Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Rui Almeida Fotografia/Moment via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Ebikolwa eby’Obukambwe Ebiriwo olw’Ensonga z’eby’Obufuzi—Bayibuli Ebyogerako Ki?

Ebikolwa eby’Obukambwe Ebiriwo olw’Ensonga z’eby’Obufuzi—Bayibuli Ebyogerako Ki?

 Okwetooloola ensi abantu bangi beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe olw’ensonga z’eby’obufuzi.

  •   Okuttibwa kw’abantu 39 abaali beesimbyewo, awamu n’ebikolwa ebirala eby’obukambwe ebiriwo olw’ensonga z’eby’obufuzi mu Mexico, byaleeta akavuyo mu kalulu ka 2023-2024 mu nsi eyo.

  •   Mu nsi za Bulaaya wabaddewo ebikolwa bingi eby’obukambwe nga byekuusa ku nsonga z’eby’obufuzi, omuli n’okwagala okutta katikkiro w’eggwanga lya Slovakia nga 15, Maayi 2024.

  •   Mu Amerika, abantu baawuniikirira olw’abazigu okugezaako okutta eyali omukulembeze w’eggwanga eryo Donald Trump nga 13, Jjulaayi, 2024.

 Lwaki waliwo ebikolwa bingi eby’obukambwe olw’ensonga z’eby’obufuzi? Ebikolwa eby’obukambwe biriggwaawo? Kiki Bayibuli ky’egamba?

Bayibuli yayogera ku njawukana eziriwo olw’ensonga z’eby’obufuzi

 Bayibuli eraga nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero” era nti mu nnaku zino abantu bangi bandibadde n’engeri ezandibaleetedde obutakkaanya n’okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe.

  •   “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera biriba bizibu nnyo. Kubanga abantu baliba . . . tebeebaza, nga si beesigwa, . . . nga tebakkiriza kukkaanya, . . . nga bakambwe, . . . nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza.”—2 Timoseewo 3:1-4.

 Ate era Bayibuli yalaga nti ebikolwa gamba ng’okujeemera gavumenti n’obukuubagano mu by’obufuzi, byandibadde bingi mu kiseera kino. (Lukka 21:9, obugambo obuli wansi) Wadde kiri kityo, ebikolwa eby’obukambwe n’enjawukana ebiriwo olw’ensonga z’eby’obufuzi, bijja kuggwaawo.

Ekijja Okumalawo Ebikolwa eby’Obukambwe Ebiriwo olw’Ensonga z’eby’Obufuzi

 Bayibuli eraga nti Katonda ajja kuggyawo gavumenti z’abantu asseewo eyiye ey’omu ggulu.

  •   “Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka . . . bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo [obulala] bwonna, era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.”—Danyeri 2:44.

 Obwakabaka bwa Katonda bujja kuleetera abantu mu nsi yonna okuba obumu n’okuba mu mirembe.

  •   Kabaka w’Obwakabaka obwo, Yesu Kristo ayitibwa “Omukulu ow’Emirembe,” era ajja kukakasa nti ‘emirembe tegikoma.’—Isaaya 9:6, 7.

  •   Ne leero abo abafugibwa Obwakabaka bwa Katonda bayigirizibwaengeri gye bayinza okubeera mu mirembe ne bannaabwe. N’ekinaavaamu, Bayibuli egamba nti: “Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi n’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo. Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo, era tebaliyiga kulwana nate.”—Isaaya 2:3, 4.

 Okuyiga ebisingawo, laba ekitundu “Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?” ne vidiyo Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?