Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

kovop58/stock.adobe.com

BEERA BULINDAALA!

Ddala Emizannyo gya Olympics Gisobola Okuleetera Abantu Okuba Obumu?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

Ddala Emizannyo gya Olympics Gisobola Okuleetera Abantu Okuba Obumu?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

 Emizannyo gya Olympics egya 2024 gisuubirwa okulabibwa abantu obuwumbi nga butaano, era nga gijja kwetabwamu abazannyi okuva mu nsi 206. Thomas Bach, akulira akakiiko akateekateeka emizannyo gya Olympics mu nsi yonna yagamba nti: “Emizannyo gino gitegekeddwa okuyamba abantu okuba mu mirembe n’obumu. Ffenna ka tuwagire ekigendererwa ky’okuteekateeka emizannyo gino, eky’okuyamba abantu mu nsi yonna okuba mu mirembe, wadde nga ba mawanga ga njawulo.”

 Ddala emizannyo egyo gisobola okuleetera abantu mu nsi yonna okuba obumu n’okuba mu mirembe? Ekiseera kirituuka abantu ne baba nga bali bumu era nga bali mu mirembe?

Ddala emizannyo egyo ginaaleetera abantu okuba obumu n’okuba mu mirembe?

 Emizannyo gya Olympics egy’omwaka guno gireetedde abantu okulowooza ku bintu ebireetera abantu okuba n’enjawukana gamba ng’eby’obufuzi, ensonga ezikwata ku ddembe ly’obuntu, okusosola mu mawanga, obusosoze mu madiini, n’omwenkanonkano.

 Emizannyo egyetabwamu abazannyi okuva mu nsi yonna gamba ng’egya Olympics, gisanyusa abantu. Kyokka era emizannyo egyo giraga endowooza y’abantu n’enneeyisa yaabwe ebireetawo enjawukana, mu kifo ky’emirembe n’obumu.

 Bayibuli eraga nti abantu mu kiseera kyaffe bandyeyisizza mu ngeri eyandikifudde ekizibu okuba mu mirembe n’okuba obumu. (2 Timoseewo 3:1-5) Okumanya ebisingawo Bayibuli by’eyogera ku bunnabbi obwo, soma ekitundu“Did the Bible Predict the Way People Think and Act Today?

Ekinaaleetawo Emirembe n’Obumu mu Nsi Yonna

 Bayibuli ewa essuubi eryesigika erikwata ku mirembe n’obumu mu nsi yonna. Egamba nti abantu bonna bajja kuba bumu nga bafugibwa gavumenti ey’omu ggulu eyitibwa, “Obwakabaka bwa Katonda.”—Lukka 4:43; Matayo 6:10.

 Kabaka w’Obwakabaka obwo, Yesu Kristo ajja kuleetawo emirembe mu nsi yonna. Bayibuli egamba nti:

  •    

  •   Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.”—Zabbuli 72:12, 14.

 Ne mu kiseera kino enjigiriza za Yesu zireetedde abantu bukadde na bukadde mu nsi 239 okuba obumu. Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi bayize okuba mu mirembe. Okumanya engeri ekyo gye bakikozeemu, soma Omunaala gw’Omukuumi ogulina omutwe “Ebisobola Okutuyamba Okweggyamu Obukyayi.”