Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Abajulirwa ba Yakuwa n’Ekittabantu—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Abajulirwa ba Yakuwa n’Ekittabantu—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Nga 27 Janwali, 2023, abantu bangi bajja kukwata Olunaku olw’Ensi Yonna olw’Okujjukirirako Ekittabantu. Ekittabantu ekyaliwo emyaka egisukka mu 75 emabega, kiyinza okukuviirako okwebuuza lwaki Katonda yakikkiriza okubaawo.

 Abayudaaya baabonaabona nnyo mu kittabantu ekyo. Olukwe lwakolebwa basobole okutta obukadde n’obukadde bw’Abayudaaya. N’abantu ab’ebiti ebirala nabo bayigganyizibwa era ne battibwa mu kittabantu ekyo ekyaliwo. Mu abo mwe mwali Abajulirwa ba Yakuwa abaayigganyizibwa olw’enzikkiriza zaabwe ezeesigamiziddwa ku Bayibuli.

“Ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi”

 Abantu bangi batya nti ekittabantu kiyinza okuddamu okubaawo. Ekirungi kiri nti, Bayibuli esuubiza nti mu biseera eby’omu maaso ebintu ng’ebyo tebijja kuddamu kubaawo.

  •   “‘Kye ndowooza okubakolera nkimanyi,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ndowooza kubaleetera mirembe so si kubaleetako kabi, musobole okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi era n’essuubi.’”—Yeremiya 29:11. a

 Ekyo kijja kubaawo Yakuwa Katonda bw’anaggyawo ebintu ebibi era n’ateereeza byonna ebiriba byonoonose. Mangu ddala:

 Oyinza okwesiga ebyo ebiri mu Bayibuli ebibudaabuda. Okumanya lwaki wandibyesize tukusaba okkirize okuyigirizibwa Bayibuli ku bwerere.

a Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.