Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

YURI LASHOV/AFP via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Abakristaayo Okwenyigira mu Ntalo—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Abakristaayo Okwenyigira mu Ntalo—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Nga bwe kyeyolese mu lutalo oluli mu Ukraine, abakulembeze b’amadiini bangi bakubiriza abagoberezi baabwe okubaako oludda lwe bawagira. Weetegereze engeri abakulembeze b’amadiini gye bawagiddemu enjuyi zombi ezirwanagana:

  •   “Tusiima nnyo abalwanyi baffe abalwanirira ensi yaabwe Ukraine okugitaasa omulabe . . . Tubasabira era tubawagira nnyo.”—Ebigambo bya Metropolitan Epiphanius I of Kyiv, ebyafulumira mu The Jerusalem Post, nga 16 Maaki, 2022.

  •   “Ku Ssande omukulembeze w’eddiini y’Abasodokisi mu Russia yasabira abasirikale ba Russia era n’abakubiriza okulwanirira ensi yaabwe mu lutalo oluyindira mu Ukraine.”—Reuters, Apuli 3, 2022.

 Abakristaayo basaanidde okwenyigira mu ntalo? Bayibuli ekyogerako ki?

Ekyo Bayibuli ky’egamba

 Bayibuli eraga nti abagoberezi ba Yesu tebasaanidde kwenyigira mu ntalo.

  •   “Zzaayo ekitala kyo mu kifo kyakyo kubanga abo bonna abakwata ekitala balittibwa na kitala.”—Matayo 26:52.

     Ddala omuntu awagira entalo aba agondera ebigambo bya Yesu ebyo?

  •   “Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange—bwe munaayagalananga.”—Yokaana 13:34, 35.

     Ddala omuntu awagira entalo aba alaga okwagala Yesu kwe yagamba nti kwandyawuddewo abagoberezi be?

 Okumanya ebisingawo soma ekitundu ekirina omutwe, Is War Compatible With Christianity?

Abakristaayo okwenyigira mu ntalo leero

 Kikola amakulu Abakristaayo obuteenyigira mu ntalo leero? Yee. Bayibuli yalagula nti mu “nnaku ez’enkomerero,” wandibaddewo abantu okuva mu mawanga gonna ‘abatandyenyigidde mu ntalo’ nga bagoberera enjigiriza za Yesu.—Isaaya 2:2, 4.

 Mangu ddala, Yakuwa, a “Katonda ow’emirembe,” ajja kukozesa gavumenti ye ey’omu ggulu okuwonya abantu “okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”—Abafiripi 4:9; Zabbuli 72:14.

a Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.