Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Sean Gladwell/Moment via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Ssente Ezisaasaanyiziddwa mu Nsi Yonna ku Byokulwanyisa Zisusse mu Buwumbi bwa Ddoola 2,000—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Ssente Ezisaasaanyiziddwa mu Nsi Yonna ku Byokulwanyisa Zisusse mu Buwumbi bwa Ddoola 2,000—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Mu 2022 ssente ezaasaasaanyizibwa mu nsi yonna ku byokulwanyisa zaali obuwumbi bwa ddoola enkumi bbiri mu obukadde bibiri mu ana, era ze ssente ezikyasinzeeyo obungi okusaasaanyizibwa ku byokulwanyisa mu byafaayo. Okusingira ddala ekyo kyava ku lutalo wakati wa Russia ne Ukraine. Lipoota eyafulumizibwa aba Stockholm International Peace Research Institute (SIPRI) mu Apuli 2023, yagamba nti mu 2022:

  •   Ssente ezaasaasaanyizibwa ku byokulwanyisa mu Bulaaya zeeyongerako ebitundu 13 ku buli kikumi, ng’ezo ze ssente ezikyasinze okusaasaanyizibwa ensi za Bulaaya ku byokulwanyisa mu mwaka ogumu okuva mu 1991.”

  •   “Ssente Russia ze yateeka mu byokulwanyisa zeeyongerako ebitundu nga mwenda n’obutundutundu 2 ku buli kikumi, n’eba nti kati ekwata kifo kya kusatu mu kusaasaanya ssente ennyingi ku byokulwanyisa mu nsi yonna; emabega yali mu kifo kya kutaano.”

  •   Amerika y’esinga okusaasaanya ssente ku by’okulwanyisa, era ssente z’esaasaanya zikola “ebitundu 39 ku buli kikumi ku ezo zonna ezisaasaanyizibwa ku byokulwanyisa mu nsi yonna.”

 “Okweyongera kwa ssente ezisaasaanyizibwa ku byokulwanyisa mu myaka egyakayita kabonero akalaga nti eby’okwerinda mu nsi biri mu matigga,” bw’atyo Dr. Nan Tian, omu ku abo abaakola lipoota ya SIPRI bwe yagamba.

 Bayibuli yalagula nti wajja kweyongera okubaawo obukuubagano wakati w’ensi kirimaanyi mu kiseera kyaffe, era eraga ekijja okuleetawo emirembe egya nnamaddala.

Okweyongera kw’entalo n’obukuubagano kwalagulwa

  •   Ekiseera kye tulimu Bayibuli ekiyita ‘ekiseera eky’enkomerero.’Danyeri 8:19.

  •   Ekitabo kya Danyeri kyalagula nti mu kiseera ekyo, wandibaddewo gavumenti kirimaanyi eziri ku mbiranye. Gavumenti ezo ‘zandisindikaganye,’ nga buli emu eyagala okuba nga y’esinga amaanyi mu nsi yonna. Mu kanyoolagano ako, zandikozesezza ‘eby’obugagga’ bingi.—Danyeri 11:40, 42, 43.

 Okumanya ebisingawo ku bunnabbi bwa Bayibuli obwo, laba vidiyo erina omutwe, Obunnabbi Obutuukiriziddwa—Danyeri Essuula 11.

Ekinaaleetawo emirembe egya nnamaddala

  •   Bayibuli egamba nti Katonda ajja kuggyawo gavumenti z’abantu ateekewo gavumenti eyiye. Ajja ‘kussaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. Obwakabaka buno tebuliweebwa ggwanga ddala lyonna. Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.’—Danyeri 2:44.

  •   Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa a Katonda agenda kukola ekyo abantu kye batasobola kukola—agenda kuleetawo emirembe egya nnamaddala. Anaakikola atya? Gavumenti ye ejja okufuga ng’esinziira mu ggulu, ejja kuggyawo eby’okulwanyisa byonna era emalewo n’ebikolwa eby’obukambwe.—Zabbuli 46:8, 9.

 Okumanya ebisingawo ebikwata ku ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola, soma ekitundu ekirina omutwe, “‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga.

a Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.