Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusobola okukola vidiyo eyo, kilo z’omusenyu ezisukka mu 27,500 ze zaaleetebwa mu situudiyo za Mount Ebo

ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU

Okufulumya Vidiyo z’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2020 Olulina Omutwe, ‘Musanyukenga’!

Okufulumya Vidiyo z’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2020 Olulina Omutwe, ‘Musanyukenga’!

AGUSITO 10, 2020

Vidiyo ze tulaba ku nkuŋŋaana ennene ez’ennaku essatu zitukwatako nnyo, era zituyamba okweyongera okutegeera obulungi ebyawandiikibwa. Olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2020 olulina omutwe ogugamba nti, ‘Musanyukenga’! lulimu vidiyo 114, nga mw’otwalidde emboozi 43 ezaaweebwa ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi n’abo ababayambako. Wali weebuuzizzaako ebizingirwa mu kufulumya vidiyo ezo, n’omuwendo gwa ssente ezikozesebwa?

Baganda baffe ne bannyinaffe nga 900 okuva mu mawanga ag’enjawulo, baawaayo ebiseera byabwe n’obumanyirivu bwe balina okuyambako mu kufulumya vidiyo ezo. Okutwalira awamu, baamala essaawa nga 100,000 mu bbanga lya myaka ng’ebiri okumaliriza omulimu ogwo. Mu ssaawa ezo muzingiramu essaawa 70,000 ze baamala nga bafulumya vidiyo ey’eddakiika 76 erina omutwe, Nekkemiya: “Essanyu Lya Yakuwa Kye Kigo Kyammwe.”

Ate era waliwo ne ssente ezaasaasaanyizibwa okulabirira bannakyewa abaakola omulimu ogwo, awamu n’okugula ebintu ebyali byetaagibwa.

Jared Gossman, akola mu kitongole ekikwata amaloboozi ne vidiyo agamba nti: “Akakiiko Akayigiriza kaagala nnyo okufulumya vidiyo eziraga obuwangwa obw’enjawulo n’ebifo eby’enjawulo. Enkola eno eyamba okuggyayo oluganda lwe tulina olw’ensi yonna. Okusobola okutuuka ku kigendererwa ekyo, ttiimu 24 okuva mu nsi 11 zaakolera awamu okusobola okutuukiriza omulimu ogwo. Ttiimu ezo okusobola okukolera awamu, kyali kyetaagisa ssente nnyingi n’okukola enteekateeka ennungi.”

Okusobola okufulumya vidiyo, tuba twetaaga ebyuma ebirungi n’ebintu ebirala eby’okukozesa. Ng’ekyokulabirako, ebintu ebyakozesebwa mu kukola vidiyo, Nekkemiya: “Essanyu Lya Yakuwa Kye Kigo Kyammwe” baabizimbira mu situudiyo ya Mount Ebo eri okumpi n’e Patterson, ekiri mu New York, mu Amerika. Okusobola okukozesa obulungi ssente eziweebwayo, kyokka nga mu kiseera kye kimu vidiyo eggirayo ddala ebyo byennyini ebyaliwo, ab’oluganda baazimba ebisenge ebiwewuka ebifaanana ng’ebisenge by’ekibuga Yerusaalemi eky’edda. Buli kisenge kyazimbibwa mu mbaawo za ffuuti 20 ne kisiigibwa kisobole okufaanana ng’ekyazimbibwa n’amayinja. “Ebisenge” ebyo byali bisobola okukyusibwakyusibwa okusobola okuggyayo ebitundu eby’enjawulo, ekyo ne kikendeeza ku muwendo gw’ebisenge ebyali byetaagibwa. Wadde kyali kityo, ddoola za Amerika nga 100,000 ze zaakozesebwa okukola ebisenge ebyali byetaagibwa mu vidiyo eyo yokka. a

Okumanya ekyo, kituleetera okwongera okusiima programu y’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olw’omwaka guno. Tuli bakakafu nti ebyo byonna ebyakolebwa okusobola okufulumya programu y’olukuŋŋaana olwo, bijja kuviirako erinnya lya Yakuwa okutenderezebwa mu nsi yonna. Tubeebaza nnyo olw’okuwaayo okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna nga muyitira ku donate.pr418.com ne mu ngeri endala.

a Ebintu ebyakozesebwa mu kufulumya vidiyo, Nekkemiya: “Essanyu Lya Yakuwa Kye Kigo Kyammwe” byateekebwateekebwa ng’ekirwadde kya COVID-19 tekinnatandika. Mu kiseera ekyo kyali tekyetaagisa kwewa mabanga.