Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BEERA BULINDAALA!

Olutalo Oluli mu Ukraine Luviiriddeko Enjala Okweyongera

Olutalo Oluli mu Ukraine Luviiriddeko Enjala Okweyongera

 Nga 9 Maayi, 2022, abakungu abasukka mu 75 baategeeza Ekitongole ky’Amawanga Amagatte eky’eby’Okwerinda nti “enjala eyajjawo olw’ekirwadde kya COVID-19 n’olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde, yeeyongedde nnyo olw’olutalo oluyinda mu Ukraine.” Ate era, akatabo The Economist kaagamba nti “ku bizibu ebingi ensi by’erina kugenda kwegattako n’eky’enjala ereteddwa olutalo.” Bayibuli yalagula nti wandibaddewo enjala mu kiseera kyaffe. Kyokka era etubuulira n’engeri gye tusobola okwaŋŋangamu ekizibu ekyo.

Bayibuli yalagula nti wandibaddewo enjala

  •    Yesu yalagula nti: “Eggwanga lirirumba eggwanga, n’obwakabaka bulirumba obwakabaka, era walibaawo enjala.”Matayo 24:7.

  •    Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku beebagazi b’embalaasi bana. Omwebagazi w’embalaasi omu akiikirira entalo. Agobererwa omwebagazi omulala akiikirira enjala; ekiseera emmere bwe yandiguze obuwanana era nga nzibu okufuna. “Ne ntunula , ne ndaba embalaasi enzirugavu. Oyo agyebagadde yalina minzaani mu mukono gwe. Ne mpulira ng’eddoboozi. . . ligamba nti: ‘Ekigero kimu eky’eŋŋaano kya mpeera ya lunaku lumu, n’ebigero bisatu ebya bbaale bya mpeera ya lunaku lumu.’”—Okubikkulirwa 6:5, 6, Bayibuli y’Oluganda eya 2003.

 Obunnabbi buno obukwata ku njala butuukirizibwa mu kiseera kino Bayibuli ky’eyita ‘ennaku ez’enkomerero.’ (2 Timoseewo 3:1) Okumanya ebisingawo ebikwata ku “nnaku ez’enkomerero” n’abeebagazi b’embalaasi abana aboogerwako mu kitabo ky’Okubikkulirwa, laba vidiyo, Ensi Ekyuse Nnyo Okuva mu 1914 era soma ekitundu ekirina omutwe, “Abeebagazi b’Embalaasi Abana Be Baani?

Engeri Bayibuli gy’Eyinza Okukuyamba

  •    Bayibuli erimu amagezi agayinza okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu, nga mw’otwalidde n’ebbeeyi y’emmere eyeewanise oba ebbula ly’emmere. Laba agamu ku go mu kitundu ekirina omutwe How to Live on Less.”

  •    Bayibuli era etuwa essuubi nti embeera ejja kutereera mu maaso. Eyogera ku kiseera lwe “wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi” era nga buli muntu alina emmere emumala. (Zabbuli 72:16) Okumanya ebisingawo ku ebyo Bayibuli by’esuubiza mu biseera eby’omu maaso n’ensonga lwaki osobola okugyesiga, soma ekitundu ekirina omutwe, A Real Hope for a Better Tomorrow.”