BEERA BULINDAALA!
Ani gw’Oyinza Okwesiga?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?
Abantu bayisibwa bubi ng’abo be babadde beesiga babayiyeeyo. Abantu bangi tebakyesiga . . .
bannabyabufuzi abeefaako bokka.
mikutu gy’amawulire egitafulumya mawulire matuufu.
bannassaayansi abatakola ebyo ebiyamba abantu.
bakulembeze b’amadiini abeenyigira mu by’obufuzi mu kifo ky’okwemalira ku Katonda.
Abantu batuufu obutamala geesiga buli omu. Bayibuli egamba nti:
“Teweesiganga bafuzi; tewali muntu asobola kukununula.”—Zabbuli 146:3, Good News Translation.
Oyo gw’osobola okwesiga
Bayibuli etubuulira oyo gwe tusaanidde okwesiga: Ye Yesu Kristo. Ng’oggyeeko okuba nti Yesu bwe yali wano ku nsi emyaka nkumi na nkumi emabega yali muntu mulungi, Katonda yamulonda okufuga nga “Kabaka . . . , era Obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” (Lukka 1:32, 33) Yesu ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, gavumenti efugira mu ggulu.—Matayo 6:10.
Okumanya ensonga lwaki wandyesize Yesu, soma ekitundu “Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda y’Ani?”ne “Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?”