Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Lwaki Abantu Beeyisa Bubi Nnyo?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

Lwaki Abantu Beeyisa Bubi Nnyo?—Kiki Bayibuli ky’Egamba?

 Leero abantu beeyisa bubi nnyo. Abalwadde abamu bakambuwalira abasawo, abantu baboggolera abakozi mu wooteeri, abasaabaze abamu bavuma bakondakita, abaana abamu banyooma abasomesa baabwe, babatiisatiisa era babatuusaako obulabe; bannabyabufuzi abamu bakola ebintu ebibi, kyokka abalala bamatiza abantu nti bo beeyisa bulungi.

 Bayibuli y’esobola okutuyamba okumanya engeri gye tusaanidde okweyisaamu. Ate era eraga ensonga lwaki abantu beeyisa bubi leero.

Lwaki abantu beeyisa bubi nnyo?

 Okwetooloola ensi, abantu bakiraba nti emitindo gy’empisa gyeyongedde okusereba.

  •   Okunoonyereza okumu okwakolebwa gye buvuddeko awo mu Amerika kwalaga nti emitindo gy’empisa gyeyongedde okusereba okusinga bwe kyali emyaka 22 emabega.

  •   Waliwo okunoonyereza okulala okwakolebwa ku bantu abasukka 32,000 mu nsi 28.Ku bantu abo, 65 ku buli kikumi baagamba nti empisa mu bantu zeeyongedde okwonooneka okusinga bwe kyali kibadde.

 Bayibuli yayogera ku ngeri abantu gye bandibadde beeyisaamu leero.

  •   “Mu nnaku ez’enkomerero, ebiseera bijja kuba bizibu nnyo. Abantu bajja kuba beefaako bokka, nga ba mululu, nga beepanka, nga ba malala, nga bavumi, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebasiima, . . . nga si ba kisa, [era] nga bakambwe.”—2 Timoseewo 3:1-3, Good News Translation.

 Okumanya ebisingawo ku ngeri obunnabbi obwo gye butuukirizibwamu, soma ekitundu “Did the Bible Predict the Way People Think and Act Today?

Ekisobola okutuyamba okweyisa obulungi

 Wadde ng’emitindo gy’empisa giserebye, abantu bukadde na bukadde bakirabye nti Bayibuli esobola okubayamba okweyisa obulungi. Amagezi agakwata ku mpisa g’ewa ‘geesigika buli kiseera’ (Zabbuli 111:8) Weetegereze agamu ku magezi g’ewa:

  •   Bayibuli ky’egamba: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakola, nammwe bye muba mubakola.”—Matayo 7:12.

     Kye kitegeeza: Nga bwe twagala abalala okutuyisa mu ngeri ey’ekisa n’okutussaamu ekitiibwa, naffe bwe tusaanidde okubayisa.

  •   Bayibuli ky’egamba: “Kaakano nga bwe mweyambudde obulimba, mwogere amazima buli muntu eri munne.” Abeefeso 4:25.

     Kye kitegeeza: Tusaanidde okuba abeesigwa mu bye twogera ne bye tukola.

 Okumanya ebisingawo ku nsonga eno, soma: