Seon-ok, payoniya abeera mu South Korea, muzibe era kiggala. Edda waabangawo eyamukwatanga mu ngalo n’amunnyonnyolanga ebyabanga mu nkuŋŋaana, naye kati ye kennyini yeesomera ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebya bamuzibe. Agamba nti, “Ebitabo ebirala ebya bamuzibe bizibu okusoma kubanga obutonyeze obumu buba bubulamu, layini ziba si ntereevu bulungi, oba obupapula buba butono nnyo. Naye Abajulirwa ba Yakuwa bakozesa empapula ez’omulembe era bakubako bulungi obutonyeze ne kinyanguyira okubusoma.” Agattako nti: “Edda, nnali sisobola kusoma bitabo ebinnyonnyola Bayibuli okuggyako nga waliwo anyambyeko. Naye kati nsobola okubyesomera nzekka. Kinsanyusa nnyo okuba nti nsobola okutegeka enkuŋŋaana zaffe eza buli wiiki era ne nzenyigiramu mu bujjuvu. Nsoma ebitabo byonna ebya bamuzibe. Oyinza okugamba nti, sisobola kulekera awo kubisoma.”

 Okufaananako ebitabo byaffe ebirala, ebitabo bya bamuzibe nabyo birimu ebigambo bino: “Ekitabo kino tekitundibwa. Kye kimu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu ogw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire.” Mwebale okubaako kye muwaayo nga mukozesa enkola eziri ku donate.pr418.com. Ssente ze muwaayo ziyamba mu kufulumya emmere ey’eby’omwoyo eri bonna, nga mw’otwalidde bamuzibe n’abo abatalaba bulungi.