Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Anna Moneymaker/Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Bannassaayansi Baasembezza mu Maaso Akalimi k’Essaawa Eraga Akabi ak’Amaanyi Akanaatera Okubaawo—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Bannassaayansi Baasembezza mu Maaso Akalimi k’Essaawa Eraga Akabi ak’Amaanyi Akanaatera Okubaawo—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Nga 24 Jjanwali, 2023, bannassaayansi akalimi k’essaawa a baakasembeza kumpi ne ssaawa mukaaga ogw’ekiro, ezikiikirira enkomerero y’ensi.

  •   “Ku Lwokubiri, Akalimi k’essaawa eraga akabi akanaatera okubaawo kaasembezeddwa kumpi nnyo n’essaawa mukaaga ogw’ekiro. Ekyo kyali tekibangawo. Baakongezzaayo olw’olutalo oluyindira mu Ukraine, okutya olutalo lwa nukiriya oluyinza okubaawo, n’olw’embeera y’obudde embi ennyo ensi gy’erimu kati.”—AFP International Text Wire.

  •   “Bannassaayansi baagambye nti ku Lwokubiri akalimi k’essaawa kaayongezeddwayo mu maaso, ne kiba nti kati ebula obutikitiki 90 ziwere essaawa mukaaga ogw’ekiro—ekiraga nti ensi tesembererangako kusaanawo yonna nga bwe kiri kati.”—ABC News.

  •   “Bannassaayansi okuva mu nsi yonna balabudde nti kati ensi eri mu kabi ak’okusaanawo okusinga bwe kyali kibadde.”—The Guardian.

 Ensi enaatera okusaanawo awamu n’abantu abagiriko? Twanditidde ebijja mu maaso? Bayibuli ekyogerako ki?

Ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso

 Bayibuli egamba nti, “ensi ebeerawo emirembe n’emirembe” era nti abantu “baligibeeramu emirembe gyonna.” (Omubuulizi 1:4; Zabbuli 37:29) N’olwekyo abantu tebajja kuzikiriza nsi, oba okugifuula ekifo ekitasobola kubeerako bantu.

 Kyokka Bayibuli eyogera ku nkomerero. Ng’ekyokulabirako, egamba nti “ensi eggwaawo.”—1 Yokaana 2:17.

Okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu

 Bayibuli esobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu wadde nga waliwo ebizibu bingi mu nsi. Etuyamba etya?

  •   Bayibuli etuwa amagezi agasobola okutuyamba. (2 Timoseewo 3:16, 17) Ng’ekyokulabirako, soma ekitundu ekirina omutwe How to Control Worry olabe engeri Bayibuli gy’eyinza okukuyamba wadde ng’obulamu bujjudde ebizibu.

  •   Bayibuli etuwa essuubi eryesigika ery’ebiseera eby’omu maaso. (Abaruumi 15:4) Etunnyonnyola bye tulina okusuubira kati ne mu biseera eby’omu maaso, ekituyamba okusigala nga tuli bagumu wadde nga waliwo ebintu ebibi ebigenda mu maaso mu nsi.

 Okusobola okuganyulwa mu Bayibuli mu bujjuvu, tukusaba ogezeeko enteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere.

a “Eno ssaawa ey’akabonero eraga abantu nti ensi eneetera okusaanawo olwa tekinologiya ffe abantu ffennyini gwe twekoledde. Mu ngeri ey’akabonero, etulaga bye tulina okukola ensi yaffe awamu n’abantu okusobola okuwonawo.”—Bulletin of the Atomic Scientists.