Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Thai Liang Lim/E+ via Getty Images

BEERA BULINDAALA!

Emikutu Emigattabantu gya Bulabe eri Omwana Wo?—Engeri Bayibuli gy’Esobola Okuyamba Abazadde

Emikutu Emigattabantu gya Bulabe eri Omwana Wo?—Engeri Bayibuli gy’Esobola Okuyamba Abazadde

 “Obulwadde obukosa ebirowoozo bweyongedde nnyo mu bavubuka era kizuuliddwa nti emikutu emigattabantu kye kimu ku bisinze okuleetawo ekizibu ekyo.”—Byayogerwa Dr. Vivek Murthy, akulira eby’obulamu mu Amerika, nga Jjuuni 17, 2024.

 Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okwewala ebizibu ebiva mu kukozesa emikutu emigattabantu? Bayibuli erimu amagezi agasobola okubayamba.

Abazadde kye basobola okukola

 Lowooza ku misingi gya Bayibuli gino.

 “Omuntu ow’amagezi afumiitiriza ku buli ky’agenda okukola.”—Engero 14:15.

 Olw’okuba okukozesa emikutu emigattabantu kiyinza okuvaamu ebizibu, tokitwala nti abaana bo oteekwa okubakkiriza okukozesa emikutu egyo. Nga tonnakkiriza mwana wo kukozesa mikutu migattabantu, kakasa nti mukulu ekimala okusobola okugondera amateeka g’omuteereddewo ku budde bw’alina okumala ng’akozesa emikutu egyo, okweyongera okuba n’emikwano emirungi n’okwewala okulaba ebintu ebitasaana.

 “[Mukozese] bulungi ebiseera byammwe.”—Abeefeso 5:16.

 Bw’okkiriza omwana wo okukozesa emikutu emigattabantu, muteerewo amateeka ku ngeri y’okugikozesaamu era omunnyonnyole engeri amateeka g’otaddewo gye gasobola okumukuuma. Weetegereze engeri omwana wo gye yeeyisaamu ng’atandise okukozesa emikutu emigattabantu olabe obanga kyetaagisa okumuteerawo ekkomo ku ngeri gy’akozesaamu emikutu egyo.

Yiga ebisingawo

 Bayibuli egamba nti tuli mu ‘biseera ebizibu ennyo.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Ate era etuwa amagezi agatuyamba okubigumira. Mu kitundu kino mulimu olukalala olw’ebitundu ebisukka mu 20 ebyesigamiziddwa ku Bayibuli ebisobola okuyamba abazadde n’abaanabwe kituuka ku bintu ebisobola okukosa ebirowoozo by’abavubuka.