Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Obutemu bw’Emmundu Obweyongedde Ennyo mu Nsi—Bayibuli Ekyogerako Ki?

Obutemu bw’Emmundu Obweyongedde Ennyo mu Nsi—Bayibuli Ekyogerako Ki?

 Mu mwezi gwa Jjulaayi 2022, ettemu ery’emmundu lyaleetawo entiisa ya maanyi mu nsi yonna:

  •   “Okutemulwa kw’omunnabyabufuzi omwatiikirivu mu Japan [Shinzo Abe, eyaliiko Ssaabaminista] kwatiisa nnyo abantu b’omu Japan era n’abalala bangi okwetooloola ensi, naddala olw’okuba omuwendo gw’ebikolwa eby’ettemu mu Japan guli wansi nnyo era nga balina amateeka amakakali ku kufuna emmundu.”—Jjulaayi 10, 2022, The Japan Times.

  •   “Denmark eguddemu entiisa omusajja alina emmundu bw’asse abantu basatu mu ssemaduuka ey’omu kibuga Copenhagen.”—Jjulaayi 4, 2022, Reuters.

  •   “South Africa: Abantu 15 bafiiriddewo abasajja ab’emmundu bwe basasidde amasasi mu bbaala ey’omu Soweto.”—Jjulaayi 10, 2022, The Guardian.

  •   “Abantu abasukka mu 220 bakubiddwa amasasi ne bafa mu Amerika ku wiikendi eya Jjulaayi 4.”—Jjulaayi 5, 2022, CBS News.

 Waliwo essuubi lyonna nti ebikolwa eby’ettemu ng’ebyo birituuka ne biggwaawo? Ekyo Bayibuli ekyogerako ki?

Enkomerero y’Ebikolwa eby’Ettemu

 Ekiseera kye tulimu Bayibuli ekiyita ‘ennaku ez’enkomerero,’ era eraga nti abantu bandibadde bakambwe nnyo, era nga ba ttima. (2 Timoseewo 3:1, 3) Ebikolwa ng’ebyo eby’obukambwe biviiriddeko abantu okutya ennyo. (Lukka 21:11) Kyokka Bayibuli esuubiza nti ekiseera kijja kutuuka ebikolwa eby’obukambwe biggweewo. Mu kiseera ekyo, ‘abantu balibeera mu kifo ekirimu emirembe eky’enkalakkalira, mu bifo ebirimu obutebenkevu ne mu bifo eby’okuwummuliramu ebiteefu.’ (Isaaya 32:18) Ebikolwa eby’obukambwe binaggwaawo bitya?

 Katonda ajja kuggyawo abantu ababi era asaanyeewo eby’okulwanyisa byonna.

  •   “Naye ababi balimalibwawo mu nsi.”—Engero 2:22.

  •   “[Katonda] amalawo entalo mu nsi yonna. Amenya emitego gy’obusaale era amenyaamenya amafumu; ayokya amagaali ag’olutalo.”—Zabbuli 46:9.

 Katonda ajja kuggyawo ebiviirako ebikolwa eby’obukambwe ng’ayigiriza abantu okubeera mu mirembe.

  •   “Tebiriba bya bulabe wadde okukola akabi konna ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, kubanga ensi erijjula okumanya Yakuwa ng’ennyanja bw’ejjula amazzi.”—Isaaya 11:9.

  •   Ne mu kiseera kino, Katonda ayigiriza abantu mu nsi yonna okwewala ebikolwa eby’obukambwe n’okukozesa eby’okulwanyisa. Agamba nti: “Ebitala byabwe balibikolamu enkumbi, n’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo.”—Mikka 4:3.

 Okumanya ebisingawo ku nsi Bayibuli gy’esuubiza etalibeeramu kutya, soma ekitundu ekirina omutwe Freedom From Fear—Is It Possible?

 Okumanya ebisingawo ku ekyo ekinaamalirawo ddala ebikolwa eby’obukambwe, soma ekitundu ekirina omutwe Peace on Earth at Last!